Ssemujju akalulu kamutudde mu kifuba Musajja wa Genero Muhoozi n’abalala 7 bewera kumuza mukyalo e Bijaaba

Kira,Wakiso

BYA:MUSAASI WAFFE

Newankubade kawanddula bigambo Ibrahim Sssemujju Nganda omubaka wa Kira Municipaalite mu lujudde ayogeza manyi nti n’okulonda kuno akalulu agenda kuwuuta buva,waba yekka afuna okutya nti abalonzi bandi munaabira mungalo ne batamukombya kalulu.

Bino olupapula luno olukwekula ebyaama byalulakasiddwa omu ku ba ssabakunzi ba Ssemujju eyatugambye newankubade kandidenti waffe ali ku foomu mu Palaamenti,amazima gali nti minzaani ku gulawundi yekubiddemu 

BAJETI YA KALULU SSEMUJJU AGIKENDEZEZZA

Ssabakunzi ono yayongeddeko nti olw’okubanga Ssemujju akiwulira nti ekifo kye kiri mu lusuubo bajeti ya kalulu yagisaze asobole okugenda mu kuwummula eby’obufuzi nga alinamu ku ka ssente wabula wetwamubuziza nti lwaki Ssemujju teyakirizza nawummula eby’obufuzi yategezezza nti akalulu kalinga zaala,omuntu asiba akapapula naye aba akimanyi nti ayinza obutawangula naye ekyo tekimulemesa kusiba ku muzannyo gw’abayagala

EKY’OKUBIRI:Akalulu kalinga mupiira nga tegunagwa ttimu eba ekulembedde teyinza kwelangirira ku buwanguzi kubanga ne mu ddakika ezisembayo ebintu bisobola okukyuuka.

Okusunsula abeegwanyiza ebifo by’obubaka bwa palamenti kwakomerezeddwa nga abantu 8 bebesowoddeyo okusigukukula Ssemujju mu Palamenti mwamaze emmyaka 15,bakira buli obwedda amala okukakasibwa Tolbert Musinguzi ssentebbe w’akakiiko k’ebyokulonda mu Wakiso Disitulikiti nga awagga nga bwalinze okulayira.

DANIEL KANANURA:Yakwatidde ekibiina kye NRM bendera.Ono olwamalirizza okwewandiisa nakuba olukungaana olw’amanyi ku kisaawe kye Bweyogerere okumpi ne Poliisi gyeyasinzidde okutegeza abalonzi nti essawa etuuse bafune omubaka amanyi omuntu wa wansi bave ku Ssemujju avumirira gavumenti nti mbi ate nga ye musasula omusala omusava mwagye obugagga kubanga kati y’omu ku bagagga abasinga ebizimbe ebingi mu bitundu by’e Wakiso,Kampala ne Mukono 

Kananura asuza Ssemujju ng’akukunadde olw’ebigambibwa nti alina manyi okuva ewa sabaddumizi wa magye Genero Muhoozi Kainerugaba era akulira ekisinde kya PLU

Ssemujju aze ajonkera Muhoozi nga asirise,wano wagya okutya nti yandi mwesasuza nga ayambako mukubira Kananura obululu namuwangula bwatyo nafulumya Palamenti ewooma mulusago.

GEORGE MUSISI:Ono Ssemujju mu bavuganya nabo gwasinga okutya kubanga NUP ekibiina ekisinga obuganzi mu Buganda gwekyawa kaadi.

Mu kulonda okuwede Ssemujju yali omu ku babaka abasobola okusimatuuka omuyaga gwa NUP naye ku luno kikyali kizibu okumanya oba anasobola okuwonawo kubanga Kyagulanyi mumalirivu nnyo okumukubya amasanyalaze ge aga 3 “phase.”Ekyatasa Ssemujju mu kulonda okwo kyali kyakuba nti yali akiraze mu lwatu nti newankubade yali wa FDC Kyagulanyi yali amukiririzamu era Kyagulanyi kyeyava tamutekako nnyo manyi kumusuula naye okuva PFF Ssemujju mwali nga Ssabawandiisi weyatandiikawo,wabalukawo olutaro olwakasirise wakati wa NUP ne PFF era Ssemujju aze ayisa eggali mu bakulembeze ba NUP ku kitebbe e Makerere-Kavule naye nga tebamudamu kumbe Kyagulanyi bulijjo yategera mu konna era kati mu malirivu nnyo okufulumya Ssemujju Palaamenti.

Bino bitukira bulungi nnyo ku bigambo Musisi byeyayogede nga yakamala okusunsulwa nti engeri gyendi munamateeka atenga omulimu gw’omubaka omukulu gwakukola mateeka nga Ssemujju waze akikatiriza nga avumirira NUP olw’obutwa basajja nga Medard Ssegona kaadi,mu bulambulukufu Ssemujju olwandi ndabye nga nzize,yalina kusulawo tawulo naye katakikoze,kwekusalawo nkimutegeze lwampaka.

Ssemujju yava mu mawulire okwesoga eby’obufuzi era yali akozeko mu mpapula nga Daily Monitor ne Observer era agenda okugavamu nga atuuse ku ddala ly’okuba omusunsuzi.

ANDREW EIRU:FDC gweyalese okuvunika omwana wayo Ssemujju eyazawula.Yaliko ne kansala wa Kira Municipaalite okumala ebisanja bibiri.Wano wasinzira okukinoganya nga walina obumanyirivu mu by’obukulembese n’olwekyo ab’e Kira bamukiririzeemu bamuyiire obululu abawereze awatali kusosola.

ATHUR NIWAGABA:Yesibyewo kubwa namunigina oluvanyuma lw’obutaamatira na byava mu kamyufu ka NRM.

Niwagaba alumiriza nti akamyufu kalimu vvulugu mungi ekyavirako obuwanguzi bwe okubibwa nga kyeyavude asalawo okwesimbawo asobole okulwanirira obuwagizi bwe mu kooti ya bantu.

PATRICK KATURAMU: NUP weetamuwa kaadi yasalawo okuzimula okusalawo okwo nga awooza nti yalina ebitundu 60% ebya gulawundi.

FRANK KATABALWA:Guno mulundi gwa kubiri nga avuganya era ne kuluno wakuvuganya ku bwa namunigina.

Katabalwa agamba nti engeri gyali omwana enzalwa ey’omu Kira yeyeka yasobola okutuusa edoboozi lyaba banna Kira mu Palaamenti kubanga ebibaluma abitegeera bulungi era wano weyasabide bamuyiire obululu azze Ssemujju mu kyalo e Bijaaba mu Kalungu

MARK TULYAZALWA MUGISHA:Naye munamateeka.Yagide kubwa namunigina era akaboneroke ke kitabo. Agamba nti ensibuko y’okumanya n’okutegera eri mukusoma nabwekityo engeri omulimu gw’omubaka wegulimu nnyo okusoma omuli okusoma alipoota okuva mu bukiiko,okunyonyola bajeti n’ebirala,yeyeka asobola okutaputa ebiri mu biwandiiko ebyo n’okubaga ebiwandiiko ebirimu ensonga ssemasonga eziruma Banna Kira azitwale ku fuulo ya Palaamenti.

MOSES KATUNDA:Naye yesimbye wo kubwa namunigina era akobonero ke mupiira.

Katunda yasinzidde mu lukungaana lweyakubye ku Kasokoso Beach gyeyagabulide n’abawagizi be ekijjulo nawera nti ketonye kagwake obuwanguzi abulina kubanga muvubuka muto ate guno omulembe gwa bavubuka era wano weyasinzide okubasaba bamulonde asobole okulwanirira ebizibu ebibaluma omuli ebula ly’emirimu n’ebirala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *