BYA:OMULANGIRA DDEMBE YONAH
Lubaga,Kampala
Abawagizi b’ekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM okuva mu bitundu bye Lubaga bakonedemu Ssentebbe wabwe era nga ye Pulezidenti w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa sitampu ademu avuganye kubwa Pulezidenti ekisanja ekyokubiri
Olukiiko mwe baayisiriza ekiteeso kino lwayindide ku St.Lawrence University esangibwa mu Lubaga okulirana Akayanja Ka Kabaka.
Majambere Ivan Kamuntu Ssemakula, Ssentebbe wa NRM mu Lubaga mukwogerako eri emitwalo gy’a bantu abaze okujjulira omukolo guno yanyonyode nti newankubade NRM yatandika okukwata enkasi y’okukulembera eggwanga lino mu 2005 oluvanyuma lweteeka ly’ebyebyobufuzi ebiri ku musingi gwe bibiina bye by’obufuzi okuyisibwa era ne Pulezidenti Museveni nalondebwa nga Ssentebbe wa NRM okutuusa kati ekitegeza nti mubulambulukufu aba amaze emmyaka 20 mubuyinza, ebyo bbo tebabibala kubanga mu 2020 yeyubula ne linnya lya Tibuhaburwa mulufutifuti ekitegeza nti Yoweri Kaguta Museveni eyasooka okufuga ayawukanira ddala ne Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa aliko kati

Majambere yagaseko nti engeri erinnya lya Tibuhaburwa gye lyaali erinnya lya Pulezidenti Museveni ery’omubuto, bweyalizukuza nga alinga atandiise okukadiiwa, kyamuyamba nnyo okudda obuto era nti amaanyi galina gakirako yingini ya break down empya.Kino Majambere yakiwaniride n’ekyokulabirako kya Pulezidenti Museveni bwe yasobola okuduka okukirako Hussein Bolt ku lunaku olwasooka olwa ttabamiruka w’ekibiina w’omulundi ogwokuna eyali ku kisaawe e Kololo.
Majambere yayongede nakinogaanya nti okumanya Pulezidenti Museveni yada buto emmyaka 60 emabega, yasobola okutuula e Kololo ku kisaawe okuva ssawa 4 ez’okumakya okutuuka enkeera ku ssawa 12 ez’okumakya nga tasumagide nga yekenenya okulondebwa kwa bamemba ba CEC.
Majambere yafundiikide asaba Banalubaga balonde Pulezidenti Museveni neera neera kubanga byakozeko mukisanja ekimu kyamaze nga okukuma obutebenkevu mu ggwanga n’okulwanyisa obwavu nga ayita muntekateeka ya PDM n’ebirala bingi birabika.
MADADA NEBANO BWEMUNYIGIRIZIDWA NUP MUTWEGATEKO
Majambere era nga yemuwabuzi wa Pulezidenti Museveni ku nsonga za Buganda yasinzide wano nasaba foot solider wa NUP Sauda
Madada ne bane abalala bwebanyigirizidwa mu NUP babegateko mu NRM kubanga mu NUP gyebali teli “future”
Kino Majambere yakigye kubutali bumativu Madada bweyayoleseza nga NUP emumye Kaadi okuvuganya kubwa loodi Kansala owa Kampala Central songa aze agiyirawo nnyo omubiri.
Majambere yagambye nti mu NRM omuntu ayagala okukwatira ekibiina Kaadi kukiffo kyona, avuganya nebane mukamyufu asinze naweebwa bendera ekiraga nti basa ekitibwa mu demokulasiya naye NUP Kaadi bazigabira baluganda, bako ne mikwano. Nti omuntu atagwa mukowa eryo Kaadi aba alina kugigula na bisaawo bya ssente oba bwaba omukazi nga enfuna ye ntono, Kaadi aba wakugifuna oluvanyuma lwabakulu ku kitebbe kye kibiina e Makerere-Kavule okumwebakako.
Ebikolwa bino Majambere yakigumiza nti kabonero ak’enkukunala nti NUP ejudemu baluvu abasobola n’okutunda ekyapa kye ggwanga singa banayuganda bakola ‘error’ y’okubatuuza Entebbe mu ntebbe wabula Alex Waisswa Mufumbiro ssekamwa w’ekibiina kya NUP Majambere yamwambalide nga bwatalina lukusa kwogera kusonga zikwatagana ku bya nguzi na bulyake kubanga webamulondera okuba omumyuuka wa RDC owa Rukiga, yakozesa bubi office ye bwe yabba ettaka lya banaku ne nte zaabwe.
Mufumbiro yagaseko nti olw’obuvundu bwa system za gavumenti ya Pulezidenti Museveni ensonga bwezatuuka mu kooti zafutyankibwa era yasinzide wano nasaba abantu be Gombà balonde Pulezidenti waabwe Robert Kyagulanyi Ssentamu mu kalulu akajja nabuli muntu agide ku Kaadi ye kibiina kyabwe basobole okubawoolera ebikolwa eby’ekko ebyabatusibwako Majambere n’abamufanana.
Moses Ariho, RDC wa Lubaga omugya eranga yabade omu kubatesitesi b’omukolo guno mukowe ly’okwongera okunyweeza obuwagizi bw’omuntu waabwe Pulezidenti Museveni, yeeyamye okwongera okunyweza eby’okwerinda mu kitundu ng’ayita mukutuuza enkiiko z’ebyokwerinda kubuli kyalo abatuuze basobole okumutegeeza ebintu ebirumira abitereze.Ono era yalayide nga bw’agenda okuteeka omukono ogw’ekyuma kuba kifeesi abatigomya abantu.

Ate abantu abalina obumulumulu kunkola ya PDM, Ariko yabasabye okumutukirira mu bwangu ebirumira byona abikoleeko mu bwangu basobole okufuna ssente ezo begye mu bwaavu.