BYA:JUMA ALI
ajuma6122@gmail.com/0772031598
Mityana
Robert Katende akulira akademi y’omweeso omuzungu eya Chess SOM Academy akakasizza nga empaka za Som Inter Project Chess Championship ez’omulundi ogw’e 18 wezakomekerezeddwa.
Empaka zino zamaze wiiki emu nga ziyindira ku Som Outreach Ministries ezisangibwa e Kiwawu ku luguudo lw’e Mityana.
Okwawukanako ne bulijjo,empaka z’omulundi guno zasinze kujjumbirwa bawala era obuwanguzi bwabwe kumitendera egyenjawulo bwaleese balenzi bangi nga batolootoma nti babajooze wabula Resty Nalukwago omu kubasazi b’empaka zino yatugambye nti edda omweeso gwazanyibwa nga abasajja mu busitenseeni mubiseera by’olweggulo.Enkola eno teyakyuka nnyo n’omweeso guno omuzungu wegwaja ekyaletera abakyala okulowooza nti n’omuzanyo guno gulina kuzanyibwa bami boka.
Ono obujjumbize bwa bawala mu mpaka z’omulundi guno wano weyasinzide obuyita akabonero akenkukunala nti endowooza eno egenze egwawo.
Oluvannyuma lw’okuvuganya okw’amaanyi Patricia Kawuma yasobode okuwamba Kabaka wa gwe yabade avuganya naye mu lufutifuti checkmate watyo nalangirirwa nga Grandmaster(nantamwegwa) w’empaka z’omwaka guno.

Ono nga yeyawangula n’empaka z’omwaka oguwede mukwogerako eri banamawulire nga bamaze okumwambaza omudaali gwa zaabu ogw’obuwanguzi yagambye nti okukola nnyo kye kimuyambye okudamu okuwangula.
Kyoka Caroline Nabirye muto wa Kawuma yeyakute kifo ky’okusatu.
ABAWANGUZI ABALALA ENGERI GYEBAKOZEEMU
MU U-12
Asnar Nakato okuva e Katwe yeyakute ekifo ekisooka ate Innocent Ogenyi nakwata ekifo eky’okubiri.
MU-14
Ssembera Abraham okuva e Kiboga yeyakute ekifo ekisooka nadirirwa Asinguza Danise
U-16

Robert Banga okuva e Gulu yeyakute ekisooka nadirirwa Christopher Senjobe
U-18
Onyango Daniel okuva e Kiboga yeyakute ekifo ekisooka nadirirwa Tumwesije Silver
Empaka zino bazinnyanira wamu neza baana bamassomero eza Tech for the World era abawanguzi bazo baweebwa school fees.
Ku mutendera gwa Pulayimale empaka zino zawangudwa Aba Prisca ne David Owori ate ku mutendera gwa Sekendule zawangudwa Caroline Nabirye ne Opach
