Kampala.
BYA:BASASI BAFFE
Gyebuvudeko Ssaabaminisita Robinah Nabbanja yasiba mu kibuga Kampala nga alambula ku basubuuzi abakosebwa amataba agayingirira ebizimbe mwebakolera ne galeeka emmali yabwe eri mu buwumbi nga eyononedwa.
Abasubuuzi abakosedwa newankubade bakiriza nti mu biseera by’enkuba ekibuga kibade kibaamu amataba,ku luno embeera okusajjuka bakitade ku mugagga omuto Hamis Kigundu ali mu kuzimba ku mwala gwe e Nakivumbo amaduuka nti yazibikira emiwatwa egibade gitwala amazzi mu mwala mu biseera by’enkuba mukyo amazzi wegakulukuta ne gatuuka nga tegalina wegayiita,galina okuda emabega okukakana nga gayindide mu bizimbe omuli emmali yabwe.

Bano Ssabaminista Nabbanja yabasaside nnyo era nabategeza nga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni weyalagide buli musubuuzi eyakosedwa adukirirwe ne nkaata ya bukade 10.
Wabula bino byagenze okubawo nga kanso emaze okutuula eggulo limu okusalira wamu amagezi ensonga y’ekizibu kya mataba mu Kampala.
Olw’okubanga ekizibu kino kyabade tekirinda,olutuula olwayitidwa lwali lwa mangu era lwali lwa bugumu nnyo kubanga Bakansala okuva mu kibiina kya NUP bataamira Omuloodi Ssalongo Erias Lukwago olw’okubakonjera nga webatunza Omugagga omuto Ham omwala nazibikra emiwatwa egitambuza amazzi mu kibuga ekyavirideko amazzi okubooga ne ganfundikira nga gakulukutide mu bizimbe abasubuuzi mwebakola.
Okwawukanako ne bulijjo,olutuula luno lwetabwamu n’oludda olwa abakugu b’ekibuga abakulirwa Hajjati Sharifah Buzeki,ED wa KCCA

Olutuula luno Sipika Zahara Luyirika amanyidwa ennyo nga Maama Kampala eranga yakute kaadi ya NUP ku kifo ky’omubaka owa Makindye West yalugulawo na alipoota y’Omuloodi Lukwago eri kanso era yalimu ebiteeso ebikulu 2;
1)Okumenya akeedi Omugagga omuto Ham gyali mu kuzimba ku mwala kubanga emenya mateeka olw’okubanga ebitongole ebikwatibwako tebiyisanga pulaani ye.

2)Kanso eyise ekiteeso Omugagga omuto Ham akwatibwe mu bwangu bamale bamuvunane omusango gw’okutta abantu kubanga yazimba ku mwala ekyalemesezza amazzi okutambula obulungi okukakana nga amazzi gawaguza ne gayingirira amayumba ga bantu okukakana ng’abantu 4 bafudde kwo n’okuyingira mu bizimbe abasubuuzi mwebakolera okukakana nga emmali yabwe eri mu buwumbi eyononese.
Kansala Bonny Kakande akikilira Kawempe ne Bakansala abalala ab’olubatu basiima nnyo alipoota ya Lukwago naye Bakansala abangi nga bakulembedwamu Faridah Nakabugo owa Rubaga South ne Mickdard Muganga owa Makerere yabasikula nnyo emmeme ne bagiwakanya nga besigama kuky’okuba nti erina kyekubira kubanga omugagga Ham si Katonda eyatonyesa enkuba eyavirako amataba.
Bano ensonga yabwe bayongera ne bagiwanirira nga webagamba nti ebizimbe abasuubuzi mwebakolera byazimbibwa mu lutobazzi nga ne bimu nga Petagon esuulo ze nzizi kwebabizimba zadamu dda okuwaguza.
Kino kyavirako okuwanyisiganya ebigambo mu kanso okutuuka kussa lya Bakansala abakiririza mu Lukwago okulangira Bakansala ba NUP obutasoma n’obutalowooza obwa bavirako okuyisa ekiteeso ekyawa omugagga omuto Ham omwala.Bano balinga abakubye ejjinja mu njuki kubanga Bakansala ba NUP nabo babadiza omuliro nti byebali bogera bali babyogera lwa nsaalwa yakubama kaadi.Ebigambo ebyo Bakansala ttimu Lukwago byabakosa nnyo mubwa era mu busungu batuuka n’okulangira Bakansala ba NUP nti balya ssente z’omugagga omuto Ham okusobola okumuyisiza ekiteeso ekimukiriza okuzimba ku mwala nga yensonga lwaki bamuyirawo nnyo omubiri.
Nga ebbanja ly’omwenge werigwa na mwenge,Bakansala ba NUP webalaba nga aba ttimu Lukwago batandiise okwasa ebyama,nabo kwekutandiika okubakomerera nti bankwe era nti nabo balya.Bano bazingiramu n’Omuloodi Lukwago nti asusiza okweyagaliza yekka nga ayiita mu kutondawo entalo ezitalina makulu asobole okubakyayisa mu bantu baleme okubalonda.
Bano Lukwago bayongera okumutaamira nti waba talyanga ku ssente za mwala gwa Nakivubo,Yusuf Nsibambi gweyalonda okukulira akakiiko ke ttaka mu Kampala yeyawa Ham lizzi ku mwala,waba teyalya,weyamanya lwaki teyamugoba?Bano era bagatako nti Lukwago weyalwala,KCCA teyalina ssente,naye Lukwago yateeka Dorothy Kisakka eyali ED kuninga amunonyeze ssente mu bulungi nemu bubi era okukakana nga Kisakka adukide wa Pulezidenti Museveni namuwa ssente,wano webasinzide okubuuza nti lwaki amanyi geyateeka mu kulwanirira obulamu bwe sigeyateeka mu kulwanirira abantu b’e Kitezi abatanaba kuliyirirwa wabanga ddala ye ngabo ya Banakampala nga weyeyita.
Bakira bino byonna bigenda mu maaso nga Sipika Luyirika nga asirise atunula butunuzi mukutabulwa wabula weyalaba nga okwelangira kutuuse ne kuguma ery’obuntu,yakona akayondo ku meeza nalagira Bakansala okuda mu wooda nabo kyebakola olutuula ne lugenda mu maaso era byagwa nga kanso egaanye okuyisa alipooti ya Lukwago ekyamuleka nga atabuddwa.

ENGERI BAKANSALA GYEBEGABANYIZA OMUGAATI GWA HAM KU MWALA MU MUGONGO GWA LUKWAGO
Ensonda zaffe ezesigika mu KCCA zatukakasiza nga ebya Bakansala okwelangira okulya ssente z’omugagga omuto Ham webatali mu kuzanya byabufuzi.
Nti Bakansala okuyisa ekiteeso ekyawa Omugagga omuto Ham olukusa okuzimba ku mwala yali asoose kubutiika mu matama gabwe akawumbi kamu n’obukadde 200.Mbu ekisaawo omwali ssente Kansala akikiriza ewali omwala yeyakikima ku ofiisi y’omugagga omuto Ham era nti eno yensonga lwaki bane webabade bateesa ne batuuka ne kussa ery’okwelangira ebisongovu ye teyavudemu yade omwasi.
Kigambibwa nti eyali akulira KCCA ow’e kiseera Frank Rusa yeyali bulooka wa ddiru eno omukulu.Bano Lukwago abatenda bujoozi kubanga ensolo bagitemeratemera mu kifo ekimanyidwa nga Lord Mayor’s Parlour wano nga Omuloodi wakyaliza abagenyibe ab’enkizo era kiriranye ofiisi ye.
Era kigambibwa nti buli kansala eyaliwo kwolwo ekitini ennyo yada ewaka ne kiro ze nnyama za obukadde 25.
Kulwa Bakansala naddala aba NUP Sipika Luyirika ebyogerwa bino abiwakanya kyenkana kukomba na ku paasi.Ono mukwongera okwegyerereza yatugambye wekibanga waliyo omuntu alina obujjulizi naddala obumuluma nti yalya,abuteeke ku meeza olwokaano lw’okuvuganya kubwa Mp bwa Makindye West aluvemu mbagirawo.
Wano weyasinzide okusaba buli ayogera naye nga talina bujjulizi abemu ak’obuntu asirikeko kubanga ali mu ku bononera manya gebazimbide ebanga kyoka wetwakubide Mwami Rusa atuwe oluuyi lwe,yaganye okukwata amassimu gaffe.
Ssendi Mosh,kansala akikirira Makindye East ku nsonga eno yafundikide agamba nti Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ye muntu omutuffu abantu gwebalina okunenya kubya amataba agayingira mu bizimbe mwebakolera ne gatta abantu ne mmali yabwe kubanga yeyawa omugagga omuto Ham olukusa okuzimba ku mwala.Ono ensonga ye yagiwaniride ne bbaluwa eriko omukono gwa Pulezidenti Museveni nga esemba ekya omugagga omuto Ham okukulakulanya omwala.
KATA NE NUP BADDUKIDDE MU KKOOTI
Enkaata y’obukade e 10 Pulezidenti Museveni gyeyasubizsa okudukirirara abasubuuzi nayo,abamu bagirabye nga kubagyelega.
Kati bano nga basinzira mu kibiina ekibagata ekya KATA bayimbudde ttimu ya balooya abakambwe ne baduukira mu kkooti etuula ku kizimbe kya Twed okuwawabira KCCA n’omugagga omuto Ham nga bagala kooti ebakake basasule emmaali yabwe eyanononekedde mu mazzi.
Ate yo NUP mukoowe lyokwongera okwenazaako ekko ery’okubanga Bakansala bayo bebawa Ham olukusa okuzimba ku mwala,nabo basazewo okuloopa KCCA ne NEMA olwobutayimiriza omugagga Omuto Ham okuzimba ku mwala nga talina lukusa.Omusango guno gwakukulembwerwamu Kanso Muyizi Samuel n’omubaka wa Kampala Shamim Malende.
MUKWATE AKATONO KEBABAWA KUBANGA TEMUGYA KULWANA NA GAVUMENTI MU MALEEKO
Eby’okugulawo emisango ku gavumenti ne Ham Mohammed Nsereko,omubaka wa Kampala yabiyise kasasiro era nasaba abasubuuzi bakwate akatono gavumenti kegenda okubawa kubanga tebagya kulwana nayo bamaleko.
Nsereko yanyonyode nti okwetolora ensi yona tewali musango gwa bigwa bitaraze gyegwali guse gavumenti mu vvi kubanga;
1)ssi ye Katonda atonyesa enkuba
2)Kijja ku baberera kizibu nnyo okuleeta obujjulizi obukakasa nti amazzi agayingira mu maduuka gabwe gaava ku Ham okuzimba ku mwala nga ate bulijjo enkuba wetonnya amazzi gayingira mu bizimbe mwebakolera
3)Kijja ku baberera kizibu nnyo okukakasa nti emmali yabwe eyafude esuuka mu bukadde 10 obugenda okubayirirwa kubanga ezimu ku receipt kwebasasulira ebintu amazzi gazononye
EKY’OKUBIRI:Nti okubulawo kwa receipt kiba kigenda okukaka gavumenti okulagira URA egoberere engeri omusubuuzi eyakosedwa gyaze asasula omusolo.Wano waliwo akabate kubanga abasubuuzi abasinga tebasasuula musolo mu bulambulukuffu.
4)Omusango guyiza okusalibwa oluvanyuma lwe mmyaka 10 songa abasubuuzi kye basinga okwetaga ye kapito omutinitini bademu bakole.
Nsereko yafundikide awabula nti abasubuuzi webababa tebagala nkaata gavumenti gyeyabawade bagisabe ebintu 2;
EKISOOKA:Ebasasulire lenti okumala emmyezi nga 6
EKY’OKUBIRI:Ebakendereze ku misolo okumala omwaka nga gumu
Wabula Godfrey Katongole akulira KATA yatugambye nti mumpaba yabwe balaze obwetavu bw’omusango gwabwe okuwulirwa mubwangu kubanga singa kooti tekikola abasuubuzi bagya kuba boolekedde okudda mu kyalo olw’obulagajjavu bwa KCCA n’omugagga Ham.
Ono yafundikide agamba nti engeri kooti gyeziriwo okuwereza abantu,basubira nti okusaba kwabwe eja kusamu ekitiibwa
Wabula Frank Gashumba owa Sisimuka Uganda yasabye mu mbeera eno okwewala ebibiina bya basubuuzi byona ebigenda okugya mulinnya lyokubalwanirira kubanga ababikulira ekilubirirwa kyabwe kyakubaliramu ssi kubalwanirira.