Guno omwaka Katonda agenda kumenya enjegere zonna abalabe bo zebaakosea okusiba obulamu bwo-Bisopu Kibuuka

*Avumiride abakuuma ddembe abakuba abantu nga ebisolo mu biseera by’okulonda

BYA:OMULANGIRA DDEMBE YONAH

Kira,Wakiso

Bisopu Jacinto Kibuuka,atwala ettwale(pronvince) lya Amassekkati n’ery’Ebuvanjuba erya Evangelical Orthodox Catholic Church (EOCC) mu Uganda yakakasiza endiga ze nga Katonda wagenda okumenya enjegere zonna abalabe zebaakoseza okusiba obulamu bwabwe ate amale ababonereze nga abaziyiza n’okufuna byebagala.

Ono eranga ye musumba omukulu owa Mamre international Prayer Centre esangibwa e Namugongo,okulangirira kuno yakusimbuliza mu Ngero 10:3 egamba nti “Mukama taalekenga muntu mulungi kufa njala; naye ababi, abaziyiza okufuna be begomba” mu kiro ky’okuyingira omwaka 2026.

Bisopu Kibuuka weyali asomesa yanyonnyola nti okufa enjala tekitegeza bbulwa lya mmere lyokà wabula kizingiramu okuffa,obwavu omuntu natuuka n’ekusa ly’okubbulwa ssente ezisasula ebisaale bya massomero n’ebikozesebwa ewaka n’ebyetaago  ebirala omuntu byeyetaga okubawo.

Bisopu Kibuuka nga alisa endiga ze ekigambo

Wakati mu kasaba n’okwegayirira okwakulungula essaawa nga 2 oluvanyuma lw’ebiriroriro ebituyingiza omwaka okutulika,musajja wa Katonda ono mweyasinzira okulangirira ku ndiga ze nga guno omwaka Katonda watagenda kuzileeka ku bbulwa; kyakulya,ssente mu nsawo ne ez’okufiisa,emirimu,konekisooni n’ebirala byonna byebayayanira okutuukako.

Mungeri eyenjawulo Bisopu Kikuuba yenyamide nnyo olwa abakuuma ddembe abakuba banansi bebalina okukuma nga ebisolo by’okutale mukiseera ekya abesimbyewo okunonya akalulu akagenda okukubwa nga 15 omwezi guno.

Bisopu Kibuuka nga akulembedemu endiga ze mukusaba n’okwegayirira.

Bisopu Kikuuka yakinoganyiza nti ekikolwa ekyo si kya bwa Katonda na buntu era abakuuma ddembe ekika ekyo yabasabye beedeko kubanga kyebakola kifananya okulonda okuba olutaro ekitatana ennyo ekitibwa kyabwe ne kye eggwanga.

Mukumalirizà,Kibuuka ndiga yagisize amafuuta n’okugisabira omukisa.

Bisopu Kibuuka nga asabira endiga ze omukisa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *