Minisita Mayanja wetondere e Kanisa mu bwangu nga Katonda tanaba kuteekako mukono gwe ogw’ekyuuma

Kirangira,Mukono.

BYA:OMULANGIRA DDEMBE YONAH

Nti naye Katonda w’abanaku akola,ddala Katonda w’abanaku,ye gwe ataleka banaku, Mukama…

Oluyimba lwa Pasita Wilson Bugembe olwo lwe lumu ku nnyimba ezayimbidwa Abakulisitaayo be Kanisa ya St.Luke,Kirangira Town Church esangibwa mu Busumba bwe Ddandira mubu Sabadikoni bwe Nassuuti obuli wansi w’obulabirizi bw’e Mukono mu kutendereza Omukama oluvanyuma lw’okusomerwa ensala y’Omulamuzi Nassozi Rehema Ssebbowa eyalaze nti ettaka okutude e Kanisa eno lyayo bwoya.

Ekanisa ya St.Luke,Kirangira

Okusika omuguwa ku ttaka lye Kanisa eno kwatandiika mu 2022 ffamire Sserwanga Lwanga bweyavayo nelumiriza ng’ettaka okutude e Kanisa bweliri eryayo ekintu ekyatabula ennyo endiga.

Bano begatibwako Godfrey Kasago alumiriza ffamire ya Sserwanga Lwanga okumuguza ekibanja mukiffo kyekimu ewatude e Kanisa eno.

Bano okumanya bali bamaliride nnyo okubba ettaka lye nnyumba ya Mukama,bwebadukira ewa kamisoona waba RDC owa Buganda Frederick Mbagadhi okubayamba,baasiga e Kanisa ebitoomi ebitagambika bwe bagamba nti Omusumba w’e Kanisa eno Rogers Kityo yali aleese guleeda n’emenya ennyumba zabwe kwo n’okwonona ebirime byabwe

Kasongo yayongera yalumiriza nti abasirikaale ba kkampuni y’ebyokwerinda ey’obwananyini Omusumba Kityo beyali apangisiza okukuuma ettaka lino bwe baali bagufude omugano okubakuba okukirako eky’okutale nga bagezako okugenda mu nimiro zaabwe.

Mbagadhi mu kunyolwa yawandikira Sam Mayanja,Minisita Omubeezi owby’ettaka nga 9,09/2023 ng’amusaba ayingire mu nsonga zino ng’ekizimba tekinasamba ddagala.

Mu 05.2024 Minisita Mayanja yatuuka ku ttaka lino naye ekyembi yasala ogwakawala nga tasoose kuwuliriza gwa kalenzi bweyalagira ekanisa emenyebwe olw’okwesenza ku ttaka mu bukyaamu

Ebigambo bino byasikuula endiga z’e Kanisa eno n’Abakulisitaayo be Kanisa ya Uganda ebuna wona emeeme.

Mu kusaba kw’okussa emikono ku Bakulisitaayo abasobye mu 50 okwakulembedwamu Bisopu omuwumuze Paul Luzinda mu Kanisa eno,Samuel Ssebaduka avunanyizibwa ku by’ettakka n’enkulakulana mweyasinzide okusomera endiga ezabadewo ensala ya kkooti ku musango ogwali gwalopebwa ffamire ya Sserwanga Lwanga ogw’okuba banannyini ttaka okutudde e Kanisa eno.

Munamateka Ssebaduka

Ono yanyonyola nga kkooti Omulamuzi Sssebowa bweyagobye omusango guno era n’elagira ffamire ya Sserwanga Lwanga okuliyirira e Kanisa ssente zonna zetadde mu musango guno oluvanyuma lw’okukizuula nti ettaka lya Kanisa kubanga lyagiwebwa omugenzi Israel D.KBanoba.

Ssebaduka yafundikide akakasa nga kati obwanga bwe babutunuliza puloseesi y’okugoba ku kyapa kye kanisa eno.

Bakira bino Ssebaduka abyogera ng’esanyu lijjula okutta endiga ezabadewo era bakoloobeza ennyimba ez’enjawulo okwebaza omutonzi olw’obuwanguzi buno

Wano Omusumba Kityo weyasinzide okuwa Minisita Mayanja amagezi agokwetondera Ekanisa olw’okutatana ekitibwa kyayo nga Katonda tanaba kumutekako mukono gwe ogwekyuuma ng’amubonereza.

Ono era Minisita Mayanja yamuwabude aleme kumala gogera n’okukola omulimu gwe mu butufu.

Kityo yafundiikide yebaza endiga ze olw’okulwanira awamu naye mu kutaasa ebintu bya Mukama n’abakakiiko ka State House Anti Corruption Unit akayingira amangu mu nsonga oluvannyuma lwa Minisita Mayanja okulagira e Kanisa eno emenyebwewo

Wabula ekibanja kino ekiterya ntama wekyatukiride Minisita Mayanja,kulukomo yeganye eby’okulangira ennyumba ya Mukama emenyebwe era natanya nti weyagenda okulambula ettaka lino yalagira buli kimu ekyali kikolebwako kiyimirire abantu kyebataputa obubbi nti yali alagide e Kanisa emenyebwe.

Okusaba kuno kwetabidwamu Ruth Banoba, namwandu wa Banoba eyawa e Kanisa ettaka lino, Dr.Daisy Ssonko  eyegwanyiza ekifo ky’Omubaka wa Mukono Munisipaali mu lukiiko, Ssabadinkoni we Seeta, Rev.Can.Edward Balamaze Kironde

Bisopu Luzinda nga ateeka emikono ku baana.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *