BYA:MUSASI WAFFE
KAMPALA
Tonny Ssekigudde,Ssentebbe w’ekisinde kya Yellow Checkers ekilondoola Manifesto ya NRM akunze Bannakampala n’abantu okuva mu bitundu ebirinanyewo okweyiwa mu kisaawe e Kololo okubugiriza Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni nga akomekereza kampeyini ze enkya.
Ono yatunokolede kubimu ebitukidwako ebirina okukumibwa omuli;
1)Okukuma emirembe n’obutebenkevu mu kibuuga.Nti embeera eno yeyavirako engombo egamba nti Kampala anyuma kiro kubanga abantu basuula bakyakala mpaka kejjenge.
2)Okulwanyisa obumenyi bwa mateeka.Buno okusinzira alipoota ya Police eya 2023-2024 bwakenddera okutuuka ku bitundu 4.1.Kino kyeyoleeka lwatu kubanga kati omuntu asobola okuva ewaka ne ssimu ye ate nadayo nayo ekitaliwo luli kubanga abasazi bensawo,abanyakuzi b’obussimu n’ebikoosi ebirala ebyamateeka byagwawo mu kibuuga.
Okusenvula kuno Ssekigude okusinga akusa ku nteekateeka ya Ghetto Structure ekulirwa Major Ddamulira Sserunjogi eyambye abavubuka ba Ghetto okukola SACCO mwebayise okwekulakulanya.
3)Kilo mitta z’engudo 646 zezakatekebwako kolaasi ekiyambye okukendeza ku jaamu mu Kampala
4)Esimbi obuwumbi 529 zezakasigibwa mu SACCO 10589 mu Kampala wansi wenteekateeka ya PDM n’ebirala bingi.
Kubikolwedwa bino Ssekigude wano weyasinzide okusaba banakibuuga okweyambisa engombo ya balunyanja egamba nti akuwa nawe gw’owa basime Pulezidenti Museveni nga bamuyira obululu obungi nga enkuba asobole okuwangula ekisanja eky’omusavu.
Ssekigude era yasabye bannakibuga okuba abengendera nga batikinga baasi okwewala obululu bwabwe okufa.Mungeri yeemu yalabudde abavubuka b’ebibiina bya oppozisooni naddala NUP obutentantala kwenyigira mubikolwa byakutabangula ggwanga mukiseera kino eky’okulonda kubanga amateeka gajja kubakolako nga wegalagira.