Kituufu nti UEDCL mu kifo ky’ekitangala baali bategeza kizikiza?

BYA:OMULANGIRA DDEMBE YONAH

Hope Mirembe,omutuuze ku kyalo Kigombya ekisangibwa mu ggombolola ya Mukono TC mu Mukono Disitulikiti,mu nnaku eyoza lumonde natukula yatugambye nti ku lunaku UEDCL lwefuna obuvunanyizibwa bw’okudukanya amasanyalaze mu ggwanga naye lwafuna ssente za PDM.Okusobola okwegya mu bwavu yagulako akuuma k’emberenge naye okuva lweyakatuusa awaka,yakakozesako omulundi gumu nekatuula lwa UEDCL kusuka kubasalako masanyalaze.

Owa UEDCL nga ajako amasanyalaze

Obulumi bwa Mirembe ku UEDCL okugyako amasanyalaze ng’abaliko siponsa tebwawukana nnyo n’obwa banayuganda abalala era ng’ogyeko eky’okwogera obutonotono mu bitundu gyebawangalira,bangi mu busungu bekute obutambi ne babuteeka ku Tiktok nga bemulungya eranga bwebebuuza obanga mu kifo kyekitangala UEDCL yali etegeza kizikiza oluusi nebatuuka n’okujulirira UMEME.

Ekibanja kino “ekiterya ntama” bwekyatukiride Ruth Nankabirwa,Minisita wa Masanyalaze n’eby’obugagga eby’omutaka okumutuuza mu bigambo yatugambye amasanyalaze okuvavako kiva ku kuba nti;

EKISOOKA:Bali mu kulongoosa bintu ebitambuzibwako obuwereza nga genereta za sub stations, tulansifooma,ebikondo ne waaya zakwo.

Enongosereza zino ziri mu giiya nnene kubanga UMEME olw’okubanga bali bamanyi bagenda,mu mmyaka esatu ejasembeyayo mirimu bagikolanga mungeri yagadiibe ngalye webatakolanga nongosereza ku mikutu gino kyoka nga ennyonta yamasanyalaze ekulira ku bitundu 10% buli mwaka.

Mu kwongera okunyikiza ensonga eno Nankabirwa yagambye nti omuntu agwanye yebuuze nti mu mwaka bantu bameka abeyunga ku masanyalaze ku kyalo kye.Katugeze abantu 5O.Kati singa tulansifooma y’okukyalo eba ya 500 KVA mu mmyaka 3 kiba kitegeza nti abantu 150 bebaba bagyeyunzeko.Abantu bano ababa beyunze ku tulansifooma eno nabo bebasangako buli omu abalina kyakozesa amasanyalaze eky’enjawulo ekitegeza nti tulansifooma obuzito buba bugyeyongede kyoka nga yo tekyuuse.Kino bwekyegatibwako obutagikola saviisi oba ebyuuma ebiba bigifudemu obutakanikibwa,enamusa etuuka kunyooge.

Minisita Nankabirwa

So mu buufu bw’okulongosa ekibi kino ekisikire,Nankabirwa yafundikide akinoganya nga amasanyalaze bwegaba galina okugibwako kubanga tekisoboka okugatereza nga kwegali.

EKY’OKUBIRI: Okwonoona n’okubba ebyuuma by’amasanyalaze naddala oyiro akozesebwa mu tulansifooma.

Ebitundu ebisinze okukosebwa omuze guno kuliko;Kololo,Mukono,Kayunga,Masaka,Mubende ne Mbarara 

Abantu abenyigira mu muze guno Nankabirwa yabasabye balokoke kubanga bwebanakwatibwa bakuvunanibwa gwa butujju.

EBITUKIDWAKO

Nankabirwa yayogeza buvumu nti babade tebatude mu kulongoosa ebintu ebitambuzibwako amasanyalaze mu ggwanga mu mmyezi omukaaga gyebamaze era okutukakasa kino yatuweredeko ebyokurabirako okugeza

1)Balongooseza sub station okuli eye

  • Kakiri. Eno baagirinyisa amaanyi okuva ku 10MW okutuuka ku 20MW
  • Kabale. Eno amaanyi gayo bagakubisamu emirundi 2 okuva ku 2.5MW okutuuka ku 5MW
  • Masaka Central. Eno baagirinyisa amaanyi okuva ku 5MW okutuuka ku 7MW

2)Bakakyusa tulansifooma 206 era mu mu maaso  awo basubira okukyuusa endala 518

3)Badabiriza sub station 9 era  ne bazimba ne mpya 2 e Magigye ne Kawempe

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *