BYA:OMULANGIRA DDEMBE YONAH
Nakawa,Kampala
Banna-Nakawa abaganyulwa mu nteekateeka ya Youth Wealth Creation Programme bakumbye nga bakungulira Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni obululu.

Museveni eranga yakwatide ekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM bendera kubwa Pulezidenti e Nakawa yabade agenzeyo okuperereza abaayo bademu bamulonde ku kisanja eky’omusavu mu kulonda okugenda okubawo nga 15 omwezi guno.

Bano nga bakulembewamu omukwanaganya wa pulogulamu eno Faizal Ndase,bakumbye okuva e Kinawataka mpaka ku kisaawe kya MUBS ewabade laale eno.
NDASE YANNUNULA KU MUSAALABA GWOBWA NAKIBOTTE BWA KAMEEZA
Elizabeth Twinomugisha mu maziga g’essanyu yatugambye nti Ndase yamunnunula ku musaalaba gwobwa Nakibotte bwa kameeza nga ategeza nti yali mukyala atakoola nga awangalira ku njawulo ya ssente za kameeza.

Ono yakatiriza nti ku mulembe guno,kya kabenje nnyo omukyala okuba Nakibotte wa kameeza kubanga okuva kasenya ak’enussu 1000 n’akawale k’omunda,omukyala abaalina kubisaba bba ekintu ekikakanya ennyo ekitibwa ky’omukyala okutuuka ku ddala ly’okuba nga masikini.
Engeri emirimu gya bba gyegiri ej’okweyiya okugeza leero ayinza okukuba bulooka,enkeera ne bamupamgisa okulima ate oludako nagenda na poota;waliwo akaseera emirimu wegimubula.Kati engeri bba gyakolerera emmere ya leero,lweyalinga takooze besanga nga mukiseera ekizibu eky’okufuna eky’okulya.
Wano Twinomugisha Twinomugisha weyatandikira okwebuuza nti olaba ky’okulya kibuuze kati nga omwami wali,singa Mukama amuyita ntandikira wa?
Oluvanyuma lw’okutakula ennyo omutwe ekirowoozo ky’okutandikawo kabizinennsi k’okusika chapati ne by’okulya ebirala kyamugira asobole okugaziya kunyingiza y’ewaka lwakuba yesanga mu kusomozebwa okwa kapito.
Wano bakigato ba Ndase webamusalirako ne bamuwandiisa era kabuula kata azirike olw’essanyu weyawebwa katooni ye ngaano,ekidoomola kya buto ekya litta 20 ne nsawo ya manda.
Mbagirawo yatandiika okusika eby’okulya ewaka nga wasevinga ssente okugula ebikozesebwa ebirungi.
Twinomugisha eby’okulya kati alina ekifo wabisikira ku kubo era yakiggumiza nti kati akassente ayingiza akaweera era kati bba newamala omwaka nga takoola,asobolera ddala okuyimirizawo amaka gabwe.