BYA:OMULANGIRA DDEMBE YONAH
Abawagizi ba Roy Ssemboga atafuna kaadi ya NUP okuvuganya ku kifo ky’omubaka owa Kawempe South ababade bakoona Chairman Nyanzi Fred Ssentamu nti yali tagwanye kufuna kaadi eno kubanga ssi mutuuze mu konsituwensi eno abakubye “knock out” bwaguzeyo amaka ag’ebeeyi.
Okusinzira ku nsonda zaffe ezesigika ennyumba eno erimu ebisenge ebisulwamu 4,ebinabiro 2,eddiiro erisoboola okutuuza abantu nga 15,awalirwa awagazi obulungi ne kalonda omulala mungi.
ENNYUMBA ENO NYANZI YAGIGUZE SSENTE MEKKA?
Ennyumba eno yamwamba era esangibwa mu Mukalazi zooni mu muluka gwa Bwaise(2).Julius Ssekalega, bulooka wa mayumba mu Kawempe yatugambye nti okusinzira ku busava bwa zooni eno,omutunzi bwaba yabade atunze kizibu ennyumba eno Chairman Nyanzi ekitini ennyo yagiguze obukadde 500 naye singa aba yagiguze mu mbeera ng’omutunzi ennyumba agitunda talina puleesa yona,batekwa okuba nga bagimuguziza wakati w’obukadde 800-900.
ENNYUMBA ENO KATI ERI MUKUYOYOTEBWA
Ensonda zaffe era zatutegeza nti Chairman Nyanzi ennyumba bweyamaze okumuda mu taano natandikirawo okugidabiriza esobole okutukagana n’ekitibwa ky’omubaka wa Palaamenti kyalubirira era wetwogerera kati bamaze okugisiiga langi munda n’ebweru nga kati bazako kyakusiba peeva mu lujja ne geeti enkade eyagibadeko yagidwako nebatekako empya eyakoledwa mu baati egumu abasirikaale lyebatayanguwe kumenya nga baze okumukwata.
Chairman Nyanzi era alina entekateeka ey’okwetolooza ekikomera ky’ennyumba eno CCTV camera ez’omulembe.Zino zigenda kuba zikolera ku manyi ganjuba ne ssenyenge alimu amasanyalaze.
ENNYUMBA NYANZI AGENDA KUGIYINGIRA DDI?
Ensonda zaffe zayongede nezitutegeza nti abazimbi Chairman Nyanzi bawa emirimu ekiragiro kyasooka okubawa kyakuzimba kiro na misana kubanga ayagala oluva mu kusunsulibwa Akakiiko k’ebyokulonda ayolekere buterevu mu nnyumba ye eno ajanjulire abalonzi era atongolezewo ne kampeyini ze so nabwekityo ayagala buli kimu kibe kyamulembe abawagizi ba Ssemboga babulweko ensonga y’okumugeya.
Okuva Nyanzi weyawebwa kaadi okuvuganya ku kiffo kino abawagizi ba Ssemboga webali kumbiranye babade basuse okumulangira nga bwatali mutuuuze mu kitundu ekyabwe naye nga yewozaako nti newankubade asula mu Kawempe North emirimu gye agikolera mu Kawempe South kubanga ekitebbe kye kibiina kwalina ofiisi ng’atwala abawagizi b’ekibiina abawangalira ebunayira kiri mu Kawempe South ekitegeza nti aba akirizibwa okwesimba mu kitundu ekyo.

KITUUFU NTI SSENTE EZAGUZE ENNYUMBA NYANZI YAZIGYE MU NGUZI NA LUSEKE
Ebiboziboozi ebitambulira ku wa Nyanzi gyeyagye ssente ezaguze ennyumba eno byamirundi esatu;
EKISOOKA:Bagamba mbu Nyanzi ssente yazikama nga mu banna byabufuzi abamutukirira nga bagaala abayirewo omubiri bafune kaadi ya NUP ku biffo gyebaali bagala okwesimba engeri gyali baaba wa Pulinsipo wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu
EKY’OKUBIRI:Abantu bogera obutonotono nti Nyanzi ssente ezimu yazawulanga ku mudidi gwa ssente ze kibiina eza diaspora eziyitira ku akawunta ze okuyingira mu Uganda .
EKY’OKUSATU:Kigambibwa mbu Nyanzi ku buli mukolo banabyabufuzi kwebamuyitanga ng’omugenyi omukulu mu kiseera weyaberera Ssabakunzi w’ekibiina nga asooka kubatega kibatu kyamafuta kya kakade kamu n’okweyongerayo ate abalala ne bongerezako nti Nyanzi ssente yazikunŋŋanyanga kuva mu bantu beyaguzanga ebifo by’obukulembeze ku bukiiko bwa Kunga wabula mikwano gya Nyanzi egy’okulusegere gyatugambye ebyogerebwa byona ebyo bwe kuli okukongyera okwenkukunala kubanga Nyanzi obugagga bwaliko akawumbi tekakyamwekubya mpi.Bano baagaseko nti ssente z’okugula ennyumba Nyanzi ne bwe zali mubuuze,emikwano gy’abagagga gy’asobola okukuba oluseke nafuna ssente alina mingi.
ENNYUMBA EYOMBEZZA ABAWAGIZI ABAMU NUP
Ebya Nyanzi okugula ennyumba bamemba ba NUP abamu bwe byabagude mu matu batugambye nti kirabwa nayooka nti ssente Nyanzi mweyaguze amatiribona g’ennyumba eno bweziri ez’ekibiina era wano webasinzide okulya obuwuka nti Nyanzi asusiza okwonoona ssente z’ekibiina n’okweyagaliza yekka. Bagaseko nti engeri gyebali mu kulonda amaaso gona n’obussente obutono obuliwo babade balina kubuteeka ku kampeyini za Pulinsipo Kyagulanyi asobole okuzimalako obulungi naye olw’omululu Nyanzi bwaba yasazewo ssente azisasaanyize ku bintu ebitagata ku situlago atenga ne ba Political Prisoners bakyalina na bangi,agwaanye agwe.