Engeri Gyebali Bapanze Okujamu Ssenyonyi Obwesige Kubwa LOP

Palaamenti,Kampala

Omunene wa oppozisoni okuva mu bitundu by’e Bugishu atukakasiza nga bwebagwa mu lukwe lwokujamu LOP Joel Ssenyonyi obwesige.

LOP Ssenyonyi

Omupango guno gwali mukulukibwa abamu ku babaka ba oppozisoni ekintu omunene ono kyeyagambye nti kyenyamiza nnyo nga baliwamu nabo abajjira kubwa namunigina(Independents) naddala abo abaali bagooba ekiteeso ky’okuba n’omukulembeze waabwe alinga LOP n’aba NRM abamu era gwe gwali gudaako oluvanyuma lwe teeka eryayunga ekitongole kye mwanyi ki Uganda Coffee Development Authority  ku minisitule ye by’obulimi n’obulunzi.

ENKIIKO ZATUULANGA KU OKELLO HOUSE MU KAMPALA

Ono “intelligence” yaabwe yayongera ne bategeza nga ababaka abali mu lukwe luno enkiiko z’okufumba ekiteeso kyabwe bwebazituuza obutediza ne ttiimu kabiriti eya banamateeka ku kizimbe kye tererekero lye byama bya gavumenti ekya “Okello House” nemu wooteri e Bukoto ne Kololo buli Mmande.

EKITEESO KINO KYALI KYAKWANJULWA ABED BWANIKA MU PALAAMENTI

Ababaka abali mu lukwe luno nga bamaze okutekateka ekiteeso kyabwe, omulimu gwokukyanjula ku ‘Floor’ ya Palaamenti bali bakugutiika Abed Bwanika omubaka wa Kimanya-Kabonera kubanga;

Omugalatiya Bwanika

1)Mwogezi mulungi ate n’engeri gyali omusumba era omusomesa omutendeke, basuubira nti ekiteeso kyabwe ajakukinyonyola bulungi babaka bane basobole okukigula.

2)Mukugu mukusasanya “propaganda” okugeza mu kalulu akawede, Bwanika yali omu kubakwata omumuli gwokunafuya Dr.Kizza Besigye naddala mu bitundu bya Buganda ne kigendererwa eky’okutumbula Kyagulanyi bweyamukubanga amaggi amavundu buli bweyakwatanga akazindaalo nti  yali takyalina masanyalaze gakulemberamu “struggle” nga eno yensonga lwaki Katonda Abanayuganda yali abajjukide na baleteera omununuzi omupya ate nga muvubuka envumuulo Robert Kyagulanyi Ssentamu. Kampeyini eno Bwanika yagitambuliza nnyo kulunyiriri lwa Abagalatiya 3:1 olugamba nti  “Naye Bagalatiya mwe abatalina magezi ani eyabaloga, so nga nabannyonnyola bulungi Yesu Kristo yakomererwa ku musaalaba kulwa mwe?” era kuno abantu kwebaava okumukazako erinnya lya Omugalatiya

Mubarak Munyagwa Mugaati gwa Batta, Pulezidenti wa Common Man’s Party yagaseko nti Bwanika yeyongera okuvunza Dr.Besigye bweyamusiiga akassa nti alinya mukimu ne Pulezidenti Museveni, ekintu ekyembi Banayuganda abamu kyebakiriza!

3)Teyelya ntaama,bwaba ayambade olutabalo alusamba kyenda nga teyeefude.Nekirala mukugu mukuzanya obubadi bw’amawulire ekitegeza nti mubbanga ttono ekiteeso kyabwe kyali kijja kuba kubuli mumwa gwa munansi(talk of the town).

ENSONGA KWEBALI BAGENDA OKWESIGAMA OKUGYAMU SSENYONYI OBWESIGE

Ababaka bano baali bakwesigama ku nsonga ssatu;

A)Engeri LOP Ssenyonyi gyalondebwamu ekontana ne “principal” za demokulasiya ow’ekimemette. Nti mu kibiina ky’ebyobufuzi, Pulezidenti oba Ssentebbe wakyo ssi Katonda, okusalawo kwonna akukolere wamu ne bakulembeze banne naye nti mu NUP bikyukamu kubanga Kyagulanyi bweyali alonda Ssenyonyi okubeera LOP, okusalawo kuno yakukola yekka ekintu ekikyamu ennyo.

Bano era bagatako nti enondebwa ya Ssenyonyi kubwa LOP etta ennyigo ya ssemateeka w’eggwanga egamba nti “amanyi gali mu bantu era n’ewagirwa ne “principal” ya demokulasiya egamba nti abantu tebagonderenga bakulembeze bali mu buyinza nga tebalina mukono kungeri gyebabufunamu: ekitegeza nti Palaamenti okukiriza Ssenyonyi atuule mu ntebbe ya LOP yakikola mu bumenyi bwa mateeka.

B)Ssenyonyi yalondebwa munkola eye ffugabbi eya “Patronage System.” Nti munkola eno omukulembeze w’okuntiiko bwamala okufuna obuyinza, aba azaako kyakulonda bantu babeera agenda okuwereeza nabo naye eky’embi abalonda  asinziira ku nkolagana gyaaba alina nabo. Enkolagana eno esobola okuba ey’omukwano(friendship) oba ey’oluganda era wano ababaka ababaga ekiteeso kino webasinzira okuluma egiiko nti Ssenyonyi yali tagwaniide kuba LOP kubanga Kyagulanyi yamulondera mu mutima(spirit) gwa kisazisazi ogw’okuba mukwano gwe.

Pulinsipo Kyagulanyi

Ababaka bano era bakatiriiza nti enkola eno tezimba ggwanga kubanga;

EKISOOKA:Ebiseera ebisinga omukulembeze w’okuntiiko abantu babeera alonze tebàbeera na bisanyiizo bibàfunisa biffo ebyo era ababaka bano wano webasinziira okugamba nti engeri Ssenyonyi gyali  kyakayiga mu by’obufuzi kubanga atambuuza na Kisanja  kisooka, mubulambulukuffu yali tagwana kulya bwa LOP era nti kyaali  kyabulyazamanya Kyagulanyi okusuula Mathias Mpuuga n’amusikiza kyakayiga mukiffo ky’okulonda ababaka nga Medard Lubega Sseggona, Betty Nambooze Bakireke, n’abalala abamaze ebisanja ebiwera mu “parliament” atenga bateesa balungi ekitegeza nti balina obumanyirivu obumala ku ngeri ebintu gyebikolebwamu mu Paliyamenti.

EKYOKUBIRI: Enkola eno efuula omuntu aba alondebwa akagologosi ka mukama we kubanga aba atya okukola ebimunyiiza. Mumbeera eyo omuntu oyo aba tasobola kwesimba bwantogo nakoola okusalawo okutuufu okwandiyambye eggwanga olwokubanga aba atya okunyiiza mukama we. Nti eno y’ensonga lwaki Ssenyonyi ebiseera ebisinga ava kumulamwa gw’okuzanya eby’obufuzi bya kisajja kikilu nada mukuzanya eby’obufuzi by’okukyamukiriiza ebijudemu kabampane kamera z’abanamawulire zisobole okumukwata  mbu nga “alabisa”.

C)Ababaka bano bagamba nti okumanya Ssenyonyi yali tagwanye kubeera yade alongoosa mu office ya LOP,weyaberera Ssentebbe w’akakiiko ka ‘COSASE’  alipoota nnyingi ezamulema okukola ekyawaliriza ne Sipiika Annita Annet Among Magogo lumu okumulangira nga bwali “omulenzi omunafu asobola ogwokwogera gwoka.”

Ababaka bano era baakola okunonyereza ne bakizuula nti obunafu munkola ya Ssenyonyi ey’emirimu neku UBC gyeyatandikira okukola nga munamawulire bwebwaliyo era balina obujjulizi bungi nga bamutuma emboozi nezimuremerayo kyoka nga bamuwade ne ssente za ‘facilitation’ ezimala.Nti n’ebiseera ebisinga emboozi yaziwanga bakama be kikerezi.

D)Ssenyonyi aze yenyigira mu mivuyo gye nguzi mingi. Okugeza kigambibwa nti Ssenyonyi weyaberera Ssentebbe w’akakiiko ka COSASE yafuna enguzi ya ssente ezisoba mu kawumbi  okuva mu bakulu ba “Cival Aviation Authority” okufutyanka alipoota eyali eraga nga bwebali tebakozeseza bulungi obuwumbi 720 zebali bewooze mu EXIM Bank okukola engundo ennyonyi wezisinzira okubuuka n’okuggwa ku Kisaawe ky’ennyonyi ekipya Entebbe.

EKYOKURABIRAKO EKYOKUBIRI:Mu mwoleso gw’okwanika enguzi mu Paliyamenti ogwayiindira ku mutimbagano,ffayiro zavayo nga ziraga nti mu 02,2024 Ssenyonyi yasaba ssente za nnaku 5 agende alambule ku mugenzi Mohammed Ssegirinya eyali ajanjabibwa mu ddwaliro lya Aga Khan e Nairobi-Kenya kyoka n’amalayo olunaku lumu.

Newankubade ssente ezenaku ennya Ssenyonyi zatamala Kenya yamala nazizaayo, ababaka bano bagamba nti munkola entuffu, Ssenyonyi olwali okuda yalina okuzayo ssente ezo kyatakola mpaka nga abaana bamaze kumuletaako bwino omukambwe ku soso midiya ekitegeza nti amawulire ago tegaba kufuluma, Ssenyonyi oba olyawo teyandizizaayo ssente ezo.

Bano bagatako nti ekikolwa kya Ssenyonyi ekyokwekaza nazaayo ssente ezo nga bamaze okumutekako akazito kyalaga nti alinga eyakiriza nti yali akumpanyiza ssente z’omuwi womusolo.

Bino bwobigata awamu n’ebigambibwa nti Ssenyonyi office ya LOP yagijuzamu baŋŋanda, abako n’e mikwano nga abayambi be, ababaka bano balaba nti Ssenyonyi talina kuba LOP era balina ne ntekateeka ey’okuwandiikira kalisoliso wa gavumenti Betty Kamya amunonyerezeko kubanga kirabika ku vvulugu kweyali atude kwatude.

EMISANGO GY’OKULYA ENGUZI SSENYONYI GIBA KUMUKA MU VVI, EBYOBUFUZI BYE BYALI BIWEDE

Okusinzira ku kawayiro 235 aka ssemateeka w’eggwanga, singa omukulembeze yenna  omusango gw’okuklya enguzi gumuka mu vvi, agobwa mbagirawo mu office gyaba alimu kyoka ate n’awebwa n’ekibonerezo eky’ebanga eggere ly’alina okumala nga talina office yabuvunanyiza gy’awererezamu.

Wano John Ssimbwa eyali omubaka wa Makindye West weyasinzira n’alaga okutya nti Ssenyonyi omusango gwokulya nguzi guba kumuka mu vvi,Omulamuzi naba wakisa nnyo nnyo namusalira ekibonerezo, ekitini ennyo kyakumala emyaka etaano nga teyesimbyewo “political career” ye eba emaze okufa.

Omubaka Ssimbwa

Ono yagaseko nti Ssenyonyi okumanya singa omusango guno gumusinga nga ensawo ye ssi ngumu, ensi eba emaze okumufundirira kubanga tewali bbanka oba money lender aba agenda kumuwola olw’okutya nti engeri gy’aliko laama y’okufutyanka ssente, ayinza obutabasasula ekitegeza nti aba aja kutunda buli kyalina ekikalu akimalewo.

LWAKI OKUJAMU SSENYONYI  OBWESIGE KYAKALUBAMU

Saddam Gayira Ssentebbe w’ekibiina kya “PPP” yatugambye nti state neweyalibade nga yeyagala okujamu Ssenyonyi obwesige kyandi kalubyemu kubanga ennyigo 82A eya ssemateeka w’eggwanga eteekawo office ya LOP eyogera kungeri gy’alondebwamu nti: “anavanga mu kibiina kya oppozisoni ekisinza ababaka mu Paliyamenti kyoka netayogera ku ngeri gy’avawo ng’ekibiina ekyamusindiika ssi kyekimugyeyo.

EKY’OKUJAMU SSENYONYI KINO OBWES KYALI KIGENDA KUZUKUSA OLUTALO LWA MPUUGA NE KYAGULANYI

Gayira nga yeyambisa galubindi ze ezilabira ewala eby’obufuzi yatapuse nti abali bagoba ekyokujamu Ssenyonyi obwesige bali bagenda kuzukusa olutalo lwa Mpuuga ne Kyagulanyi olw’obukade ebitaano zeyafuna ng’akasiimo ak’okuba LOP Kyagulanyi zeyamugamba azeeyo nagaana.

Gayira yafundikira agamba nti buli entalo ng’ezo lwezibaawo naddala mukiseera kino nga tugenda mu kalulu, Pulezidenti Museveni yafunamu kuba oppozisoni eba eyongera okwekutulamu

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *