BYA:MUSASI WAFFE.
Bakkansala abakwatidde ekibiina kya ka ssimu ekya People’s Front For Freedom (PFF) bbendera mu Munisipaali y’e Kira, balaze engeri gyebagenda okufufugazza bebavuganya nabo okuva mu bibiina ebirala abeekiise mu kubo ly’obuwanguzi bwa bwe.
Bano akalulu bakukanoonya Door to Door'(nju ku nju) ekibayambye okutuuka ku buli muntu naddala owa wansi nga bamunyonyola enkizo gyebalina ku balala webali mulwokaano,byebakooze n’ebyebasuubira okukola nga batuuse mu buyiza.
Nawume Tumuhairwe,ono nga ye dayirekiti Kkansala akikirira Kireku Railway ku Munisipaali ,naye nga ku mulundi guno avuganya ku kifo kya Kkansala owa bakyala era ng’a akikirira ebyalo musanvu okuli Kireku Main,Kireku Railway,Bweyogerere Central,Ntebetebe,Katuba,Kigandazi ne Namulondo ,mukwogerako ne munna kibanja kino atelya ntama yatukakasiza nga weyamaze dda okuwangula ekifo kino kubanga obuweereza kumuli mu musaayi.

Ono alina okusomozebwa kumu nti ekifo kyali mukuvuganyako bakigattako ebyalo ebirala, ekitegeeza nti abantu mu byalo byabadde takiikirira baba bamulaba ng’ abapya muby’obufuzi naye ekyo tekimutiisa
Wano weyasinzidde okuwera nga wagenda okugyayo nag’omubuto okulaba nga abantu abawangalira mu byalo ebyo abapereerezza basobole okumukiririzaamu.
Tumuhairwe mu kisanja kino alwaanye nnyo okulaba ng’ abantu, ekitongole kya Uganda Railway beekyagoba ku ttaka lyabwe mu bukyamu bafuna obwenkanya weyabakulemberamu okutwala omusango mu kkooti nga bawakanya ekikolwa kino era wetwogerera kati omusango guno gukyawulirwa mu kkooti enkulu.
Kuby’obulamu Tumuhairwe yaatekawo ambulance eyambye ennyo okuddusa banakazadde mu malwaliro amanene gyebabeera babasindise era asobodde n’okusomesa abakyala n’abavubuka eby’emikono omuli okutunga n’okusiba enviiri nga bawereddwa amabaluwa.
Mungeri yeemu Twaha Natale Wasswa,kkansala ku disitulikiti e Wakiso alaze lwaki yasaanidde okuddamu okukikilira ebyalo okuli Bbuto, Kakajjo Ntebetebe, Wellspring ne Kazinga ku disitulikiti.
Ono yava mu NUP okwegatta ku PFF era abamukazaako lya Taata Basale kubanga ng’ ayiita mu kibiina kye ekya Ntale Foundation agabidde nnyo abaana basale kyokka buli taamu weba etandiika,Ntale agabira abaana abasoba 2000 ebikozesebwa ku ssomero era nga ku mulundi guno omulundi waakukikola nga 6/01/2026.
Ntale era ayambye nnyo mukulwanyisa ebbula ly’emirimu mu Kira nga ayita mukugabira abantu enkokko zebalunze ne batunda ne basobola okuba ne ssente mu nsawo.
Newankubade ekibiina kya PFF kikyali kito muby’obufuzi ,Ntale agamba nti kirina emirandira okuva wansi ne banna byabufuzi abagundiivu y’ensonga lwaki bonna abakutte bendera y’ekibiina ekyo bagenda kutekawo okuvuganya okwamanyi bawangule banabwe abalala abagidde mu bibiina omuli NUP, NRM, DP, FDC, ne DF kubanga mu buwereza bwabwe mu kisanja kino kyebamalako balina bingi byebakoledde abantu ate nga bakyabikola .

NAMYENYA NAYE YEESUNGA KULAYIRA
Ate Kkanasla Zaituni Namyenya Nantege owa PFF agamba nti olw’amanyi gataddewo ng’akolera abantu alinze ssaawa yokka alayire nga kkansala wa Bbuto,Kakajjo,Well Spring,Kazinga Main ne Kazinga Hassan Tourabi kubanga yalina obusobozi.
Namyenya agamba nti amanyi ge gali mu bantu, kubanga bamuwagira nnyo olw’obukozi bwalaze mu kisanja kino ng’akikirira Bbuto olw’okuba asobodde okubasakira , omuli okutekawo empaka z’emipiira ezatabiddwamu abasajja n’abakazi, asakidde abakyala ebikozesa mu bulamu obwabulijjo.