Engeri eteekateeka YWCP gyeyawonya Namwandu olumbe lwa Money lendor

BYA:OMULANGIRA DDEMBE YONAH

Kawempe.

Abavubuka abaganyulwa mu ntekateeka ya Youth Wealth Creation Program(YWCP) okuva mu divisooni y’e Kawempe bebamu ku beegase ku laale ennene Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni gye yakubye ku kisaawe kya Mbogo nga anonya obululu obunamuwanguza ekisanja eky’omusanvu.

Bano nga bakulembeddwamu omukwanaganya w’enteekateeka eno Faizal Ndase okuva mu maka ga Pulezidenti,bakumbye mu bukakamu okuva e Mpererwe ku Muvule okutuuka ku kisaawe ewabade laale nga webakunga abantu okuyira Pulezidenti Museveni akalulu.

Ndase nga akulembedemu abaganyulwa mu nteekateeka ya YWCP okukumba e Kawempe
Abaganyulwa mu nteekateeka ya YWCP mu Kawempe nga balinze abebyokwerinda babakebere nga tebanaba kuyingira mu kisaawe kya Mbogo
Ndase nga ayogerako eri banamawulire oluvanyuma lw’okukumba.

Mukubo basanzemu abantu abalina ebibaluma wabula bano babasabyenga babeegateko bagende ku laale bafune omukisa gwa Pulezidenti Museveni okubasiwa ewabatakula.

FAIZAL YAMPONYA EKIKOLIMO KYA MONEY LENDER

Maama Naki okuva  mu Nsoba yatugambye enteekateeka ya YWCP yamuwoonya ekikolimo kya money lender eyali agenda okumutwalako akayumba bba keyamulekera.

Ono yalutuviride ku ntono nti oluvanyuma lwa bba okuva ku kizimbe kweyali apoota naggwa wansi naffa,yesanga mu kaseera akazibu nnyo kubanga yali takoola atenga obulamu bulina okugenda mu maaso.

Bba agenda okuffa nga amuzademu abaana 2;owemmyaka 2 n’owemyezi 8.

Okusobola okufunira abaana eky’okulya,yawalirizibwa okutwala endagano Ssezaala kweyaweera bba akabanja mweyazimba ewa money lendor namuwoola emitwalo 300 atandiike bizinensi y’okusika chips.

Newankubade Money lender oba omuwade omusingo,okuwa ssente alina emisoso emirala gyakuyisamu,gino gyamumalako emitwalo e 5.Engeri gyeyali talina yade 50 atenga omusingo gwatuute muzito,Money lender yakiriza okumuwoola ssente zeyali ayagala naye ssente z’emisoso yaziteemako ekitegeza nti eyali ayagala emitwalo 300,bamuwa emitwalo 25.Wano ekibaalo kiba kimaze okuffa

Maama Naki endagaano kwebamuwoolera ssente yali egamba nti yalina

1)Okusasula ssente ezali zimuwooledwa mu banga lya mwezi gumu n’amagooba ga mitwalo 150

2)Ssente yalina okutandiika okuzisasula oluvannyuma lwe ssawa 24.

3)Buli lunaku yalina okusasula 15000 okumala enaku 30.

4)Okuwaayo ndaga munto yo entuffu.

Maama Naki yayongede natunyumiza ekifo mweyasokera okukola kyamwokya kubanga kyali tekikoola era omwezi gwangenda okugwako nga kapito akendede ekyamuwaliriza okudamu okwewoola ssente zezimu.

Ku ssente ezo kweyasengukirako n’okusasula ekifo ekipya.Eza fikaawo zeyakozesa nga kapito.

Ekifo kino Maama Naki kati akimazemu emmyezi 8 naye omwezi ogwasooka gwamwokya nnyo kubanga sizooni yali yakuba ate nga abantu tebalya nnyo chips mubude obwo.Eky’okubiri teyalina bakasitooma kubanga yali mupya.

Embeera eno yamuza nnyo emabega ekyamuvirako okumala emmyezi 2 nga tasasula looni eno nga money lender weyesoma okutwala ennyumba.

Mu kaseera kano nga ensi emufundiride,basajja ba Ndase webamugwirako ne bamuwandiisa.Ku lunaku lwokugaba ebintu bamuwa ensawo y’obumonde,ekiddomola kya buto n’akuuma kamasanyalaze akasiika chips.

Ebintu Maama Naki yakiggumiza nti byamuza nnyo engulu kubanga mu mwezi ogwadako yasobola okusasula looni nagimalayo era kati alisa butti era ku Pulezidenti Museveni kwafiira.

Pulezidenti Museveni ne First Lady nga batuuka ku laale e Kawempe.
Abantu nga balinze okuwulira obubaka bwa Pulezidenti Museveni
Namungi w’omuntu eyeyiye ku kisaawe

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *