Ssabalongo Mutebi Ayozayozeza Kyabanzinga Gabula olw’okufuuka Ssalongo

BYA:OMULANGIRA DDEMBE YONAH

Nga Abasoga bakyagenda mu maaso n’okujaguza oluvannyuma lw’okufuna amawulire ag’essanyu nti Inhebantu Jovia Mutesi yazaalide Kyabanzinga William Wilberforce Gabula Nadiope(4) Abalingira Abalongo,Ssabalongo Kabaka Ronald Muwenda Mutebi(2) amujagulizako olw’okutuuka ku kula lino.

Kyabazinga Gabula nga asitude Abalongo be mu sanyu eritagambika

Katikiro Charles Peter Mayiga ku lwa Kabaka ne ku lw’Obuganda bwona ategezeza nti obufumbo mpagi nkulu nnyo mukuzimba eggwanga nabwekityo Kyabanzinga bwabeera mufumbo, obufumbo obwo ne buvaamu ezadde, kaba kabonero akalaga nti omusaayi gweyongede okugaziwa.

Katikiro Mayiga nga awa obubaka obuyozayoza Kyabazinga Gabula mu kakalabizo lye ku Bulange

Kamala Byona yagaseko nti mu Buganda omuntu bwazaala abalongo tugamba nti bweeza era yafundikide abalongo abagaliza obulamu obulungi era nasaba Katonda abatekeko nnyo amaaso ge era n’akulisa ne Inhebantu Mutesi esanya.

Abalongo abazalidwa ye Omulangira Arnold Eli Nadiope n’Omulangira Prince William Ethan Nadiope. Bano baazalibwa mwezi guwede nga 27.

Kyabanzinga Gabula eyabade takyasobola kukweeka sanyu lye ery’omwoki wa gonja ye kenyini yeyalangiride amawulire g’okuzaalibwa kw’abalongo bano ku kibanja kye ekya X.

Kyabazinga Gabula ne Inhebantu Mutesi nga basitude Abalongo babwe mu sanyu

OKUZAALIBWA KWA BALONGO KUNAAZIZA ABASOGA ENNAKU Y’OKUGWA KWA KADAGA

Waisswa Swakib,ono nga muvvuzi wa Boda e Kamuli atutegezeza nti okuva amawulire ga Kyabanzinga okufuna Abalongo bwe gaamugude mu matu, Boda nagizaayo mu katimba nga kati ali mu baala ajooga.

Ono yatunyonyode nti kikulu nnyo ye okujaguza kubanga abade mu kiyongobero okuva Rebecca Alitwla Kagada bweyakubwa Sipiika Annita Annet Among akalulu ku kifo ky’omummyuka wa Ssentebbe wa NRM ow’okubiri ow’abakyala.

Waisswa ekyasinga okumuluma kwekuba nti Abasoga mu baalya olukwe mu Kadaga baalimu na bwekityo okuzaalibwa kwa Abalangira bano ate nga na balongo nga ye kimunazizako ennaku yonna.

OBUBAKA OBUWEREDWA ABANTU AB’ENJAWULO

David Calvin Echodu, omumyuuka wa Ssentebbe wa NRM omugya owa Eastern Region yagambye nti tuyozayoza Kyabanzinga wa Busoga ne Inhebantu olw’okutuuka kwa balongo bano musanyu. Leka omukisa guno ogwemirundi ebiri guleete esanyu ery’omuyiika, obulamu obulungi n’enkulakulana mu luryo Olulangira n’Obwakyanazinga bwona.

Farooq Kirunda,ono nga y’amyuuka omuwandiisi wa munamawulire wa Pulezidenti yagambye nti gano mawulire malungi era tuyozayooza Abasoga.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *