Enongosereza ezakoledwa Byabakama munsengeka y’ebyokulonda zagenderedwamu kubbira Pulezidenti kalulu:Banakyewa n’abalondoozi be by’okulonda boogede

Kampala

Omulamuzi Simon Byabakama, Ssentebbe w’akakiiko k’okulonda mu ggwanga wiiki ewedde yasinziira ku office z’akakiiko kano ezisangibwa ku Plot 1-3/5 Seventh Street Industrial Area, Kampala nalangirira nga bwebaali bakoze enongosereza mu nsengeka y’ebyokulonda gyebaali bakoze na ddala mu nnaku z’okusunsula abanavuganya ku ntebbe ennene ey’eggwanga.

Munsengeka eyasooka abanesimbawo balina okusunsulwa okuva nga 2,10/2025 okutuuka nga 3,10/2025 naye kati bakusunsulwa okuva nga 23,09/2025 okutuuka nga 24, 09/2025

Newankubade Ssentebbe Byabakama yannyola nti kino kyaali kikoledwa okusobozesa akakiiko okwanguya entekateka ezidirira okusunsula abanvuganya nga tebanabata kutandiika kakuyege mu balonzi mu butongole gamba nga akakiiko okwekenenya emikono 9800 egisemba buli anavuganya okuva mu ekitini ennyo Disitulikiti 98 ezikola eggwanga, abanavuganya okwekenenya sampolo z’obukonge n’addala obufananyi bwabwe n’obubonero, abanvuganya okukanya ku bifo gyebanakubira kampeyini okwewala omu okuyingirira omulala, abakugu mu byokulonda, abayivu, aba oppozisoni n’abegwanyiza obwa Pulezidenti bakubye ebituuli mu nongosereza zino.

OBWESIGE BWA BANTU MU KAKIIKO K’EBYOKULONDA BUGENDA KUKENDERA

CHARITY AHIMBISIBWE:-Alina obumanyirivu obusuka mu myaka 10 mu kulondoola eby’okulonda n’enfuga ya mateeka mu Uganda ne mu Afirika yonna okutwaliza awamu.

Ahimbisibwe

Ono yatunyonyode nti ensengeka y’okulonda ye pulaani erambulula engeri entekateka y’okulonda gyegenda okuddukanyizibwamu okusobola okujjayo obulungi ekinnyusi ky’akalulu okuba ak’amazima n’obwenkanya nga na bwekityo okugikyuusa ku ssawa esembayo;

1)Kitabulatabula abalonzi. Wano Ahimbisibwe yatuwade eky’okurabirako nti mu kulonda okwagwa, akakiiko k’eby’okulonda kaakyuusa ekifo abavubuka webalina okulondera abakulembeze baabwe ku ssaawa esembayo ekyatataaganya  ennyo abalonzi era bangi tebasobola kulonda olw’okuba baali tebamanyi kifo kituufu webaalina okulondera

2)Kivirako akavuyo(confusion)  ekikalubya ennyo omulimu gw’okulondoola eby’okulonda

3)Kivirako obwesige bwa bantu mu kakiiko k’ebyokulonda okutegeka akalulu k’amazima n’obwenkanya okukendera.

ENO YE PULAANI EMPYA EY’OKUBBIRA PULEZIDENTI MUSEVENI AKALULU

DR.SAMUEL WALTER LUBEGA MUKAAKU: Kati ye National Chairman wa DF era yavuganyako kubwa Pulezidenti mu 2011.

Mukaaku

Yakinoganyiza nti akakiiko k’ebyokulonda okukola enongosereza mu nsengeka y’ebyokulonda bweli emu ku ngeri empya ey’okubbiramu Pulezidenti Museveni akalulu.

Mukaaku ensonga ye yagiggumiza n’ekyokulabirako nti singa UNEB ekyuusa omulundi gumu nga telina gweyebuzizaako PLE okumukola mu November n’emutekayo mu August, abayizi babeera banayita naddala nga tebanaba kumalayo na bisomesebwa?

Ono yafundiikide agamba nti obutali bwenkanya busuka  nga n’abamu kubakulira amassomero bakola mu UNEB era nga babade basomesa ne mu luwumula.

BYAMUKAMA LWAKI TOTUBALAMU MAGEZI?

DAVID WILLIAM MAGEZI: Y’omu kubavubuka envumuulo abegwanyiza okwesimbawo kubwa Pulezidenti.

Magezi

Ono enongosereza zino aziraba nga bukodyo bwakugoba abakulembeze abalimu ensa nga ye mu lwokaano.

Magezi yatunyonyode engeri gyabade amanyi nti okubasunsula kwakubayo mu October, abade alina entekateka yakumala emmyezi 2 nga akuŋŋaanya mikono naye olwokuba akakiiko k’ebyokulonda kakusembeza mu September, alina okunoonya amangu ssente emikono aginoonyeze mu mwezi gumu.

Kino Magezi yakirabye ng’okumutataganya mu pulaani ze era wano weyasinzide okubuuza nti bwekibanga Byamukama ssente ezisinga obungi ez’okutegeka akalulu bazikuwa dda, lwaki totubalamu magezi ng’okola enongosereza zino?

NZE TEMUDAMU KUŊŊAMBA BYA BIKWATA KU BULULU BWA UGANDA

MIRIA MATEMBE:- Yali Ssentebbe w’ekibiina ky’obwa nakyewa ekya CCEDU ekyagalwa gavumenti mu 2021

Hon:Matembe

Ono yatugambye nti oba akakiiko k’ebyokulonda kakola enongosereza mu nsengeka y’okulonda oba tekazikola saagala kumanya kubanga okulonda mu Uganda tekukyalina makulu

Ono yafundiikide atugamba nti tetudamu na kumukooya kunsonga eno.

FFE TULI BETEGEFFU OBUDDE BWONA

EMMANUEL DDOMBO:-Akulira ebyamawulire mu ekibiina kye NRM yatugambye akakiiko k’ebyokulonda entekateka y’okulonda ne bwekanagizibuwaza katya oba okujanguya, bbo beetegefu ekijja kigye.

Hon:Dombo

Ono era asambaze ebigambibwa nti Ssentebbe waabwe era nga ye Pulezidenti w’eggwanga Yoweri Museveni yali emabega wenongosereza zino nekigendererwa eky’okweyambisa akakiiko okumubbira akalulu kubanga akakiiko k’ebyokulonda ketengerede ekitegeza nti siyakawa ebiragiro era nti n’engeri akakiiko kano gyekakolamu emirimu gyaako erambikibwa bulungi nnyo mu ssemateeka na bwekityo abalumba omuntu waabwe bamusibako matu ga mbuzi

MUFEEYO NNYO OKUMANYA LWAKI ENONGOSEREZA ZINO ZAAKOLEDWA

Senior Citizen Captain Francis Babu yawabude nti abantu nga tebanaba kububuka nnyo na bigambo, bagwaanye bafeeyo nnyo okumanya lwaki akakiiko k’ebyokulonda kaakoze enongosereza zino kubanga kiyinza okufundikira nga kibayamba.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *