BYA: OMULANGIRA DDEMBE YONAH
Kira,Wakiso
Munaku eyoza lumonde natukuula,Monica Muwonge alajaanide mutabani w’omukulembeze w’eggwanga era nga ye mudumuzi w’amagye g’eggwanga aga UPDF Genero Muhoozi Kainerugaba n’abalala bekikwatako okumutaasa ku munaabwe Captain Musa Akandwanaho akolera wansi w’ekitongole ky’ennyonyi amufuukide olukokobe ku ttaka lye.
Ettaka Muwonge lyakayanira ne Akandwanaho liri ku Polooti namba 1159 era lisangibwa Buwate mu Munisipaali y’eKira mu Wakiso Disitulikiti
Akandwanaho ne Muwonge baliranwa era enkayana zaabwe ku ttaka zatandiika mu 2023

Muwonge yalutuviride ku ntono nti Akandwanaho bweyali azimba ekikomera ku ttaka lye eriri ku Polooti namba 1158, yayingira mulilye decimal 7 era bweyali akola ekyo, yayonona n’ebirime bye.
Okugezako okugonjola ensonga mu buntu bwekwagana,Muwonge yasalawo okwekubira endulu ku Police ye Buwate naye yalinga akubye e jinja mu njuki kubanga Akandwanaho mukumwanukula, yalumba na mundu nagoba abakozi be ku ttaka.Akandwanaho yamega naluma bweyeyongera okusaawa ebirime bye nazimba n’omudumu ogufulumya kazambi okuva ewuwe nga gumuyiwa mu ttaka lya Muwonge.
MUWONGE AGYA ATYA OKUFUNA OBWANANYINI KU TTAKA LINO Ebiwandiiko ekibanja kino byekyalabyeko n’amaaso abbiri biraga nti Muwonge ettaka lino yaligula agoberera puloseesi ya kooti okuva ku Bailiff Ismail Magumba,nannyini kkampuni empozi ya ssente eya Capital Debt Agency.
Muwonge agatako nti nga Ssentebbe we ow’ekyalo amaze okumukakasa nti Polooti eno teriko agamba, yatukirira baloya be aba Alaka and Company Advocates okumugobera ku ntekateeka zona ez’okulabanga afuna obwananyi ku ttaka lino.
Muwonge ekisinga okumwewunyisa kwekuba nti Akandwanaho naye yeyambisa balooya bebamu bweyali agoba ku by’obwananyini bwe ttaka lye nga kati tategera lwaki okuva bweyasalawo okukulakulanya ekibanja kye Akandwanaho yasalawo okumubbako ettaka lye kukifuba
Muwonge era ekisinga okumuluma kwekuba nti ssente z’omusaala Akandwanaho zakozesa okumutulugunya, emmundu gy’akozesa okumutisatiisa n’ekyambalo ky’amagye mwamukolerako byonna yabisasulira ku musolo gw’awa.
AKANDWANAHO YEWOOZAKO
Ekibanja kino bwekyatukiride Capt.Akandwanaho ku lukomo,yeeganye ebigambibwa Muwonge nti yatwala ettaka lye kukifuba.Ono yalumiriza Muwonge okujingirira ebiwandiiko ebikwata ku bwannannyini bw’ettaka lino era bwe yakitegerako nti yali anoonyezebwako yasalawo obutadda ku Police newankubade yeyali asoose okuloopa.Wano Police ye Buwate weyasinzira okugula ku Muwonge omusango gw’obubbi n’okugingirira ebiwandiiko ne misango emirala mingi.
POLICE ETANGAZIZA
Patrick Onyango, omwogezi wa Police owa Kampala n’emirirwano agamba nti tewali muntu yenna ali waggulu w’amateeka era ensonga eyo ejja kugobererwa okutuuka ku nkomerero.

AMAGYE GOOGEDE KU BUSIWUFU BWE MPIISA BWA MUSAJJA WAGO
Maj Gen Felix Kulayigye,omwogezi wa UPDF yatugambye nti tasoboola kwogera ku nsonga eno kubanga ekyanonyerezebwako naye yeyamye nti Akandwanaho singa omusango gumukka mu vvi, aja kukolebwako ng’amateeka bwegalagira.
