Ekyavirideko Mao okusulawo obwa Pulezidenti nadukira ewabwe e Gulu

BYA:OMULANGIRA DDEMBE YONAH

Okuva NEC ya DP bweyalondebwa mu ttabamiruka w’ekibiina eyali e Mbarara,nga 19,09 yatude omulundi ogwasokede ddala nebayisa ekiteeso ky’obutasimbawo kandideti ku ntebbe ennene ey’eggwanga eya Pulezindenti.

Ekiteeso kino kyayanjudwa Fred Mukasa Mbidde,omumyuuka wa Ssentebbe w’ekibiina owa Buganda ne kiwagirwa nnyo Imam Makumbi,omumyuuka wa Ssentebbe w’ekibiina owa Western Region,Fred Kuyonga ow’abazirwanako ne Peter Ndinywa omukise wa Bukedi Region.

Ekiteeso kino kitegeza nti Nobert Mao tagenda kwesimbawo ku bwa Pulezidenti newankubade empapula z’okulaga nga bwebagala okuvuganya Gerald Siranda Blacks,Ssabawandiisi w’ekibiina yali azikimyeyo ku kitebbe kya kakiiko k’ebyokulonda.

MAO OBUTESIMBAWO ABA TAMENYE SSEMATEEKA WA DP?

Okusinzira ku ssemateeka wa DP memba bwalondebwa ku bwa Ssentebbe w’ekibiina ‘automatically’ afukirawo kandideeti w’ekibiina ku bwa Pulezidenti naye Mbidde yanyonyode nti newankubade ssemateeka ayogera atyo,talimu kawayiro kakifuula kya katala nti memba oyo atekwa butekwa okwesimbawo ku bwa Pulezidenti ekitegeeza nti Mao talina teeka lyamenye.

Mbidde

Ono yagaseko nti guno ssi gwe mulundi ogunaba gusoose DP obutasimbawo muntu kubwa Pulezidenti kubanga ne 2016 yakikola.

LWAKI MAO TAGENDA KWESIMBAWO KUBWA PULEZIDENTI?

Mbidde yatugambye nti bakoze okusalawo kuno kubanga okulonda okujja tekugenda kuba kwa bibiina byabufuzi wabula kugenda kuba kwakutekateka Uganda empya mubuufu obwo kyebavude basalawo amaanyi ne ssente Mao byabade agenda okukozesa mu kalulu abiteeke ku bifo byebasubira okuwangula mu Local Government ne ku bwa MP okwetolora eggwanga lyona naye nga Ssentebbe Mao abade alina okuba kandideeti wabwe ku bwa Pulezidenti nga yakute omumuli ogw’okusagulira abantu bebawade kaadi obululu kibasobozese okuba n’abakulembeze abanasobola okutekeratekera Banayuganda Uganda empya.

OKUVUGANYA MU KALULU KOMANYIDE DDALA NTI TEKALINA MAKULU WOTABA MUSIRU OBA MULAMBO

Mbidde yanyonyode nalambulula nga bwe bakizude nti mu Uganda okuvuganya kubwa Pulezidenti ng’amateeka gebyokulonda tegakyuse kyenkanankana ne ky’omuntu okugoba empewo.Nabwekityo okuvuganya mu kulonda kutyo omuntu bwataba musiru aba mulambo kubanga byo byeyisa muneyisa eranga nti ebigenda mu maaso tebibiraba songa ababyetolode bibaluma.

Ebigambo bya Mbidde bino bitukira bulungi nnyo kubigambo bya Mao byeyagambye nti NUP yetaga kununamu butwa

DP ENAWAGIRA NRM KUBWA PULEZIDENTI?

Mbidde bweyabuzidwa nti engeri gyekitegerekese nti DP siyakusimbawo muntu yenna kubwa Pulezidenti, bagenda kuwagira ani,yazemu abalata nga bwafunya ensige nti mujjukire nti tulina endagaano yaffe ne NRM,tuyinza okusinzira awo netusalawo nti tutambulire wamu ne kandideeti wabwe Pulezidenti Museveni oba netuwagira omuntu omulala gwetulaba nti alimu omuzinzi naye ekikulu twalese bali abagala okwesimbawo ku Pulezidenti we ggwanga mu mateeka agatakyuse,bbo babalangire nti bawangude naye nga DP temaze budde bwayo mu kalulu akatalina makulu.

Akategede kuba mungalo kuba amagezi gaba gaze…

DP YAKUWAGIRA NANDALA

Wabula ensonda zaffe ezesigika zatubbideko nga Mao bwali mu nteseganya ne Nathan Nandala Mafabi okumuwagira kubwa Pulezidenti.

Nti enkiiko zituula mu kiro ku Hotel Africana,Kampala wakati wabakulu bano bombiriri naye endagano ekyabalemye okutukibwako kubanga ekyabuli omu obutasimba kandideeti wali mune n’ebirala bingi bikyabalemye okukanyako kyoka kadde kawedeyo kubanga Nandala anateera okutandiika kampeyini.

Okumannya DP ne FDC bandikolagana,Nandala bweyategeka Homecoming ewabwe mu Bugishu,Siranda yali omu kubangenyi ab’enjawulo abaayitwa ku mukolo guno era bweyawebwa akazindaalo okwogera yasaba abantu okuwagira Nandala kubanga yeyeka alina visoni ey’okununula eby’enfuna by’eggwanga lino ebyaggwa.

MAO AGENDA KWESIMBAWO EWABWE E GULU

Ng’endagano enyweza enkolagana wakati wa DP ne FDC emaze okuluma,kigambibwa nti Mao yandidukira ewabwe e Gulu yesimbewo ku kifo ky’omubaka wa Gulu Municipality aleme kusalwa nnyo singa Pulezidenti Museveni yefuula namukwata ku nkoona namufumula ku bwa Minisita.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *