BYA:OMULANGIRA DDEMBE YONAH
Lubaga,Kampala.
Abavubuka abakola emirimu gyabulijo mu Divisooni y’e Lubaga basabye Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni gwebayita Jajja abakwasizeeko ne kapito wokwongera mu bizinensi zabwe basobole okwegya munnyanga z’obwavu.
Banalubaga bano naddala okuva mu murika okuli Mutundwe,Kibuye ne Ndeeba okusaba kwakwe bakuyisiza mu Yasin Ndase omukwanaganya w’enteekateeka ya Youth Wealth Creation Program(YWCP) eri wansi wa maka ga Pulezidenti.

James Baganda kulwa banne yagambye Ndase nti newankubade emirimu gyebasomelera gyabula,mukifo ky’okweyunga kubikoosi bya bamenyi bamateeka,basalawo okutandiika okukola emirimu gyabulijjo nga okukanda chapati,okusiika chips,okutunda ebibala n’ebilala bingi okusobola okwebezaawo.Bannabwe abalala basalawo okweyunga mu matendekero ag’ebyemikono agali wansi wa maka ga Pulezidenti ne basomesebwa emirimu gye by’emikono nga okubajja,okwokya ebyuma,okutunga engato n’ebirala bingi.
Newankubade emirimu gyabulijo bagitandikawo,Baganda yannyonnyode nti balina okusoomoozebwa kwa kapito okuba mutini nnyo songa ebyebatagisa beetaga bingi.Mu mbeera eyo okusobola okutandiika,besanga nga balina okuduukira mu ba money lendor ababasaba amagooba amangi mu ssente ze babawoola.
Nga webagamba nti atuuma omukulu tamagamaga,Baganda wano weyasinzide okusaba Ndase abakubire Pulezidenti Museveni akaama k’okubakwatamu ne kapito oba okubagulira ebimu ku byuma byebakozesa mu mirimu gyabwe.
Bano era balaze n’engeri gyebaze bagata omutindo ku byebakola okugeza abafumbi bemmere balaze engeri gyebakozesa gaasi okufumba ekikwatagana obulungi n’ekiragiro kya Pulezidenti Museveni eky’okwettanira enkola ezikuuma obutonde bw’ensi nga bava ku kukozesa enku oba amanda

Ndase mukwanukula yabakakasiza nga okusaba kwabwe wagenda okutuusa eri omukulembeze w’eggwanga mubwangu wabula natangaza nti tagenda ku kwanukuula mubwangu kubanga mukiseera kino amateeka g’ebyokulonda Pulezidenti Museveni gamusiba emikono obutabako buyambi obw’engeri yonna bwatuusa ku bantu.
Nabwekityo singa Pulezidenti Museveni abaduukirira,bayinza okukitapuuta nga okugulirira abalonzi webatyo n’ebamusazamu mu lwokaano.

Wano Ndase weyasinzide okusaba abavubuka bano okulonda Pulezidenti Museveni adde Entebbe mu ntebe nga olunamala okulayira bwati,ebyetaago byabwe byebimu kwebyo byagya okutandikirako okutuukiriza.
Bino byonna byayindide ku kisaawe kya kye ssomero lya Kitebi Primary School e Wankulukuku.