BYA:MICHEAL WRITER
Nga 1/12/1948 omulambo gw’omusajja eyali tamanyidwa mannya oba gye yali ava gwasibukamu egimu ku misango egikyasinze okulumya abakugu mukunoonyereza emitwe okuva mu kyaasa ekya 20 okutuuka nakati.
Enfa y’omuyiise ono yetolera ku mpandiika enekusifu n’akatwa akakambwe ebyaleka abanoonyereza nange Ssekanyumiza wammwe nga twetakula mitwe nga babiwalaata.
Eeeeeh…! Mu na nanga mpisa mbi na kwebuuza gyenakulira nti ‘oba tewaali bantu?’Bannage, munsonyiwe.Mugyebalege gyemutusaako engalo.Ddunda yeebale okubakuuma nensobola okubasangawo mwanatu nga enkuyege zikyabakubira enduulu.Numilirwako mwenna abanyigiriziddwa mu ngeri ezitali zimu ate ne nsanyukirako mwe mwenna abalina amakula gemutuuseko,nanti omulirano gwookya bbiri.Engeri gyekiri nti ebirwa bikyuuka!Wano wenkusabira gwe munange bwetuyitayita otuule okalire ndukuviire ku ntono nga tonàba nga banno balulira ku nkoligo olwo no bwetunejukanya nga nti enviiri…ngo!
OMULAMBO OGUTAMANYIDDWAKO MAYITIRE GUZUULIBWA
Ku maliiri ng’obudde bunyogogerera ku bbiiki ya Somerton Park esangibwa mu kibuuga Adelaide mu maserengeta ga Australia abagalana abaali bagenze okulya obulamu bw’ensi eno obumpi ennyo anti okulyà ssente sikulya mwana,banyogoga wakati mukwemetta ebitoole bya laavu bwebaagwa ku mulambo gw’omusajja omu nga gunennye mu saati enjeru,etaayi eyobukubo obumyufu,obweru ne bululu,empaale ya bulawuuni,sookisi n’engato kwossa ne kooti y’ekimerika eyali mulangi za gule ne bulawuni.
Omulambo gw’omwami ono gwali gwebakide ku mugongo ku musenyo gwa biiki era nga gusaze nako, wama gwe nga agulabira ewala oyinza okulowooza musajja mukulu awujadeko kumbe nga yakiride dda ewa Walumbe e Ttanda.

Ekiffo ekirambe ne X webazuula omulambo gw’omuyiise ono
OMUYISE ONO YAFFA KI?
Olwokuba omulambo gw’omuyiise ono gwali mu mbeera nungi ddala nga teguliko yadde akamogo oba enkwagulo abatuuze mukyekango bakubaganya empawa nti omugenzi yandiba yekatankira nnyo Omumbejja Namalwa oba ebiragalalagala ebirala ne bimwabya omutima kubanga munsawo ye kooti ye basàngamu emisokoto ja taaba 7 egyebika eby’enjawulo ate abalala baalowooza nti omugenzi stress yandiba yamusukako nemwabya omutima obanga yaffa buffi kikutuko.
Wabula bbo abasirikale abajawo omugenzi ku biiki batabulwa nnyo.Abamu baawanuza nti omuyise ono yandiba yattibwa abazigu,mu ngeri y’okubuza obujulirizi ne bamuleeta ku biiki okukifananya ng’omugenzi eyayitideyo nga yebase ate abalala bagamba nti omuyiise ono yandiba yali mbega bakama be gwebapangira olukwe olw’okumuta.
Bano okulowooza bati baasinzira kukuba nti mu kwongera okwekebeja omulambo gw’omuyise ono,mu kasawo akatono ak’empale ye bazuulamu akapapula akaali akazinge ennyo.Kano kaali ko ebigambo “Tamam Shud.”Ebigambo bino byali biwandiike mu ngeri enekusiffu mu lunyanyimbe cryptic Code. Empandiika eno yeyambisibwa ennyo bambega ba Soviet Union oba Russia kati mu biseera bya ssematalo 2.Abakugu mu nimi abaleetebwa okuvunnula ebigambo bino banyonyola nti ebigambo bino byaali mu lulimi lupersia ebitegeeza nti ‘kiwedde’ oba ‘kikomekerezedwa’
Bano era endowooza bagigumiza ku kuba nti akantu omugenzi mweyali atereka emisokoto ja sigala bwe kaali aka banamagye ne kukuba nti omugenzi teyalina yade ekiwandiiko ekyali kimwogerako atenga nabuli “label” eyali ku ngoye ze yali eyuzidwako ekitegeeza nti abatemu baali bakugu nnyo.
Kyoka ye Dr. John Dwyer omukugu mukwekebejja emirambo bweyekenenya omulambo gw’omuyiise ono yeewunya nnyo okukizuula nti ebitundu by’omunda eby’omugezi byali byepakide nnyo ekintu ekitali kya bulijjo era nti nemunye z’amaaso ge zaali ntono nnyo ekyamuvirako okukola alipoota nga alumiriza nti omugenzi yaffa butwa.
Dwyer yeyongera okutabula okunoonyereza bweyanyonyola nti newankubade omugenzi agenda kuffa nga essawa nnya emabega amaze okulya,emmere gyeyali alide simwebali bamuterede obutwa.
Ono yatanya nti omuyise ono yandiba yawebwa butwa obwekika kya Barbiturates obukolebwa okuva mu acid wa Barbituric atta empola mpola omuntu oba obutwa bwekika kya Hypnotic obuva mubilagalagala bya Psychoactive ebiremesa omuntu okwebaka.
OMUGENZI YALI AVA WA ERA YALI ALAGA WA?
Mu nsawo ze mpale z’omugenzi basangamu tikeeti yegaali y’omuka eya “class” 2.Eno yali tekozesedwa era yalàga nti omugenzi yali wakuva mu Adelaide ayolekere ku biiki Henley.
Tikeeti endala eranga nayo teyali nkozese yali ya baasi.Eno yalaga nti omugenzi yali wakutambulako mu Adelaide.
Dr. Burton Cleland,omukugu omulala mu kwekebejja emirambo yafulumya alipoota nga agamba nti omugenzi atekwa okuba yali mungereza eyali wakati w’emmyaka 40-45.Ono era yànyonyola nti omugenzi yaliko obuwanvu bwa fuuti 5 era nti ne munye z’amaaaso ge zaali za gulwe.
Kati wakayita emmyaka 70 bukyanga omulambo gw’omuyiise ono guzuulibwà ku biiki naye n’okutuusa kati, abakugu mu kuvunula empandiika enekusifu na basirikaale bakyakotakota mu galumonde okuzuula ekituffu ekyavirako omusajja ono okuffa, gyeyali ava oba okumanya ab’eŋŋanda ze atenga sayansi ne tekinologiya bikuze nnyo.

Nga Abaganda bwebalugera nti Ekiri mu ttu kimanyibwa nnyini kyo, kati omugenzi yasigade okutubulira ekituffu ekyavirako okuffa era bwaliba andoseza nga bwebatankubira bigambo,ndida ndukusetulire.
Abagalwa nkomye awo kuba ebyensi tebikoma.Buli omu andabire ab’ewabwe mpaka olundi lwetulidamu okuwaya.Awangaale nnyo Ssebuffu bwango.