Maracha ne Koboko
BYA:OMULANGIRA DDEMBE YONAH
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni nga yakuute bendeera ya NRM kubwa Pulezidenti olunaku lwa leero omuyigo gwa kalulu ku ntebbe eno ennene mu ggwanga agutute Koboko ne Maracha era okujako oli nga talabya ndali,wengamba nti yakubye olwa namungi w’omuntu eyeyiye ku bifo wekubye enkungana okuwuliriza obubaka bwe,omuntu aba asobola okukiriziganya nange.

Mungeri y’okulumya abayaaye Evelyn Anite minisita omubeezi owa bamusiga nsimbi mu minisitule y’ebyenfuna nga yomu ku baana enzalwa ey’e Koboko,wano weyasinzide okuyimba nti maama…amasanyalaze ogawulira…?!
Pulezidenti Museveni olukungana lwe olwasoose yalukubye ku kisaawe kye ssomero Nyadri Urban Secondary School era mu ku nnyonyola Banamaracha ebitukidwako,yagambye nti abazimbide amassomero 62 aga Pulayimale naga ssekendule 7.
Gano newankubade gali ku musingi gwa bonna basome,Museveni yakiriza nti galimu akalumira ka aba gakulira okutekawo emisoso egyenjawulo mwebasololeza ssente empya ne nkade mubazade ekintu ekyeyakatiriza nti kikyamu nnyo.
Ebbala lino mu bonna basome Pulezidenti Museveni lyeyeyamye okwoza aligyemu singa bamwesigisa ne bamwongera ekisanja

Pulezidenti Museveni era yasubiza nti singa bamulonda ku lugudo lwa Karuma-Koboko,wakwongera okubazimba engudo endala 4 okuli olugudo lwa Atiak-Adjumani-Moyo,Panyimur-Pakwach,Rhino Camp-Wanyara neTerego-Moyo.

Jajja olukungana lwe olwokubiri yalukubye ku kisaawe kya Ombachi era mukwogera kwe eri Banakoboko yalaze essanyu nti;
1)entekateka ya PDM esobode okujja amaka 18,000 mu bwavu.
2)Amazzi basobode okugatuusa ku byalo byeno ne bitundu 79%
3)Amasanyalaze batandiise okugabunyisa mu bitundu byeno
4)Yakabazimbira amassomero ga bonna basome 59 aga Pulayimale,aga ssenkendule 6 na gatandikirwako 2.

Pulezidenti Museveni era yajjukiza Banakoboko nga wakooze buli ekisoboka wansi wenjuba okulaba nga alwanyisa ebyobufuzi by’okusosola mu mawanga n’okuyigiriza eddembe lya bakyala n’abaana.
Kubino byakoze ebirabwa nayonka, Pulezidenti byeyasabye Banakoboko basinzire okumwongera ekisanja.