Owino,Kampala
BYA:MUSASI WAFFE
Abasuubuzi mu katale ka St.Balikuddembe(Owino) baweeze nti singa Omugagga omuto Hamis Kiggundu adamu okulinnya ekigere kye mu katale kabwe,bakumukuba emigo egitamanyi gya mubi wa boda.
Bano okutaama okukirako enumba kyavude ku luvuvumo okutambula nti Omugagga omuto Ham,nanyini kampuni ya Ham Enterprises agenda kukuba ekibaati ky’okutandiika okuzimba ku kitundu kye ttaka lya katale kabwe oluvanyuma lwa KCCA okwongera okumuguza ettaka.

Bino ekibanja kino “ekiterya ntama” byakikasidwa Khamadha Bukenya ne Robert Mukalazi abakulembeze ba basubuuzi mu katale abatugambye nti Omugagga omuto Ham yalabibwako ne basajja be nga bapima mu kitundu kya katale ewanyiddwa nga mu ‘produce ‘ekiriraanye omwala gw’e Nakivubo Ham gwali mukuzimba


Mukusooka ebikolwa bya Ham ne basajja be abasubuuzi abakolera mu kiffo ewagenda okusendebwa basooka ne bamima amazzi naye kabuuze kata bagwewo ekigwo Robert Mutebi,Market Master wa katale weyatuziza olukiiko mweya babikiride nga webalina okwamuuka ekiffo ekyo mubwangu ddala kubanga KCCA yayongedde newa Ham mita 12 ku ttaka lya katale asobole okuzimba obulungi omwala.

Ono yayongera nalagira abasubuuzi mu kiffo kino obutadamu kulekawo mmaali yabwe kubanga essawa yona ekibaati ky’okutandiika okuzimba kigenda kuluma.
Ebigambo bino abasubuuzi byabasikula nnyo emmeme ne batabuka nga webagamba nti bakooye ejjogo lya Ham ery’okubayiganya nga buli webakolera ate abalala obuzito bwe bigambo ebyo byabasukako ne bazirika.
Bukenya yatunyonyode nti mita 12 KCCA zayayongede Ham zirimu amadduuka agasuka mu 3000 n’emidaala egisoba mu 200 ekitegeza nti abasuubuzi abawerako bagenda kufiirwa ebiffo webakolera era wano weyasinzide okuweera nti Ham oba basajja be singa bakoola ‘error’ ne balinya ekigere mu Owino,bandi ffa nga omubi wa boda kubanga abasubuuzi bamalirivu nnyo okulwana okusigaza webajja akawogo ne fees z’abaana.
OMUSAAYI GUGENDA KUYIIKA
Robert Mukalazi,omusuubuzi w’engatto mu Owino yatukakasiza nga webazimbye eggye lyebayawudemu mirundi ebbiri okukuma akatale kabwe mu mpalo ekiro Ham aleme katwala nga weyatwala aka Park Yard
Ate ye Vicent Ssekatte,omusuubuzi we ngoye mu Owino yatugambye nti newankubade Omugagga Ham talina ‘loose’ singa aba yesimbye mu kintu,ku luno okubajja webali ku bbo oba kuye kulina okubako affa.
ABASUUBUZI BADDUKIDDE WA SIPIIKA AMONG ABATAASE
Ebyo nga biri bityo,abasuubuzi abamu mu kusoberwa basazeewo okuwandiikira Sipiika Annita Annet Among ebbaluwa erimu okwemulugunga kwabwe ku Ham okubagooba ku ttaka erya bagulirwa Pulezidenti naye ekubo lino abasubuuzi abamu baliwakanyiza nga besigama kukuba nti Ham weyali atandika okuzimba ku mwala Palaamenti yayingira mu nsonga ezo era Sipiika natekawo n’akakiiko kalamba akakola alipoota eyafutyankibwa oluvanyuma lwokulaga nti nga Ham amaze okuzimba omwala,ku ngulu wakuzimbako amaduuka agasoba mu 1500 Ham
BEKIKWATAKO KYE BAGAMBA
Bekikwatako okuva ku Mugagga Ham,Market Master Mutebi n’omwogezi wa KCCA Daniel NuweAbine wetwabakubide okubako kyebatangaza ku nsonga zino,baganye okukwata amassimu gaffe.
Naye wetwatukiride Sipiika wa KCCA Zahara Luyirika eranga yakuute kaadi ya NUP ku kiffo ky’omubaka owa Makindye West yatutegeza nga ensonga ezo wabade tazimanyiko naye neyeyama nti nga amaze okuzikakasa,wakuturizawo kanso okulabanga basalira wamu amagezi okutassa omuntu wa wansi