By:Omulangira Ddembe ne Ssamula Mathias
Kampala
Banayuganda abatunda ebyamaguzi ebweru w’eggwanga olunaku lwa leero bafunye akamwennyo kumatama ekitongole ekikakasa omutindo gw’ebyamaguzi byabwe nga tebinafuluma ggwanga ki Uganda National Accreditation Services(UGANAS) bwekirangiride nga bwekijewo emiziziko gyona egibade gikereyesa okubakonera sitampu ku byamaguzi byabwe balyooke babifulumye eggwanga.

Kalema,Director wa Halal Assurance Institute
Okulangirira kuno kukoledwa Ali Kalema, Director wa Halal Assurance Institute bwabade ku mukolo gwokujaguza olunaku olwokukakasa omutindo gw’ebyamaguzi ebitundwa ebweru w’eggwanga mu nsi yonna mu lufutifuti World Accreditation Day; ogubade ku Imperial Royale Hotel mu Kampala.
EBIMU KUBIBADE BIRUMA ABASUBUUZI
Okusinzira ku Edward Ntale, ssentebbe w’ekibiina kya basubuuzi ekya UATEA-UG,banayuganda bangi bagala nnyo okwenyigira muky’okutunda ebyamaguzi byaabwe ebweru w’eggwanga naye basanga okusomoozebwa mu ngeri zino wammanga:

1)Emisolo egisukiride okugeza omusolo gwa kkiro abasubuuzi bagamba nti gubali mubulago. Okumanya emisolo gino gibaffiriza okamala, Ntale agamba nti ebiseera ebisinga amawanga g’ebweru gyebatwala ebyamaguzi byaabwe galina emiwendo ejagerekebwa (fixed price) kubyamaguzi ebyo ekitegeza nti bwebabituusa, tebasobola kwongera ku beeyi yabyamaguzi ebyo okusobola okugyayo ssente ennyingi zebabeera basasanyiriza mu misolo ekibavirako okukola loosi.
2)Ebisaale by’entambula okuba waggulu ennyo kyoka nga kati Uganda yasajakula erina n’ennyonyi zayo.
3)Enguzi esukiride. Eno Ntale agamba nti eva kukya bakola mu kitongole kya UGANAS okulowooza nti buli munayuganda atuuse kussa ery’okutwala ebyamaguzi ebweru mugagga bwebatyo bwebagendayo okufuna empereeza zabwe babasaba enguzi ne kunsonga etalimu. Mukugumiza ensonga eno Ntale alina omusubuzi gweyatugambye mu puloseesi y’okugoba kubiwandiiko bye, omu ku bakyala eyali amuwereeza yamutegeza nga bailo gyalina okukozesa okumuteera omukono ku mpapula ze bweyali ewedemu bwiino bwatyo yamusaba amugulire bailo endala ya mitwalo 50.
4)Okukalubya okuwa abasubuuzi “certificate” ezibakiriza okutunda ebyamaguzi byabwe. Wano Ntale yanyonyode nti akatale k’ebyamaguzi bya Uganda ebweru w’eggwanga kazibu nnyo okufuna kyoka omusubuuzi ssekinomu bwagenda nakenoonyeza Mukama n’amubeera nakafuna, bwada, minisitule y’eby’obubulimi n’ey’ebyobusuubuzi zimutambuza kumpi bwooya kumuggwa kumagulu okumuwa satifikeeti emukiriza okutunda ebyamaguzi bye ebweru w’eggwanga. Mumbeera eyo omusubuuzi atali muguminkiriza nnyo yenyiwa.
5)Obutamanya. Buno buva kukuba nti abasubuuzi abasajakude okutuuka ku daala ly’okutunda ebyamaguzi byabwe ebweru abasinga sibayivu kimala okutegera oluzungu olubeera kubiwandiiko ebingi byebabawa okujuza. Mumbeera eno, abasubuuzi ekikula kino bafundikira bagude mumikono gyaba ‘broker’ ababafera ssente empya n’enkade okubajuliza ebiwandiiko byabwe.
6)Okukandalirizibwa naddala ku ‘Airport.’ Kino abasubuuzi bakitade kubyuma ebikozesebwa okukebeera ebyamaguzi byabwe okwekyanga ekivirako emirimu okukolebwa mu ngeri ya kamesse tambula.
Mukwogerako eri abasubuuzi abaze okujaguliza wamu ne UGANAS, Kalema kabuuze katta akombe neku paasi nga akakasa nga emisanvu gino gyona bwegigenda okufuuka olufumo naddala eri abasubuuzi abatwala ebyamaguzi byabwe mu Asia ne mu kyondo kya buwarabu.
Kalema mu bigambo bye yagambye nti “tugyeewo ebiziyiza byonna ebibade biremesa abasubuuzi baffe okufuna satifikeeti ya Haal mubwangu. Kino kikoledwa okutusobozesa okulokola obudde bwa basubuuzi baffe ebyamaguzi byabwe bisobole okutuuka mu katale mu budde.”
Wabula Ntale yatubbideko ng’emivuyo mu UGANAS bwegiva ku bamafia abawamba ne ‘airport’ n’ekigendererwa eky’okulemesa abantu abalala okuyingira mu busubuuzi obw’okutunda ebintu ebweru w’eggwanga. Bano baazimba olugyegere(chain) olw’amaanyi okuva kubalongosa ku kisaawe okutuuka nemu office ya Pulezidenti. Nti okumanya bamafia bano tebawena, singa omusubuuzi alemezamu kuby’okutunda ebyamaguzi bye nga tebamukonedemu kigaalo, basobola n’okumutta!
Ebigambo bya Ntale bino Dr.Hillary Musoke Kisanja, omuwandiisi wa Pulezidenti ow’ekyama kunsonga za bavubuka mu by’obulimi, okwongera omutindo ne kubitundibwa ebweru w’eggwanga yabiyiyemu amazzi bweyagambye nti “ffe nga gavumenti tulubirira nnyo okutumbula ebyamaguzi bya Banayuganda ebifuluma ebweru era eno y’ensonga lwaki ng’ogyeko akakiiko ka Odrek Rwabogo(omukodomi w’embuga) aka PACEID akayambye ennyo okusagulira banayuganda akatale k’ebyamaguzi byabwe ebweru w’eggwanga,Pulezidenti Museveni naye tava kunnyonyi okwongera okubasakira era nti ne gavumenti yagyawo n’omusolo ku byamaguzi ebifuluma eggwanga.

Kisanja yafundikide agamba nti abakozi ba gavumenti abenyigira mu bulyake ne mu ngeri endala zonna ezityoboola ekitibwa kyayo bwebakikola nga bbo. Wano bweyasinzide okusaba banansi okukozesa amakubo agaalambikibwa mu mateeka okubaloopa bakangavulwe.