
Bya Michael WRITTER
Anti olwo Ssekannyumiza wammwe mba ngobye.Mutya nno banange ababeera banindiridde obutadirizza? Mbadde ntambula ku nno na kuli nga mbanoonyeza ebinyuma.Olwo nno ndyooke mbibakolereze ate muneraabide…mbu mindi mpya buli watuuka ng’akoleeza!
Bino ebya leero, njagala otege okutu era weekalirize nnyo. Jjukira nti naasirika amannya…
Yino emboozi y’abavubuka ababba akabokiisi k’obululu mu disitulikiti y’e Arua, baakaza tebeesikidde na kanyoobwa. Byaali bitya Awo wetwolekera, katandika butandisi.

AKAYISANYO, OKULABULA KW’ABATTAKA N’OBUSUNGU BWA BAJJAJA
Ku kyalo Offaka ekisangibwa mu Disitulikiti ya Arua wano ku buttaka nyaffe Uganda mu ketalo, akayisanyo n’akavuyo akaali wo mu Agusito wa 2018, mu “By-election” waaliwo ebiwunikiriza. Bino nga bisukka eby’obufuzi, okulumirizibwa kw’akakiiko akatwala eby’okulonda mu ggwanga ku ky’obubbi bw’akalulu, n’endwadde eyalumba ekyalo. Mu byonna amaanyi gaabatusooka geeyoleka lwatu anti obukadde magezi…Mu kavuvunŋŋano kano mwana wange poliisi teyabimala. Naye okulabulwa, ob’olyawo n’entiisa saako n’ekitiibwa ebiri mu nnono mwanatu enamussa yatuuka ku nyooge! Akabokiisi kaalabika.
OKWEKAZA MU LUJUDDE, BANO BASEZI BAAGULA SOWAANI!
Akalulu kano ak’okukujuzz ekifo ky’omubaka wa Arua municipality kaali kalala mu ko. Empi, ensambagere, obubbi, obulwadde ku kyalo, obusungu bwa bajjaja, ennamula y’abattaka, n’oluvannyuma okulabika nate okw’akabokiisi akaali kabiddwa. Akatubagiro kano kali jjukirwa nnyo olw’okukwatibwa kw’eyali omubaka wa Kyadondo East mu kiseera ekyo, Robert Kyagulanyi n’abalala okutuukiriza enjogera egamba nti bakubulira lwe Mukoko olatta?

Wakati mu kavuyo kano ekitundu ekikulu ennyo ku bujulizi, kyabuzibwaawo okuva mu ssomero lya Osu Primary School mu sub-county ye Offaka, ‘akabokiisi k’obululu bw’entebbe ennene ey’omukulembeze wa Arua municipality.’ Akabokiisi kabibbwa, kaalimu obululu bw’ekitundu ekyo. Kigambibwa nti kabbibwa nga 15 Agusito omwaka ogwo era teri yammanya ani yali yeekazizza emisana ttuku.
Superintendent wa Poliisi (SP) era nga y’omwogezi wa poliisi y’ekitundu kino SP ow’ekitundu kya West Nile Josephine Anguciano , yakakasa obuzzi bw’omusango guno mu kiseera ekyo. Yaagamba nti ekikolwa kino tukitwala okuba omusango ogw’amaanyi. Akabokiisi akabibwa, ‘property ya gavumenti’ , era okubbibwa kw’ako muziziko mu ntekateeka y’okulonda. Twaatongoza okunoonyereza mbagirawo okukanunula n’okukwata abetaba mu kikolwa kino. Eyeewa ezo mu mba…. Bano lwaali lubakeredde.
Olowooza baani? Baserikale oba bamenyi b’amateeka? Mukadde kano katugambe, baserikale, naye jjukira kino ez’omubbi zibeera ennaku 40 zokka. Newankubadde omuyiggo gwakolebwa poliisi, bino byonna kwali kumala budde ng’afuyiira endiga omulele. Era akadde kaali keyeera naye nga teri kakubwaako liiso kyokka ng’eno abatuuze babanja.
BAJJAJA KABEEKWATIREMU
Okunoonyereza kwa Poliisi nga kumaze okulinyibwamu eggere. Ennamula endala ey’obwenkanya era esinga eggwanga lino obukulu yalina okujjayo obwenyi. Abakulembeze b’ennono n’abattaka okuva mu kika kya Osu, era abakuumi b’ettaka awaali essomero n’ekifo awaali walondebwa baayogera.
Omutaka Samuel Anduruvu ku kyalo Offaka yannyonyola obuzito bw’omusango guno okusinziira ku nnono. “Ettaka lino ttukuvu, Wano ba jjajaffe webabeera nga era emyoyo gyabwe wegiwumulidde. Era okujja wano n’obba eddoboozi ery’awamu nga ke kalulu, “edio” ( ekikolwa ekibi ennyo) kyennyini. Twakimanya nti ba jjajaffe n’ettaka lino teriyinza kukijjirako awo mukono. Era akolimiddwa oyo yenna gwekikwatako. Mwe babikolimo bya nkoko… Leero lubakeredde. Oba tebaababulira nti eye mannyi amalwarira…Kati ŋŋaali mutega waaki? Ebigambo by’omutaka oyo mwatu byaatukirira olwo no ffe netukakasa nti wamma ddala kitta akimanyide!
Omwami Patrick Drateru owa local council yannyonyola bye yalaba. “Omu ku bavubuka nali mu manyi. Yali wa manyi, naye yeesanga ng’ali ku ndiri, ng’anafuye era saako okuba n’olusujja. Yali yeloboza nga bwafuna ebiroto ng’asalirwa omusango omusajja omuwanvu era alina entunula etiisa gwe yali tamannyi. Era famire ye yali telowooza ku poliisi, okujjako omusawo w’ekinnansi. Baatya nti bajjaja baali banyiivu.” Era kigambibwa nti okunnyonyola kuno okw’ekirooto ky’entiisa, obunafu, olusujja n’obulwadde okutwaliza awamu bangi ku kyalo baakyogerangako mu kaama.
OKUTAWUULUZIBWAKO OBUSUNGU BWA BA JJAJA.
Mu kaseera akazibu nga kano, puleesa yatekebwa ku buli ssekinoomu eyalina obubonero obwogedwako waggulu. Kigambibwa nti baayatulira abakulu b’ebika obubi bwe baali bakoze. Ŋŋamba ababbi bano nga beebatula obubbi bwabwe, sikuba ng’onfuna bulala, anti ekyazekyaze tekizikayo!
Okusobola okusanyusa ensi ya bajjaja oba emyoyo, omukolo gw’okuttukuzibwa gwakolebwa mu kifo kino. Gwaakulemberwa abakazi ab’ekika kya Osu okuliraana omuti ogw’ekijjukizzo era ogw’edda ogwa ‘Tamarind’ oguli ku ssomero lino.
Ng’ennaku z’omwezi 22 Agusito, akabokiisi kaakubiwako emmunye. Tekasuulibwa mu nsiko , wabula kakwekebwa mu bugenderevu wansi w’omuti guno, era nga ne bu ‘seal’ bukyakasibye bulungi.
SP Angucia yakakasa nti bwe kaali kazuulidwa mu kitundu ekyo ekya Offaka era n’abalumirizibwa bano bwe baali bakwatidwa era ne bakubidwa mu mbuga z’amateeka okusobola okunoonyerezebwako. Era SP yajuliza n’amakubo agatali gabulijo omwayitwa omusango guno okusobola okuguka. Kyokka bbo bajjaja ogwabwe gwaali guwedde.
Eri banna byafuzi obubbi bw’akalulu n’obuvuyo bye mutera okukola biriko empeera. Bikole oba nedda. Ate mwe banange abasomi bange abalungi, mbasibuula saagala nakusibuula mujjukire buli kye mukola bwe tuba tetubalaba, liiso ddene abalaba, ne bajjaja mwe batunula nkaliriza. Tokola “error!” Tulabagane olundi.Aawangaale Omuteregga.