BYA:MUSAASI WAFFE
Banna Kira Naddala abawangalira e Kyaliwajala ewali akakiiko k’ebyokulonda baasibye emitiima gibewanise nga eyabulirako ow’olugambo nti abakuuma bandikubamu kibooko,amasasi n’omuka ogubalagala nga bezooba n’abantu abangi abanvuganya kubwa Ssentebbe wa Namugongo Divisioni bebaze nabo mukwewandiisa.
Okusinziira ku kulungamya kw’Omulamuzi Simon Byabakama,Ssentebbe wa kakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga,buli mukulembeze ayagala okuvuganya ku kiffo kyona mu ggwanga alina okugenda ku kitebbe kya kakiiko k’ebyokulonda k’omukitundu kye okwewandiisa n’abantu abasuuka 10 n’emmotoka ezitasukka bbiri zebalina okusooka okufunira olukusa ku Poliisi naye bino abanvuganya kubwa Ssentebbe bwa Divisoni eno,babizimude webazze ne namungi w’omuntu okubawerekera ekyalesewo okutya mu batuuze nti Poliisi yandiwaliririzibwa okuteeka emisanvu mukubo okutangira abawagizi bano okutuuka ku kakiiko.
Kevina Namirembe omu ku batuuze mukutya oluvanyuma lwa Police okuyungula abawanvu na bampi yatutegeza nti buli Poliisi wesika omuguwa ne banna byabufuzi emmali yabwe eyononeka kubanga mukukuba omuka ogubalagala mubawagizi,bafundikira baguyiye nemu bintu byebatunda mu maduuka gabwe obuwunga bwabwe n’emigati ne byononeka,yagaseko nti mu kalulu akawede Polisi weyali egugumbula abawagizi ne banna byabufuzi yakuba amasasi agakwatiramu n’omwana w’emmyaka 5.
EBIKWATA KU DIVISONI ENO
Namugongo Divisoni yatandikibwawo mu 2016 era yemu ku division esatu ezikola Munisipaali y’e Kira.
ABANVUGANYA KU KIFFO KINO
Embiranye okusinga eri wakati wa muna NUP Ronald Bulega Nkalubo eranga ye Ssentebbe aliko ne muna NRM Moses Haumba.PFF Kaadi yagiwade David Muya Ssekiziyivu ateyo DP yakomezawo Gaster Mukasa,Ssentebbe wa Division eno eyasooka.

Peter Kazibwe yaze talina kibiina oluvanyuma lwokumibwa kaadi ya NUP.

Bano mukugenda okwewandiisa beraze eryanyi buli omu weyaze ne ggaali yabawagizi ekitini nnyo 100.Bakira buli luuyi obwedda luwaga nga obuwanguzi webwabumaze edda.
ABESIMBYEWO BAWAGA
Newankubade ebibalo biraga nti Nkalubo agenda kusanga obuzibu okuddamu okuwangula ekisanja eky’okubiri olw’amanyi ebibiina ebirala byebimutadeko,ayogeza lugumugumu nti byakooze nebili mububage bingi era nti kwebyo abantu kwebagenda okusinzira okumuyirira obululu.
Wabula Mukasa ebigambo bya Nkalubo yabiyiyemu amazzi weyategezeza nti okuva omuyaga gwa NUP wegwamusigukulula mu ntebbe,ekitibwa kya Divisoni eno kyeyali azimbye kyaffa nnyo olw’obucaafu obusukiridde mu myaala ne ngudo okuwomogokamu ebituuli.

Haumba yeyatutegezeza nti azze kukomyawo buwagizi bwa NRM obubadde bwasanikibwa oppozisoni olwo alyoke akole kungudo embi eziri n’okulwanyisa ebbula ly’emirimu mu bavubuka ate ye Ssekiziyivu yatugambye nti obumanyirivu bwafunye okuva mubisanja 3 byamaze nga kkansala bumumala okukulembera Divisini eno.
Abagoberera ebyobufuzi byomu Divisoni eno bakinoganyiza nti omuntu ayagala okulya obwa Ssentebbe esiira alina okuliteeka ennyo mu muluuka gw’e Kireka ogukolebwa Kasokoso ne Kireka kubanga gwe gusingamu abantu abangi.
ENGERI POLIISI YEZOOBYE N’ABAWAGIZI
Newankubade abaze okwewandiisa baze n’abawagizi bangi okwewandiisa Police nga bulijjo yabataliza okuyingira munda mu kikomera kya kakiiko k’ebyokulonda era wano wabadewo okusika omuguwa okwamanyi.
Bano Poliisi weyabasinziza basazewo okugiwereza ebigambo ebisongovu nga webalinda abantu babwe bebabade balese okuwandiisa.