Fuutu sooja wa Kyagulanyi yeswanta kutwala kifo kya kkansala e Kireka

Kira,Wakiso

BYA:KAYEMBA TONNY

Netherous Nyanzi,fuutu sooja wa Pulinsipo Robert Kyagulanyi Ssentamu owa manyi okuva mu Kira aze amazeeko nga Katogo akassirira nga wekatokoota okuwangula ekifo kya kkansala aba’kiikirira Kireka B Railway ku Divisooni y’e Namugongo.

Ono nga ne mu kulonda okuwede yavuganya naye nawangulwa muna PFF Andrew Ssewakiryanga gwalumiriza okukwata mu bokisi yatukakasiza nti ketonye ke gwaake,wakulayira kubanga gulawundi ajirina era ne webamuyitira kulitalaba ne bamubba kati yamanyaawo.

Nyanzi kati asiiba mu balonzi ng’anonnya akalulu nju ku nju

EBIGENDA OKUWANGUZA NYANZI

1)ALINA KAADI YA NUP:Kira obutawukana nnyo na bitundu bya Buganda ebirala,abalonzi bakyalina endowooza eya “buli wolaba manvuli tikinga” ekitegeza nti Nyanzi NUP keyamuwa kaadi,emikisa gy’okuwangula alina 60%

2)MUKOZI:Okusinzira kungeri Nyanzi gyaze ayirawo abantu omubiri,omuntu webabba tebakukakasiza nnyo ayinza okulowooza nti ye kkansala aliyo kubanga buli kintu ekiruma abantu,bajjuluriza ye.

Olw’obukozi bwe abantu batuuka n’okumukazaako erinnya lya Genero Biwott.Nicholas Biwott yaffa mu 2017 naye Banakenya bamukungubagira nnyo kubanga yali omu ku Baminisita abawereeza mubifo eby’enjawulo ku mirembe gyaba Pulezidenti ab’enjawulo mu bw’esimbu n’obw’etowaze obutagambika atenga mubuli kifo kyeyawererezaamu,yaleeka omukululo ogulabika.

Eno y’ensonga lwaki bamemba abalala mu kibiina gyebaali bakaabira kaadi,ye yayitawo ku kaseleezi oluvannyuma olw’obutafuna bamwesimbako.Okumanya Nyanzi amasanyalaze yalina mangi abamuvuganya okuva mu bibiina ebirala newebagezaako okugulirira banakibiina bamwesimbeko,bagana.

3)MWANA NZAALWA EYA MUKITUNDU:Ekitegeza buli ekiluma abatuuze akimanyi nga weyemanyi.

BYAGENDA OKUKOLA

Nyanzi esiira wakuliteeka ku bintu binna;

A)Okulwana okulaba nga emisolo emingi egitekebwa ku basuubuzi gikendera.

B)Okulwana okulaba nga abasuubuzi abagoobwa ku ttaka aba Railway mu katale e Kireka bafuna ettaka eddala webakolera nga gavumenti weya basuubiza.

C)Okulwanyisa enguzi kubanga alina bwino amala ku bakkansala nga beeza obulimu obutinitini obwandi koledebwa abantu babulijjo.Nti abandi babufunira bakyala babwe,abenganda,abako n’emikwano oba abantu be baba bamaze okulyamu ssente

D)Okutumbula ebitone nga alwana okulaba nga ebisaawe ebiri mu kitundu tebisanyizibwawo nga wegwali ku kisaawe ky’ekkanisa ya St.Stephen C.O.U.Kino ekkanisa yasalawo kizimbibweko ekizimbe songa abaana b’omukitundu bakigenda ngako okuzannya omupiira olwegulo mu biseera by’oluwumula.

LWAKI KYAGULANYI AMWESIGA NNYO

Okuva nga Kyagulanyi akyayimba,Nyanzi yali omu ku bawagizi be bamanyi obulungi mu Kira era buli weyayitanga mu Kireka nga tavamu nga tamubonzeko.

Nyanzi neba Fuutu Sooja bane mu situlago

Olw’omukwano gwo Kyagulanyi weyesoga eby’obufuzi,Nyanzi yagobererea nga kyana kya tulweera era yali ono y’omu kubasooka okutambuza engiri ya People Power mu Kira era eno yemu ku nsonga kwebasinzira okumulonda okuba Omuwandiisi w’olukiiko lwa Kunga mu Kira.

Okumanya Nyanzi akyali omu kuba fuutu sooja Pulinsipo Kyangulanyi basinga okwesiga mu Kira,buli waba alina kyayagala okumanya mu kitundu amukubira akassimu oba namuyita mu State House e Magere ne bawayamu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *