BYA:OMULANGIRA DDEMBE YONAH
Olw’okubanga okuva bwetwafuna obwetwaaze Uganda yali ewangaalira mu butabanguko;amangu ddala nga NRM ekutte enkasi y’okukulembera eggwanga lino oluvannyuma lw’okuwangula olutalo lwekiyekera, yabukana ne ddimu ery’okukomyawo enfuga ey’amateeka era wano webasinziira okubaga ssemateeka wa 1995 alimu akawayiro akagamba nti amaanyi gonna gali mu bantu era gano banageyambisa nga balonda abakulembeze bebakanyizaako mu kalulu akamazima n’obwenkanya.
Newankubade ekigendererwa mu kyo kyali kyakuteeka misanvu mu kubo ly’ebyabalwanya, waliwo obujulizi bungi nti oluvanyuma lw’emmyaka 40 nga NRM eri mu buyinza, ebyabalwanya nga vvulugu mu kulonda bwe byaddamu edda.

VVULUGU AZE ALABIKIRA MU KULONDA
1)OKULONDA KWA 1996:Kuno kwe kulonda gavumenti ya NRM kweyasokera ddala okutegeka. Newankubade Pulezidenti Museveni yali alabikanga akyali omuganzi mu bantu, Hajji Kibirige Mayanja omu kubaavuganya ku bwa Pulezidenti yatugambye nti okulonda okwo kwali kukirako geyeena okwokya.
Nti ISO yabaliisa akakanja ebitagambika okugeza buli lwe bazimbanga ebidaala okukuba kampeyini aba ISO bajanga ne babimenyawo. Kino bakikolanga bawoza order from above ate olulala nga babagamba nti wano we mugenda okukuba olukuŋŋaana ne Museveni wagenda okukuba olulwe enkya kyoka natajja.
Ono yagaseko nti mikwano gyabwe mingi na ddala abaali babavugirira babuzibwawo era mpaka nakati abamu amayitire gabwe tegamanyidwa ate bbo abateebwa, bagenda okubata nga babakubye agayiso agalimu obutwa ate abandi nga batulugunyidwa byansuso ekyanafuya embeeera y’obulamu bwabwe era bangi wayitawo akaseera katono nebatandiika okuffa omu kw’omu.
Kibirige yafundikide agamba nti ebyambyone ebyabakolebwako abantu tebabimanya kubanga mu kiseera ekyo leediyo ne ttivi zaali ntono ate nga zitambulira mu nkwawa za gavumenti ate nti ne soso mediya abantu gyebeyambisa nga ennaku zino okutuusa edoboozi lyabwe mu biseera ebyo yali tenajja.
2)OKULONDA KWA 2001: Mu kulonda okwo abakuuma ddembe baawamba entekateeka y’okulonda era enfunda nnyingi abantu abali mu byambalo bya maggye balabibwako nga batugumbula abantu babulijjo abaali tebawagira Pulezidenti Museveni. Amagye gano ebikwekweto byago gabikolera wansi wa opalesooni ya Kalangala Action Plan (KAP) eyakulirwa Major(Rtd)Kakooza Mutale.
Ebikolwa by’ekko ebyatusibwa ku bantu bwe byagenda ewala, Aziz Kasujja eyali ssentebbe w’akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga yawalirizibwa okuwandikira Pulezidenti Museveni nga amusaba akome ku basajja be.
Okulonda bwe kwagwa Palaamenti yatekawo akakiiko ak’enjawulo okunoonyereza ku vvulugu eyalabikira mu kulonda okwo. Mu alipoota yako, akakiiko kakaatiriza nga abamu ku b’agenti ba gavumenti okuli ba DISO, GISO n’abakuuma ddembe bwe bali basiwuuse empiisa ne bakakana ku bantu be balina okukuma n’ebyabwe ne babatulugunya mu kubo ly’okuwanguza omuntu wabwe Museveni. Mu kuggumiza ensonga eno akakiiko kawa n’ekyokulabirako eky’eggye erikuuma Pulezidenti eryali liyitibwa Presidential Guard Brigade(PGB) mu bissera ebyo bweryasirira amasasi mu bawagizi ba Dr.Kizza Besigye e Rukungiri okukakana ng’omu ku bawagizi be eyategerekeka nga Johnson Baronda atiddwa n’abalala ne babukawo ne bisago.
3)OKULONDA KWA 2006: Mu kulonda okwo Besigye yali yakada mu ggwanga okuva mu buwaŋanguse e South Africa okuvuganya ku bwa Pulezidenti ne Pulezidenti Museveni. Obunkenke bwali bw’amaanyi kubanga A) Twali twakamala okuva mu referendum y’okusala okuva mu movement system okudda mu multi-party system. B)Ssemateeka yali akwatidwamu okusobola okujawo ekomo kubisanja. So eri Pulezidenti Museveni okulonda kuno yali ngabo ey’okwongera okwekuumira mu buyinza kyoka nga mu maaso ga Dr.Besigye akaseera ako kekali akatuufu okukwata Pulezidenti Museveni amavumbavumba okumujja mu ntebbe gyeyali amazeemu emmyaka 20.
Mu kkowe ly’okulemesa Dr.Besigye okutuuka mu bantu okubanyikizamu enjiri ye ey’enkyukakyuuka, bamugulako omusango gw’okulya mu nsi olukwe n’ogwokutunuza omwana omuto mu mbuga ya sitaani era emirundi mingi abawagizi be baabateera emisanvu mu kubbo egyabalemesa ng’okutuuka mu bifo we balina okukuba enkuŋŋaana.
4)OKULONDA KWA 2011: Mu kulonda okwo ebitongole bye by’okwerinda byekobana ne Police okutulugunya abakulembeze b’oluda oluvuganya. Bano begatibwako akabinja ka Bodaboda 2010 akaali kakulirwa Abdallah Kitata era emirundi mingi balumbanga ab’oluda oluvuganya ne babakuba kiboko. Emivuyo mu kulonda nga okukyusakyuusa mu DR fomu, okugulirira abalonzi ne birala bingi kigambibwa nti byetobeka nnyo mu kulonda okwo.
5)OKULONDA KWA 2016: Ng’okulonda kuno kunateera okukuba koodi, eyali Sabapolice Kale Kayihura yalagira abavubuka obukade 11 okwetolora eggwanga lyona batendekebwe nga ba Crime Preventors. Newankubade akabinja kano mu bitongole ebikuuma ddembe ebiri mu mateeka tewali wekogerwako, ku lunaku olw’okukatongoza bagende batandiike okukola emirimu, Pulezidenti Museveni yeyali omugenyi omukulu era omuvubuka eyayogera ku lwa bane ku mukolo ogwo, yalayira nga bwe baali abamalirivu okuwereza Pulezidenti Museveni mu ngeri zona bweyategeza nti ne bwekiba kyetagisa kutta muntu, bali bajja kukikola. Akabinja kano kegatibwako obubinja obulala nga Poor Youth, Unemployed Brotherhood obwakolanga efujjo ku bantu mu kulonda nga bwambade T-saati za kyenvu nga ziriko n’ekiffananyi kya Pulezidenti Museveni.
6)OKULONDA KWA 2021: Ng’ebugumu lya kalulu likute wansi ne waggulu, Omuloodi Erias Lukwago yasinzira ku ttivi emu nayogera nga nabbi nti wano wetulaga tugenda kuffa era bwekityo bwe kyali abantu abateberezebwa okuba mu 100 bwebakubwa amasasi ab’ebyokwerinda abantu okwetolola eggwanga lyona bwebekalakasa mu kwoleka obutali bumativu bwabwe oluvanyuma lwa Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu okukwatibwa e Luuka nga bamulanga kumenya biragiro ebyatekebwawo okutangira okusasana kwa ssenyiga lumima mawugwe(covid 19)
Abantu abateberezebwa okuba mu 100 kigambibwa nti bebalugulamu obulamu mu kwekalakasa okwo ate abalala 500 kigambibwa nti bebakosebwa mu ngeri ezitali zimu ate abasuka mu 1000 kiteberezebwa nti bebagalirwa mu makkomera ag’enjawulo kyoka abantu abasoba mu 12 babuzibwawo nga n’okutuusa kati tebamanyidwako mayitire okusinzira ku NUP
NE MU KULONDA KUNO TUGENDA KUFFA?
Embeera kumulundi guno omuntu yandigisubide okukyukamu naye Omuloodi Lukwago nga yeyambisa galubindi ze ez’ebyobufuzi eziraba ewala, akinoganyiza nti engeri akalulu akategekebwa Mwami Museveni gyekaba ak‘okuffa n‘okuwona, abantu ne mu kulonda kuno bagenda kuffa bwe batabe begendereza nnyo.

Ono yegatidwako Sarah Birete, omulwanirizi w’eddembe ly’obuntu era omu ku balondoozi b’okulonda mu ggwanga eyatugambye nti okusinzira ku kampeyini ezakakubwa, enyanja essawa zino erabikanga enteefu naye ku nkomerero yazo ne ku lunaku lw‘okulonda, enyanja egya kutabanguka lwakuba obuzito bwayo tebujja kutuuka obw’obwaliwo mu 2021.
AKAKIIKO K’EBYOKULONDA KALUŊŊAMIZA
Julius Mucunguzi omwogezi w‘akakiiko k‘ebyokulonda aketengerede yatanyiza nti obuvunanyizibwa bw‘akakiiko bwa kutegeka kulonda okulina okuba okw‘amazima n’obwenkanya so si lutalo oba mivuyo. Nti vvulugu eyetobeka mu kulonda gyebuva ne gyebulaga ava ku bantu abeetaba mu kulonda okwo omuli banna byabufuzi, abawagizi, bannamawulire n’abakuuma ddembe era eno y‘ensonga lwaki tusaba buli muntu ssekinoomu akuume emirembe ng‘agoberera amateeka n’obukwakulizo nga bwe bulambikiddwa.
Ono yafundikidde akolokota nnyo abagamba nti okulonda kuno kugenda kuba kwa kuffa na kuwona bweyagambye nti ekyamazima omuntu oyo aba akozesezza olulimi olutali lwa buvunanyizibwa era aba agwaanye yetondere eggwanga.