BYA:OMULANGIRA DDEMBE YONAH
Kampala
Annet Kiyimba na beŋŋanda n’emikwano egy’okulusegere egy’omugagga Joseph Kiyimba nanyini Club Ambiance ne kkampuni ensogozi y’omwenge eya Ambiance Distillers,kyenkana buli luvanyuma lwe ddakika 30 bamukubirako okumanya nga bwali.

Bano keeya okujongeramu bwebati kiva ku kutya nti omuntu wabwe Puleesa zandimukuba nga tebamanyi oluvanyuma lwa Centenary Bank eri wansi w’Ekelezia okwewera okuwamba emmaali ye nga engeri ey’okwesasula ssente zeebamuwoola okwongera okugaziya bizinensi ze
EMMALI EGENDA OKUWAMBIBWA
Emmali ya Kiyimba bbanka eno gy’egenda okweddiza ya Polooti 1481,Block 10 ne Plot 1395 ezisangibwa e Nakulabye, Bukesa mu Kampala. Zino ziri kubunene bwa yiika 0.262 ne 0.363 buli emu era zezitudeko bwaguuga bwa Club Ambiance.

BBANKA EWA KIYIMBA OKULABULA OKUSEMBAYO
Omulimu ogw’okuwamba ebbaala eno bbanka yaguwade bawanyondo abakambwe aba Banu General Agencies era mbagirawo bafulumya ekiwandiiko ekibanja kino kyekyalabyeko n’amaaso abbiri nga balabula Kiyimba nga walina okulwana masajja mu nnaku 30 okulabanga asasula ssente bbanka zeyamuwoola namagoba gonna nga bwegakanyizibwako.Kino Kiyimba singa kimulema okola, bbanka ajakuba agirekede eky’okusalawo kimu kyakwediza mmaali ye.
Bawanyondo bano Kiyimba era bamuwade akadinisa kokufulumya ebintu bye omuli emizindaalo gye egibade gibogola, entebbe ne mmeeza, biiya ne waragi ebyasigalamu mu nnaku 14 ezinaaba zisigadeyo ennaku 30 zalina okusasuliramu bwezirina okugwerako.
Singa omukisa guno Kiyimba gumulema okukozesa,bawanyondo baweze nti bajjakuwalirizibwa okumenya ebintu bye babikasuke ebweru.
Ekiwandiiko kino Kiyimba Kyamukuba waala era kyekikanaluzala wa Puleesa ze okulinya
KIYIMBA ADDUKIRA EWA SSABASUMBA AMUYAMBE
Ensonda kulusegere lwa Kiyimba zaatubulide nti oluvanyuma lwa Kiyimba okufuna ekiwandiiko kyabawanyondo ekikambwe,mukubutabutana yasalawo addukire ewa Ssabasumba Paul Ssemwogere amuyambe ng’Omukristo bbanka ye Ekelezia ereme kutwaala mmaali ye naye abakulira eby’amateeka ku lutiko e Lubaga ne bamukuba ekikono.

Bano bamunyonyola nti newankubade Ssabasumba Ssemwogere yakulira boodi ya Bbanka,talina ngeri gyagenda kumuyambamu kubanga 1)teyaliyo gyebamuwolera ssente,2)Bbanka bizinensi elina okulwana okulaba nga ejayo amagoba gayo mu ngeri zona. Bano baamugatirako nti singa buli Mukristo Centenary Bbanka gweba egenda okuwambira ebintu aduukira wa Ssabasumba Ssemwogerere amuyambe, singa bbanka teyagwada.
Eno Kiyimba yavayo awotokerede era okuva kw’olwo Puleesa ye yeyongera okulinya.
KIYIMBA KATI ENSONGA AYAGALA KUZILOOPA WA PULEZIDENTI MUSEVENI
Ensonda ku lusegere lwa Kiyimba zaayongede ne zitutegeza nti Kiyimba mu kwongera okulwana okulaba nga ataasa emmaali ye obutagenda etyo taayo,yasabye abanene mikwano gye bamutuuse eri Genero Salim Sale muto wa Pulezidenti Museveni oba eri Pulezidenti kennyini asobole okubanyonyola ebizibu bye balabe engeri gyebayinza okumuyamba ku bbanka eyesomye okutwala emmaali ye.
EMBEERA EYAVIRIDEKO BBANKA OKUWAMBA EMMALI YA KIYIMBA
John Walugembe, omukugu mu byenfuna asuubira nti Kiyimba yewoola ssente n’ekigenderwa eky’okugaziya Club ze naye natataganyizibwa omugalo gwa COVID-19 ogwamazako ebiffo ebisanyukirwako akabanga nga bigale

Ono yagaseko bizinensi ya club tekyakola nnyo mu Uganda kubanga 1)Zakusasulira okuyingira,2)Biiya waayo wa beeyi, 3)Bananyini bbaala entono mu bitundu naye nga zirina ebifo ebigazi enaku zino bakopa enkola ya Club ey’okuleeta abayimbi okusanyusa abantu ku miwendo emitono oba oluusi ku kakodyo ka bw’ogula ekyokunywa nga oyingira.
Mu mbeera eno mufuna mpola ayagala okwesanyusamu bwabalamu okuteekamu tulansipooti we agende mu club ate atuuke ku mulyango bamusasuze okuyingira amale agule biiya owe beeyi, agenze ku kabbaala k’omukitundu akamuli okumpi ab’asinga
Walugembe yafundiikide agamba nti ensonga eno yeevirideko Club okuli Silk n’endala ezize ziggwa okuggwa.
KIKI EKIRINA OKUKOLEBWA
Walugembe yanyonyode nti mu nsi ezakula, omuntu bwagenda okwewola ssente, azimuwoze kimukakatako okumuwa ku magezi ag’engeri gy’alina okuzisasanyaamu asobole okumusasula naye wano e Uganda olw’okubanga esaala ya Bbanka eba eyewooze alemererwe okusasula, kino tebakikoola
Wano weyasinzide okuwabula Kiyimba ademu batuule ne bbanka ku mmeeza bateese