BYA:MUSASI WAFFE
Kira,Wakiso
Abavuganya kubwa kansala mu Munisipaali y’e Kira ku kaadi ya NUP nga bakulembedwamu Zaituni Nakagimu eyegwanyiza ekifo kya Kansala wa bakyala owa Bukasa ne Namataba,Peter Musoke eyegwanyiza ekifo kya Kansala owa Namataba ne Kigongo Bruhani Mubuuke eyegwanyiza obwa kansala bwa Ntebetebe ne Katuba ku Divisoni y’e Bweyogerere,basekerede ab’ebibiina ebirala abalowooza nti bagenda kubawangula nga bawooza nti okulonda okuwede bakuwangula lwa muyaga ogutakyaliwo.
Bano bebavuganya nabo babiyiyemu amazzi webaweze nti ebigambo byakudamu bibakalire ku matama nga bazeemu okubamega n’enkona n’ennywa.
ENSONGA EZIGENDA OKUBAWANGUZA
EKISOOKA:-Nakagimu muggumu nnyo nti ekisanja kino wakukiwuuta buva kubanga byebakooze birabika okugeza nga ayita mukibiina kye ekya Teenage Mothers akuute ku mukono abaana abafuna embuto n’abakyala ababeera beetaga obuyambi bwa maama kit nga yeyambisa obutono bwafuna.
Banakazade abali beetaga ambulance okubongerayo mu malwariro amanene nabo yasobola okubayirawo omubiri nga agula amafuuta agabatambuza.
Olwamanyi ge,yenyumiriza muky’okubanga eddwaliro lya Kirinya lyasumusibwa okutuuka ku ddala lya Health Centre 3 kwo n’okulizimba okutuuka kulembe ogwa waggulu gweliriko.
Abaliko obulemu nabo teyabaleeka mabega weyasobola okubasakira emigo n’obuggali mwebatambulira.
Ebitone nabyo abikuteeko nga ayita mukutegeka empaka z’omupiira ezenjawulo wamu n’okugulira abazannyi ebikozesebwa nga engato ezakabi.
EKY’OKUBBIRI:-Akalulu bakanoonya nju ku nju ekibayamba okwongera okukonekitinga n’abawagizi babwe.
EKY’OKUSATU:-NUP mwebesimbide ky’ekibiina ekisinga obuganzi mu bitundu bye besimbyemu.Kino kyeyolekera ku bendera z’eggwanga abantu zebaze bateeka ku bizimbe mwebakolera,ku bikondo bya masanyalaze mu butawuni nemu bifo ebirala nga akabonero k’obujjumbira omulanga gwa Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu gw’okuwuba bendera kwatambuliza kampeyini ze kubwa Pulezidenti bwe ggwanga.
BYEBAGENDA OKUKOLA MUKISANJA KINO;
OKUMALIRIZA PULOJEKITI Z’EBATANDIKA
Nakagimu agamba nti nga azeeyo,wakulwana okulaba nti ebifo by’enkiziza abamenyi bamateeka mwebekweka ne bakoola obulabe ku bantu bitekebwamu amatala.

-Agenda kulwana okulaba nti eddwaliro lyabwe ey’omulembe eryajiddwako engalo lifuna abasawo abamala atenga balian ebisanyizo ebigwanide era nti bano wakubalambulanga entekeera okukakasa nti ababeera ku mirimu okusobola okutuusa obujanjabi ku bantu.
-Bank y’ensi yonna yakamala okubawa ssente ezigenda okuzimba oluguudo olw’omulembe olugenda okugata Namataba ku Namanve Industrial Area.Nakagimu wano weyasinzide okukigumiza nti engeri gyamanyi obulumi mwebayita okulusaka,kikuluno nnyo bamulonde adeeyo asobole okukakasa nti kontulakita eyakwasidwa omulimu gw’okuluzimba akola omulimu omulungi.
NZIZE KULWANYISA MISOLO EGISUKIRIDE
Kigongo mukwogerako n’ekibanja kino ekiterya ntama yatugambye nti emisolo egisukiride ne mpooza yagwo etagwana jagenda okulwanyisa.

Ono yagaseko nti okumanya abawooza omusolo basajja babi nnyo,siiru baziteeka ne ku bizinensi z’abantu kwebasula,ekintu kyeyagambye nti si kyabuntu.
Kigongo mu kulonda okuwede yavuganya kifo ky’okuba kansala wa Katuba ku lukiiko lwa Division y’e Bweyogerere wabula nawangulwa muna FDC wakati mu mivuyo.Kuluno agamba nti webamubbira yategeerawo era aze amaliridde okumamulayo oyo eyamutwalako obuwanguzi bwe.
Ono era nga y’omu kubakulira olukiiko lwa Kunga mu Bweyogerere.
NZIJIRIDDE BA MONEY LENDER ABANYAGA ABANTU.
Musoke yatugambye nti ye agiride ba money lender abasuse okutigomya abantu nga bababigika amagoba amangi ekibavirako okulemwa okusasula ssente zebababa babawoola ne beyambisa embeera eno okubanyagako ebyaabwe.
Ono kino wakukikoola nga ayita mu kuleeta ekiteeso ba money lendor abatalina license bagalwe.Ate bo abagya ku bantu ndaga muntu nga babawoola,yabalabude nti singa wayita enaku 10 nga amaze okulayira nga tebanazidiza banyini zo,bakumulaba akamufamu.