BYA:MICHEAL WRITER
Kokoko…!Obadde okimanyi nti abantu kukyalo baamalako emyezi 2 nga bakona dansi?
Anti olwo Ssekannyumiza wammwe nze mba nsoonze. Engeri gyesitasooka kuzunza njuki, mbonese nga kibunomu ne mboozi ennyuvu. Nga akabi bwekali mukulwa atenga bw’olwa munyama suupu y’awoola, kyakabi obutakalira na data amala ku ssimu yo nze ndukusetulire…

Abantu nga bakoona dansi
Mwe abakyebuza nti leero ndeseki, njagala tuseyeye mpola mpaka mu ggwanga lya Bufalansa, ku kyalo Strasbourg.Eno omuntu omu yatandika mpola okuzina okukirako abazinyi bebinyanyanya ebikubwa Mbazira Tonny ne Suuna Ben awatali kuzikiza kyokka no nga talina yadde ekivuga newankubadde oluyimba lwamumuunya! Yeezinira nga bibye ko abalala leka oti tetugya kulinda kutubuuza nti olwata omukulu temwalumanya; kwekumwegatako nezidda okunywa. Bano amazina baagazina mpaka kuwulira bubi okumala emmyezi ebbiri okuva mu July-September 1518 era banji baafiira mu mazina nga bamagye mu ddwaniro.
BYATANDIIKA BITYA?
Munnange entabwe yava ku mukyala Frau Troffea .Ono newankubade emmyaka gyaali gimuwuubide akatambala, yatandiika mpola okwenyenyeza ku galiba enjole, oluvannyuma muwala we Frauline Emma Goetz yamwegatako ku dance floor wamma gwe nezida okunywa.Atamukute yagamba yaaye…baliranwa babano bwe baalaba nga babalideko nny ‘show’ tebalonzalonza kulutumiramu mwana.
Engeri amazina gano gyegataali gakusooka kuba na kaadi eyalemesa Pasita Bugembe okuyingira State House,Entebbe nga weyayimba muluyimba lwe olwabiriba bitya, ekyalo kyona kyaafundukira kigetabyemu.
Ekirungi ky’amazina gano gali tegesitaza era nabato bangi baagetabamu.Mungeri yemu gali tegetagisa kutendekebwa kwanjawulo kubanga gali mangu gakuyiga.Okumanya amazima gano gaali maka, Kiteberezebwa nti gano gaalimu maginenti oba amaanyi agenjawulo oba omuzimu ogwasikanga abantu omu ku omu awatali kutaliza na bayise abayimiriranga okwelorera ku mazina okutali ndongo.
Kyokka nga ku mukolo bwekutabula musiwuufu, n’amagombe teegalutumira mwana.Kigambibwa nti abantu baazina nga bwebefunyafunya, nga bakasuka emikono eno n’eri, entuuyo nga zibafubutuka mu nnyingi, era olw’ekyo; abandi baatandika okugwaamu amaanyi nebatandiika okutondoka nga baffa obukoowu. Abalala baaffa kiziyro olwa dance floor okufunda.
Banabyafaayo boongera okukakasa nti abamu balabibwako ng’ebigere bizimbye oluusi nga bivaamu n’omusaayi, amaaso nga gamyuuse, era nga baweekera olw’obutaba n’amaanyi.Baazinanga okuva ku makya, baabo mu mattansejjere okutuusa enkeera kw’olwo!
Naye engeri omukazi atunda ennyo kumitimbagano olw’okunyumya emboozi y’omuggulu oluvanyuma lw’okuffa nadda gyeyakakasiza nti mu ggulu teri byakudigida mpaka keesa budde, bano baaffa tebatoma anti akaffa omukuto…!Ebyafaayo bikakasa nti waakiri buli lunaku abantu nga 15 okuda waggulu be baalusuula mu akaba.
LWAKI BAALI BAZINA?
Nkakasa kati weebuuza oba baali bafffa lwaki teebalekerawo kuzina? Aganaaffa tegawulira ŋŋombe…..? Oba weerabidde nti obusolo gyebabuttira gyebweyunira?

ABAKUGU KYEBAGAMBA EKYAVIRAKO EMBEERA ENO
N’okutuusa leero tewali bukakafu bwa nkomerede, obuyinza okunyonyola lwaki abantu; baatandika okuzina, kyaava kuki era lwaki abayise nabo beegata ku bazinyi olwo zidde okunywa.
Ensonda ez’enjawulo zoogera ku nsonga eno era bino wammanga byebimu kubiwanuuzibwa;
Nocebo effect: Abakugu abamu balumiriza nti okusinziira ku ndowooza emannyidwa nga “nocebo effect” : ‘omuntu omu asobola okulwala olw’okuba alowooza nti agenda kulwala.’ Hmm… ! Bino byaddala nanti abaganda baalugera nti kaambukiire munange waabukide…………..
Mass psychological stress: Ate era abanoonyereza abamu bagamba nti kiyinzika okuba ng kyaava kukuba nti abantu bangi beesanga nga bonna bafunye situleesi mukadde ke kamu. Era nga embeera eno emanyiddwa nga “mass psychogenic illness” era nga eneyisa eno oba obulwadde buno butambula nnyo mu biseera ebya nawookera, entalo oba entiisa ennyingi ennyo mu bantu. Era mwatu kino ky’ekimu kw’ebyo abanoonyereza kye bagamba nti kyekyaviirako embeera eno mu ssaza lye Alsace mu kabuga Strasbourg okugwaamu enjega eno. Oba oly’awo n’ekimanyiddwa nga “chorea” oba okuzina nga kuno kuzingiramu okwenyogotola kw’omubiri, omubiri okuba nga gwetwaala nga gwo saako n’okwenyoolanyoola mu butali bugendereevu. Amazzi gakulukutira gye gaali gakulukutide. Embeera eno eya chorea yali elabise ko mu bulaaya naye oba oly’awo si ku kigero kino okugeza, (Tarantism, St.Vitus Dance) n’endala.
Obutwa mmere: Abanasayaansi abamu batebereeza nti abantu b’omu bitundu ebiriranye oba ebiri ku mbalama z’emigga ‘Rhine ne Moselle’ bayinza okuba baalya nga emmere erimu obutwa oba erimu ebirungo ebikosa omubiri mu ngeri emu oba endala ng’okuzina nga teweyagalide ky’ekimu kubyavaamu. Banasayaansi bano okunoonyereza kwabwe kulaga nti ekirungo eky’obulabe era ekiri ‘psychoactive’ ekimanyiddwa nga “ergot fungi” nga kisinga kukulira mu mmere ey’empeke nga eŋŋaano n’eya ‘rye’ ekozesebwa mu kukola emigaati kye kyavaako obulwadde buno. Mu butuufu kitta akimanyide. Era ekirung kino ekya ‘ergot fungi’ kyekimu kubikola eddagala erimanyiddwa nga “lysergic acid diethylamide” (LSD-25). Akalungo ako aka ‘ergot fungi’ kigambibwa nti kalumirizibwa ne okuba nga ke kavaako ebiseera ebimu ku ebyo ebyaali ebizibu ennyo mu byafaayo nga ekiseera ekiyitibwa “Salem witch trials”