BYA:OMULANGIRA DDEMBE YONAH
Kampala.
Haruna Kasolo,omumyuuka wa Ssentebbe wa NRM owa Buganda omugya emirimu agitandikide mu ggiya bwatabaganyiza bamemba ababade batekateeka okwesimbawo kubwa namunigina oluvanyuma olwa vvulugu eyalàbikira mu kamyufu k’ekibiina ku biffo byabwe nabo abaafuna bendera.
Okutabagana kuno Kasolo yakukolera ku Hotel Africana gyebuvudeko bwe yali asisinkanye abakulembeze abenjawulo okuva mu bitundu bya Buganda wansi wentekateka ya Buganda ku Museveni mwebagenda okusinzira okunoonyeza Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni Tihaburwa akalulu mu bitundu bya Buganda okwewala ekiswaalo ekyabatukako mu kulonda okuwede NUP eyali ey’emyezi obwezi bweyayoola obululu bwa NRM bwona mu Buganda

Abakiriza okuviramu banabwe basobye mu 100 era bebamu kubano wamanga;
1)Robert Mugabe yaviridemu Dr.Nabatanzi Ssonko ku kiffo ky’omubaka owa Mukono Municipality
2)Harriet Mutiibwa ne Martha Kakayi baviridemu Ronald Kibuule ku kiffo ky’omubaka owa Mukono North
3)Vincent Kivumbi yaviridemu Amelia Kyambade ku kiffo ky’omubaka owa Mpigi North
4)Ssemakula Vestus yaviridemu Mulindwa Soozi ku kiffo ky’omubaka owa Lugazi Municipality
5)Nakanwagi Doreen yaviridemu Nakavubu Margaret ku kiffo ky’omubaka omukyala owa Mukono District
6)Nyakana Saulo Karwanga yaviridemu Vincent Nyanzi ku kiffo ky’omubaka owa Busujju
7)Ntwatwa John Jackson yaviridemu Kafeero Ssekitoleeko ku kiffo ky’omubaka owa Nakifuma
8)Bwanika Ismail yaviridemu Didus Tayebwa ku kiffo ky’omubaka owa Kooki
9)Nakayiga Hawa Mukalazi yaviridemu Katushabe Ruth ku kiffo ky’omubaka owa Bukomansimbi North
10)Nalubega Rukia ne Nasolo Cyria baviridemu Ssemakula Bashir ku kiffo ky’omubaka owa Bukomansimbi South
11)Kintu Patrick Kisekulo ne Lubega Moses Kyewalyanga baviridemu Ssasira Peter ku kiffo kya Ssentebbe Kyotera District
12)Walugembe Meddie yaviridemu Bulegeya Julius
14)Najjemba Grace yaviridemu Nalule Joanita ku kiffo ky’omubaka omukyala owa Masaka Disitulikiti
15)Kamazinga Robbinah Kasagazi yaviridemu Suubi Kinyamatama ku kiffo ky’omubaka omukyala owa Rakai Disitulikiti
16)Nantongo Prossy yaviridemu Kansiime Sikoola ku kiffo ky’omubaka omukyala owa Kyotera Disitulikiti
17)Bukenya Farooq n’Omulangira Wasajja baviridemu Namuswe Agnes ku kiffo kya Ssentebbe wa Kalangala Disitulikiti
18)Kato Jacob Mwesigye Emmanuel Rwashande Lwemiyaga
19)Kyabaggu Aloysius yaviridemu Haruna Kasolo Kyotera
20)Muyomba Siraje ne Kasujja Salim baviridemu Kangave Umar kubwa Ssentebbe wa Butambala Disitulikiti
21)Kiviiri Godfrey Ssentebbe wa Gomba Disitulikiti naye yavude mu lwokaano
22)Badru Kateregga Kaggwa yaviridemu Kyeswa ku kiffo ky’omubaka owa Butambala
23)Dr.Sauda Matovu ne Nakimera Erina ne Naluyima Kagimba bavude mu lwokaano lw’omubaka omukyala owa Mpigi Disitulikiti
24)Nakazibwe yaviridemu Judith Nagujja ku kiffo ky’omubaka omukyala owa Buvuma Disitulikiti
25)Wasswa Adrian Ddungu yaviridemu Migade Robert Ndugwa ku kiffo ky’omubaka wa Buvuma
26)Ssemanda Mathias yaviridemu Ochieng Matiya kubwa Ssentebbe wa Buvuma Disitulikiti
27)Kigozi yaviridemu Nsereko Basajja Subi ku kiffo ky’omubaka owa Nakaseke South
28)Suubi Jackline yaviridemu Kirabo ku kiffo ky’omubaka omukyala owa Luweero Disitulikiti
OKUWANGULA MU BUGANDA TULINA KUBA BASIRU
Kasolo nga amaze okutabaganya abakulembeze bano yabategeza nti ekigenderwa kyabwe kyakuwanguza Pulezidenti Museveni n’ebitundu 90% mu Buganda n’okuyingiza ababaka ekitini ennyo 90 kwabo 105 mu Palaamenti ejja okuva mu bitundu bya Buganda eby’enjawulo.
Ekirubirirwa kino bwebaba bakukitukako, Kasolo yakinoganyiza nti abakulembeze abalina bendera ebiseera ebimu balina okufuuka abasiru nga betowaza mu ngeri etabangawo okusobola okusanyusa abalonzi okugeza abade taziika alina okuyiga okuziika, abade talamusa ku bantu alina okuyiga okukikola bwekibanga kyekinasanyusa abalonzi basobole okubalonda.