Munonde mbawonye obukodo bwa Ssemujju

Kira,Wakiso.

BYA:MUSASI WAFFE

Mark Tulyazalwa Mugisha akakasiza Banakira nti singa bamulonda mu kifo ky’omubaka owa Kira Munisipaalite,munaku ze e 100 ezinasooka mu Palaamenti bagya kuba batandiise okulya ku bibala

Tulyazalwa nga muna mateeka omutendeke bino yasinzidde mu lukugaana lwa Banamawulire mweyalambikide ensonga 5 lwaki Banakira bagwanye baleme kuzza kawanduula bigambo Ibrahim Ssemujju Nganda mu Palaamenti.

EBIREMYE SSEMUJJU TULYAZALWA BYAZE OKUKOLA.

OBUKODO BWA SSEMUJJU:Tulyazalwa yagambye ebanga lyamaze kunsi talabanga muntu mukodo nga Ssemujju kubanga mu banga ery’ebisanja ebisatu bya mazze mu Palaamenti taweza bantu 100 basobola okumuweera bujjulizi nti yabasika ku mukono mungeri emu oba endala nga bali mubwetaavu.

Nti engeri Sssemujju ssente ye okugiwa omuntu wekimuluma nga omwana,afazaali yandibadiza nga asiga ssente mu bintu ebitumbula embeera z’abantu ezabulijjo okugeza nga okutegeka ensisira z’ebyobulamu,okubazimbira ezizi ez’omulembe bawone okugabana amazzi n’ebisolo n’ebirala bingi naye ebyo webyamulema okukola nga yekwasa nti talina ssente zisobola kulabirira buli muntu mu konsituwese yeyongera okulaga nti yefaako yekka,emirimu mu ofiisi ye nga omubaka weyagiwa abenganda,abako n’emikwano songa Banakira abamulonda nabo balina abaana abayivu n’okusinga enganda ze zeyawa emirimu.

Tulyazalwa yanyonyode nti okwefaako kwa Ssemujju kukola nnyo mu bukulembeze obuli ku musingi gw’obwakabaka kubanga olulyo Olulangira lubeera lwagala kukuma bya bugagga byalwo naye mu Uganda eri ku musingi gwa Demokulasiya,abakulembeze babeera balina okubagabana akatono kebalina ne bebakulembera era wano weyasinzide okusaba Banakira bamulonde kubanga alina omutiima omugagga atenga mugabi.

MWANA NZALWA Y’E KIRA:Nabwekito amanyi buli kasonda akagirimu n’abantu abakalimu ebizibu byebalina era agya kulwana masajja okulaba nti abigonjola.

Olw’okubanga omukyala eyakuza omwana tayinza kumwagala okusinga nnyina eyamusindiika,Tulyazalwa yategezeza Banakira nti Ssemujju eyaja ku kyeyo mu Kira okuva mukyalo e Bijaaba mu Kalungu tayinza kubagala kusinga ye era nti eno yensonga lwaki Ssemujju abade tabafaako nnyo nga n’obugagga bwona bwazimbye okuva weyayingira mu Palaamenti yabuddusa wabwe e Bijaaba naleka banna Kira abaamulonda nga babonabona.

YE YEKA ASOBOLA OKWOGERA EBY’ENSONGA:Tulyazalwa yayongede nakomerera Ssemujju emisumaali nti newankubade yewana nnyo nti ayogera nnyo mu Palaamenti,ebigambo bye webabiteeka ku minzaani,ne mpeke ya sukaali eba ebisinga obuzito.

Nti olunaku Ssemujju lwayogede ebigambo ebirimu ensa alina kwekusa kubungi bwa ssente Museveni ne ffamire ye zebakozesa buli lunaku ekitayamba bana Kira kubanga ssente zaba ayogerako ababaka bebaba baziyisa mu bageeti.

Tulyazalwa ebimu kyensonga byeyeyamye okwogera nga atuuse mu Palaamenti birimu okusakira Kira amasomero kwo n’okusakira ago agatalina bibiina ebizimbe abaana bawone okusomera mu miti.

Mubuffu buno Tulyazalwa yagaseko nti omuntu nga afuuse omubaka,abalina emikisa mingi nnyo okukwana emikwano jabagagga n’ebitongole ebyamanyi ebiba bisobola okumukwatizaako mukutuusa obuwereza obulungi eri bantu ekitegeza nti nga akyenyola ne gavumenti okugaziya amalwariro,mikwano gye giba gisobola okumukwatizako ne bagulira ebitanda mu malwaliro ne bagonjola ekizibu kya banakazade okuzalira wansi.

TANONYA MULIMU:Kubanga aze okuvuganya ku kifo ky’omubaka nga munna mateeka omulimu ogumuwadde ssente ezirabilira ffamire ye wabula olw’okuba mwana enzalwa y’e Kira kimuruma okuba nti esigalira emabega songa eri na ku nnyindo ya kibuga ekikuulu Kampala.

Abalala abagala okukuba Ssemujju bussu kuliko Daniel Kananura owa (NRM),George Musisi owa NUP eranga naye muna mateeka,Andrew Eiru wa (FDC),Frank Katabalwa,Patrick Katuramu  ne Moses Katunda abatalina kibiina.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *