Nabbi omukazi eyayagadde okuzuukiza omufu nga Yesu,aliira ku nsiko

*Yali wakumuzuukiza oluvannyuma lw’ennaku 7

Kisoga,Mukono

BYA:OMULANGIRA DDEMBE YONAH

Bayibuli mu Yokaana,esuula 11:46 eyogera ku engeri Yesu gye yakolamu ekyamagero ky’okuzuukiza Lazaalo ow’e Bessaniya.Ono eyali atandiise okuwunya oluvannyuma lw’okumala ennaku nnya mu ntaana Yesu okuffa kwe yakuyita tulo era bweyali amugolokosa,yamuyitira waggulu n’eddoboozi eddene nti Lazaalo,fuluma ojje.Wano eyali afudde yafuluma entaana ekyaleeka Abayudaaya bangi nga bamwewuunya.

Olw’okubanga Yesu weyali tanaba kuzuukiza Lazaalo banyina be Maliyamu ne Maliza yali asoose kubamatiza nti ye kuzuukira n’obulamu era nti abamukirizamu newakubadde nga bafudde babeera balamu,mu lunnyiriri olwo Nabbi Margret Nelima,asumba ekkanisa ya Miracle Church International,Kisoga mweyasinzira okufalasira ab’enju y’omugenzi John Ssentongo ku kyalo Butinindi,ekisangibwa mu muluka gwe Terere,mu ggombolola ye Kisoga mu Mukono Disitulikiti obutazika waluganda lwabwe kubanga yali afunye okwolesebwa nti yali wakuzukira mu nnaku 7.

Ekkanisa ya Nabbi Nelima eya Miracle Church International,Kisoga

SSEGAWA YAFFA ATYA?

Omugenzi Asse Ssegawa(emmyaka 36) yaffa ku Sande ya wiiki eno.Muto we Abbey Kafeero yalutuviride ku ntono nti Ssegawa yakomezebwawo ewaka ajanjabwe nga atabuuse omutwe.Ono yali asuubira nti bali bakukwasiza wamu nga ffamire bamutwale mu ddwaliro afune obujanjabi obugwanide naye webamutuusa ewaka,Nnyabwe Eseeza Nakalanzi ne banyina 5 bakanya nga kunyikiza saala.

Omulambo gwa Ssegawa nga wegwabade gufanana nga gwakazulibwa

Ssegawa weyalaba okutula enjegere tekuvudemu bibala atenga ne mbeera y’omulwade eyongera kuba mbi,yateesa bamutwale mu ddwaliro ekintu Nnyabwe ne banyina kyebawakanya nga bagamba nti ewaka ddwaliro.Kafeero weyalemerako ennyo Nnyina ne banyina bavuma muvume kwo n’okumulangira okuba omukaafiiri olw’okubanga yali yagana okukiririza mubisomesebwa Nabbi wabwe Nelima era olw’okukuma emirembe yasalawo abaviire.

NABBI NELIMA AMAKA GABWE ABADE YAGAFUULA TABI LYA KANISA YE

Kafeero era yayongede natutegeza nti engeri mwànyina Suzanne Nakonde gy’abade nga omummyuka wa Nabbi Nelima mu kkanisa ye,amaka agabwe kyenkana abade yagafuula nga tabi lya kanisa ye kubanga mu musekaati ga wiiki endiga wezibade zikunganira okusaba.

NABBI NELIMA ABASUUBIZA OKUZUUKIKA SSEGAWA 

Maama Nakalanzi nga mukalu ng’eddebbe yatukakasiza nga Ssegawa weyaffa ye kyeyayise okwebaka okuwanvu ku Sande era mbagirawo nga Maliyamu ne Maliza webaduuka okubikira Yesu nti mukwano gwe ennyo Lazaalo yali afude,Nakalanzi nabo bakubira Nabbi Nelima okumutegeza ogubade.

Bweyatuuka yabategeza nga Ssegawa weyali tafude wabula yali agenze mu tulo otuwanvu.Ono mu mafuuta ga mwoyo mutukuvu ag’okulagula n’okuwoonya,yabagatirako nti Ssegawa Katonda yali amwebasiza ne kigendererwa eky’okugezesa okukiriza kwabwe era wano weyasinzira okubategeza nti singa Katonda wabwe bamulaga nti okukiriza kwabwe kwamanyi nga okwa banyina ba Lazaalo,Ssegawa naye asobola okuzukuka.

Wano Nabbi Nelima yabalangira batandiike okusaba n’okusiba era naye kennyini okuva ku ssawa 10 ez’okumakya okutuuka ku 12 ez’emisana abade ajanga ewaka ne ndiga endala okuva ku kkanisa okulemberamu okusaba n’okwegayirira kwo “kushemereza” Katonda azuukize Ssegawa oluvanyuma lwe nnaku 7.

Nabbi Nelima mukujangà ewaka,abade ayita na mafuta gabade ayita ‘holy oiment’ gabade alagira Maama Nakalanzi oba mwànyina Nakonde bagasige nga ku mulambo gwa Ssegawa.Bano webamubuuza nti lwaki bali bamusigako amafuuta naye yababuuza nti Mary Magdalene weyali agenda ku ntaana ya Yesu alyoke asange ngà talimu teyagenda na muzigo n’obuwoowo?Kko bbo nti ye,kko ye nti olowooza lwaki yagenda nabyo okubisiga ku mulambo gwa Yesu ko bbo nti agende okuzuukira nga awunya bulungi,Kko ye mulowooza kyabuvunanyizibwa omuntu wamwe Katonda okumuzukusa mu tulo n’asanga nga yenna awunya,ko bbo nti nedda

Nakonde nga alaga engeri gyebabade basigamu omulambo gwa Ssegawa amafuuta.

Era bano Ssegawa atuuse kuwunya na kuvunda kuvamu nvunnyo nga bagumu nnyo nti muyonjo era ne mu ddiro babade nga batulamu ne balya emmere era nga bebaka n’omulambo gwabwe oguwunya okamala mu nju nga tebalina buzibu bwonna.

BATEGEERA BATYA NTI SSEGAWA YAFFA?

Omutuuze eyali azze okuggula emwannyi mu maka gano ekivundu ne nsowera ezali zikunganide ku ddinisa ly’omuddiro zamwewuunyisa nnyo.Engeri gyeyali emu ku ndiga za Nabbi Nelima weyamuyita abegataako mu kusabira omulwadde Sseggawa,teyagana.Mukwetegereza omulwadde gwebali basabira,yakizuula nti yali muffu wajjo era ne kivundu ekyali kimuvaamu tekyamuganya kumalako saala.

Ono yeyatemya ku Kafeero gwebali bagooba ewaka naye eyasitukiramu era kabuula kata agwewo ekigwo okusanga nga Ssegawa yaffa dda naye nga nnyyabwe ne banyina bakyalemerako nti yebasse.

Wano wetwasinzide okubuuza Kafeero obanga ddala Kituffu nti Nakalanzi ye nnyabwe abazaalira ddala.Nga na maziga gamuyitamu,yakiriza nti nnyabwe naye nasigala nga yebuuza nti “naye simanyi kyatuuka ku maama kubanga teyali watyo?!”

Mukusoberwa,Kafeero yatemya ku bakulembeze ba LC1 abasitukiramu mbagirawo era banno bebategeza ekyalo n’okuloopa ku Police eyabagombamu obawala.

Ssegawa newankubade yazikibwa kulw’okusatu ku ssawa 3 ez’ekiro,Nakalanzi ne bawala be basigala bakukulumira ekyalo olw’okuzika omuntu wabwe nga mulamu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *