Ebibalo ebipya ku Siriimu bitiisa!Akulya waba mwana wa boda nga temwekebezanga wekaabireko

*Buli lunaku abantu 100 bebasigibwa Siriimu mu Uganda

*Kyotera,Kalangala ne Masaka zezikulembede mu kubunyisa Siriimu

BYA:OMULANGIRA DDEMBE YONAH

Okulondebwa kwa Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi(2) nga emunyenye mu lutalo lw’okulwanyisa Siriimu kutandiise okuvamu ebibala okubuna kwe wekukendede okutuuka kubitundu 4.9% okwetoloola eggwanga lyonna era Dr.Nelson Musoba akulira Uganda Aids Commission(UAC) ayogeza buvumu nti olugendo lw’okufuula Siriimu olufuumo mu mwaka gwa 2030 kati welutuuse,balulaba.

Mu lulimi lwa bakugu Basiriimu okubuna kwe mu lungereza HIV Prevalence,kiba kitegeza omuwendo gw’abantu abakulu okuva ku myaka 15-49 bebatebereza okuba naye.

Mu alipoota eraga nga Obwakabaka webuyimiride ku Siriimu okumala emyaka 5 egiyise Musoba gyeyayanjulide Katikiro Charles Peter Mayiga yalaze nti okubuna kwa Sirimu mu Bwakabaka kwaakka okuva kubitundu 7.6% mu mwaka gwa 2020 okutuuka kubitundu 6.3% mu mwaka gwa 2024.Ekitegeza nti enjawulo ya katundu 1.3%

Katikiro Mayiga munsisinkano naba UAC

BINO BITUKIDWAKO BITYA?

Musoba yanyonyode nti Kabaka ng’ayiita mu kampeyini ya ‘Abaami yemunyenye y’okulwanyisa Siriimu okusobola okutaasa omwana ow’obuwala’ ayambye nnyo okumanyisa abantu engeri gyebayinza okwetangiramu Siriimu.Kampeyini eno ekulemberwamu emisinde mibuna byalo egya buli mwaka  egya amazaalibwa ga Kabaka ne welekerwako ensisira z’ebyobulamu n’ebyoto okwetolora amasaaza kwo n’emisomo egyenjawulo ku ladiiyo ne terefayina z’Obwakabaka.

Aba UAC nga akabonero k’okusiima Empologoma olw’okugata amanyi mu kulwanyisa namuta Siriimu mu ggwanga ne munsi yonna okutwaliza awamu,bamutonede awaadi era ne bazza buggya endagaano yaabwe ey’ekukolagana n’Obwakabaka

Katikiro Mayinga nga aba UAC bamukwasa awaadi esiima Ssabasajja Kabaka

DISITULIKITI KI SIRIIMU MWASINGA OKWERIGISIZA MU BUGANDA

Okubuna kwa Sirimu mu Bwakabaka kuli kubitundu 6.3% ekitegeza nti kuli waggulu ko kukwe ggwanga okuli kubitundu 4.9% ekintu ekyakabbi

Mu disitulikiti 27 ezikola Obwakabaka,Kyotera yeyanywa muzinazo akeendo n’ebitundu 12.6% mu 2024.Okusinzira ku alipoota eyakolebwa Central Intelligence Agency(CIA) ekitongole ekikessi ekikulu ekya kirimanyi America ekya mawanga ag’ebweru eranga Mozambique wekwata ekifo ky’omukagga mu nsi yonna mu mawanga agakyasinze okuba ne Siriimu n’ebitundu12.65% mu mwaka gwegumu.Ekitegeza obuvundu bwa Kyotera buvuganya n’obwa Mozambique erina abalwade Bamukenenya 2,485,000.

Mu kifo eky’okubiri mulimu Kalangala n’ebitundu 12% mu 2024.

Mu kifo eky’okusatu mulimu Masaka n’ebitundu 9.8 % mu 2024.Eno eddirirwa Masaka City n’ebitundu 9.6% mu 2024 nayo ne ddirirwa Buikwe n’ebitundu 8.8% mu 2024.

Maap eraga nga Siriimu wasasanye mu buli disitulikiti eri mu Buganda.

DISITULIKITI KI SIRIIMU GYALI EKITONO ENNYO MU BUGANDA

Okusinzira ku alipoota Buvuma ye disitulikiti Sirimu mwasinga okuba ekitono ennyo n’ebitundu 4.4% mu 2024 kubanga eri wala.Buvuma kyenkana eri wakati wennyanja Victoria ekikalubiriza ennyo omuntu eyandiyagade okugendayo.

EBIKWATA KU BALWADE ABAPYA MU BUGANDA

Mu 2024 Buganda okutwaliza awamu yalina abalwade Basiriimu abapya 16210 nga Kampala yekutte omumuli n’abalwade abapya 4,551.Eno yali eddirirwa Kampala n’abalwade abapya 2056 ate yo n’eddirirwa Buikwe n’balwade abapya 687.

Maapu ya Buganda eranga omuwendo gwabalwade Basiriimu ababya mubuli disitulikiti

Omuwendo gw’abalwade omungi mu Kampala ne Wakiso abakugu bagukuteeka ku muwendo gw’abantu omungi abawangalira mu bitundu bino okugeza Wakiso yokka erimu abantu 3,411,177 ate yo Kampala erimu abantu 1,797,722.

Butambala yekyasinze okuba n’omuwendo gwabalwade abapya omutono nga bano 109 bokka.

ENGERI SIRIIMU GYAYIMIRIDE MU GGWANGA OKUTWALIZA AWAMU

Mu mwaka gwa 2024 gwoka abantu 1,527,238 bebalina Siriimu mu Uganda.Kwabo,930000 bakyala ate 570000 baami.

Ebibalo era biraga nga abantu obukade1.3 bokka bebali ku ddaggala eriweweza akawukakyoka naye ekyembi abantu 20,000 bebaffa.

Abantu abapya abasigibwa akawuka bali 37,000 ekitegeza nti abantu 711 bebasigibwanga akawuka buli wiiki ate abantu 101 bebasigibwanga akawuka buli lunaku.Mubuufu bwebumu emiwendo jabavubuka(emmyaka 15-24) abapya abasigibwa obulwade gyakenderera n’ebitundu 57%

LWAKI ABAANA BA BODA BEBASINGA OKUBUNYISA SIRIIMU ENAKU ZINO

Buli muwala agabula omwana wa boda ebyalo naye nga teyekebezanga naye ye ssawa yekaabireko kubanga alipoota ya UAC yakirambise bulungi nnyo nga webali abamu kubasinga okubunisa Siriimu enaku zino.

Lukwago Ivan omugoba wa boda okuva e Mukono yakakasiza ebyawandikidwa mu alipoota weyatugambye nti “ekyamazima nange wemba wakugaba awaadi ya bwenzi,ngigabira ba boda kubanga ekyamazima tetwewumuzaako”

Ono yayongede nalambulula nti ensagi zino tewali mukyala asobola kugana wa boda kubanga babuuka nti bafuna ssente.

Lukwago yagaseko nti edda abali basinga okubawa obuzibu bali bakampasa naye kati banguya nnyo ebintu kubanga boda kati zivugibwa bavubuka atenga n’abasinga obungi balina ebitabo byabwe.

Nti ebizibu bya bawala bano okusinga biba bya 20,000 atenga owa boda olunaku asobola okukola emitwalo 5,kati wajako 10000 gw’omugagga oba ogwa looni n’omulala ogwa sevingi,20,000 nagiwa omuwala abatalina kyafiirwa.

Lukwago yayongede natutegeza nti ekiro basanga nnyo abawala ababa basiranide ku makubo,engeri nnyamba omutwaleko jatagula mata,ebiseera ebisinga babasokeza mu loogi oba ewabwe nekigwa ne balyoka babatwala gyebaba bayagala okugenda.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *