*Banalubaga abaganyulwa mu nteekateeka ya YWCP beeyamye okunoonyeza Pulezidenti Museveni akalulu
BYA:OMULANGIRA DDEMBE YONAH
Lubaga,Kampala
Banalubaga abasooba 500 abaganyulwa mu nteekateeka ya Youth Wealth Creation Program(YWCP) baweeze nabiddi na mutima okunoonyeza Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni akalulu asobole okudda Entebbe mu ntebe ekisanja ekigya

Bano okweeyama kuno bakukoledde mu maaso g’omukwanaganya w’enteekateeka eno mu ggwanga Faizal Ndase ku kisaawe kya Mmengo Primary School era akalulu bakukanoonya nju ku nju.
ABAGANYULWA MU NTEEKATEEKA ENO BAWADE OBUJJULIZI
MUKUSOOKA NALI NDOWOOZA FAIZAL MUFEERE
Nambejja Zaina,omusiisi wa chips okuva e Nakulabye mu bigambo bye yatugambye nti Faizal weyajja okumpandiisa ssaamuwa budde nga ndowooza mufeere.Ono yansanga nina situleesi nga bizinensi enegezaamu okunzita kubanga bakasitoma baali tebazze nga bwe naali nsuubira kyoka nga enkeera nalina looni ey’okusasula atenga n’obumonde gyembujja bali bampoze buwoole.
Engeri gyebaali batalina kye bantuteeko atenga bansanze na kuka bizinensi kange,webanemerako ennyo,mungeri ey’okubejako nakkiriza bampadiise.Oluvannyuma lw’ennaku bankubira essimu nga bampiita ku Tavern Woods e Kabuusu bampe ebintu byange era kata nzirike olw’essanyu weebampa ensawo y’obumonde ne litta 20 eza butto.Abakyala abalala babawa ebyalaani,duraaya n’ebintu ebirala bingi.
Ebintu ebyampeebwa byansindiika nnyo kubanga nasobola okusasula looni n’enzimalayo era kati bizinensi yange eyimiride bulungi kyova olaba nti nafuuna ku mubiri era atamanyi ayinza okulowooza nti nkola na mu gavumenti
NZE BAMPA AKUUMA KEMBERENGE ERA KATI NDIISA BUTI
Odard Turyashaba,omutunzi w’emberenge e Namungoona yatunyonyode nti ttimu ya Faizal yamusanga mukusoberwa kubanga akuuma keyalina kaali kafafa nnyo olw’ensonga nti kaali kakadiye.Bano bamuwandiisa era aba alyawo,bamukubira agende akakime.
Mu ssente Turyashaba zeyasooka okufuna,yasooka kukanisa kuuma ke kakade.Kano kati yakawa omuntu omulala amukolera ssente.
Turyashaba okuva weyafuna akuuma akalala kati aliisa buti kubanga mukusooka yali ayingiza e 20,000 naye kati ayingiza wakaati w’e 40,000-60,000 buli lunnaku.
Namande Christine okuva e Lugala yeebaziza Pulezidenti Museveni olw’okuleeta emirembe mu ggwanga ate Safiina Namulindwa okuva e Lubaga yamusiimye nnyo olw’okubawa ssente z’Emyooga n’okubajja emanju.

Godfrey Kajoba okuva mu Kitunzi yagambye nti okuva webamuwa ekyalaani natandiika okukola n’ebyokunywa enjaga nga Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi nabivaako.Ono yakinoganyiza nti ebya Kyagulanyi nebya situlago byawoza yabivaako era kati ku Muzeeyi kwafiira

Wano Ndase weyasinzide okusaba Banalubaga bano okusiima Pulezidenti Museveni nga bamuyira obululu ku lunnaku lw’okulonda asobole okudda mu ntebe ayongere okubawereza.

Kino naddala abakyala beeyamye okukikola nga batandiika nakukuyeega bami babwe olwo balyoke baperereze baliranwa n’abantu ku byalo gyebawangalira.
Abami nabo balayide nti bafuuse bakunzi ba Pulezidenti Museveni.


Enteekateeka eno Pulezidenti Museveni yagiteekawo;
1)Okulwanyisa obwavu nga bawa omuntu wa wansi ebintu byentandikwa
2)Okutaasa omuntu wa wansi kuba ba money lender abali basuuse okugya ku bantu endaga muntu zabwe nga babawola ssente ate kumagooba agawaggulu.
3)Okusobozesa mufuna mpola okuba ne ssente munsawo.