Nkuba Kyeyo Aloja:Mukama Wange Yansindiika Nengwa Okuva Kukalina Yamyaliiro Esatu

BYA: OMULANGIRA DDEMBE YONAH

Mary Nsiimenta(emyaka 28) amaziga gamuyisemu ng’anyumya engeri gyeyasimatuka okuffa oluvanyuma lwa mukama we ku kyeyo e Saudi Arabia okumusindiika okuva kukalina yamyaliiro esatu.

Omugongo gwa Nsiimenta engeri gyegwali gufanamu oluvanyuma lwokulongosebwa

Ono okugenda kukyeyo yali alubirira kukysa kubulamu n’okufuna ssente z’okulabirira abaana ababbiri abasajja bebamuzaalamu ne babamulekera.

NSIIMENTA AGENDA ATYA KUKYEYO?

Henry Ntwaza yayunga Nsiimenta ku kampuni ya Impact Recruitment Uganda Agency Limited esangibwa e Wakaliga era mpandiise bulungi mu gavumenti ku license namba E23090015.

Nsiimenta olwali okutukiriza obukwakulizo ne byetago byona,nga 14,01/2022 yatikibwa kunyonyi eyamutwala e Saudi ku visa namba E273670274.Nga batuuse batwalibwa ku kampuni ya bawarabu emu esangibwa ku Western Wing mu kibuga Riyad. Kumakya baakeera kumutwala e Najran ewa mukama we Fixam Muhammed Said era mbagirawo yatandiika okupakasa.

Muntadiikwa Nsiimenta ebintu byasooka ne bitambula bulungi nga bweyabibala era ng’ojeko omusaala okulwa, Nsiimenta akinoganya nti mukama we n’abaana be abataano bali bamuyisiza ddala bulungi nga n’oluusi mukama we eyali amanyi n’okumugulira engooye no kumutonera obulabo obwamuwanga amaanyi okukola obutaweera wakati mukwagala.

EBINTU BIKYUKA

Mu masekati g’omwezi gwomukaaga,Nsiimenta mukama we yamujja ku wi-fi. Bweyamubuuza lwaki yamunyonyola nti puloosesi yokusenguka okuva mu nnyumba enkade okuda mu mpya(gyebalimu) yali emumazeko ssente nabwekityo kwekusalawo akendeze ku bintu nga wi-fi byeyali asasanyizako ennyo ssente ate nga sibya nsonga nnyo.

Nsiimenta yayongede natutegeza nti lumu aba ali mukwoza bintu mukiyungu,mukama we yamusaba essimu ye era okuva kwolwo yagana okudamu okugimuwa. Munaku ezadako yatandiika okumukyunga kyoka omwezi bwegwagwako namusaba amusasule omusala gwe, yanyiiga namukanyugira e giraasi nemwatikira ku kyenyi.

Nsiimenta yakatiriza nti okuva kwolwo mukama we teyadiriza kumuvuma na kumukuba nga waliwo n’olunaku lweyamusibira ku kitanda kye namukuba kibooko ng’omwana omuto. Okumanya mukama we yali mujjoozi nnyo,bweyakoowa yayita abaana be n’abalagira batandikire weyali akomye era okuva kwolwo nakatiibwa akatono abaana kebaali bamuwa bakakomyawo nebatandiika okumudumira ng’embwa.

BAMUKAKA OKULYA EMMERE ERIMU SABUNI

Nsiimenta agamba nti omwezi gw’omunana gugenda okutuuka ng’emmere n’ebikozesebwa awaka ng’amasanyalaze n’ebirala nga bwebigwawo, mukama we nga akinenyeza ye. Mukumubonereza yasooka kumuwera kulya kyagulo era namulagira n’obutadamu kwejulira mmere newankubade nga yeyali agifumba.

Akade kokujjula emmere bwekatuukanga, Nsiimenta nga ayita mukamawe ajule. Ono yeyongera omutima ogw’ekko bweyayiwanga sabuni ayoza ebintu oba asiimula mu mmere ya Nsiimenta ate namulagira agirye. Bweyemulugunyako mukama we yamwanukula kimu nti gwe wano oli muddu. Omuddu kunsi alina emirimu ebbiriri;okuweereza n’okusanyusa mukama we.

Olwokubanga yali amulabye mukamwa yamukwata ne mmere ye namusibira mukisenge natutegeza nga bweyali ow’okumugulira nga emmere agimaze ku sowani kubanga yali tamuwade yakuyiwa.

Olwokutasa obulamu ku lunaku olwokusatu Nsiimenta emmere eno yagilya nga n’okugagga egaze ne balyoka bamugulira

BATANDIKÀ OKUMUSIBIRA MU TOOYI

Nsiimenta yayongede natunyumiza nti mu mwezi gwe kisibo mukama we yakyazanga abagenyi bangi. Olwokumukanyugiranga ebintu mu face olutatade kyatuuka ekiseera nga face ye eba lungude nokuzimba.

Olwokukuuma ekitiibwa kye eri abagenyi, Nsiimenta mukama we yasalawo kumusibiranga mu tooyi

Eno mukama we jeyamuweranga ne mmere naye nga bagiyiyemu sabbuuni eyamuwulizanga omuliro mukifuuba buli weyamulyanga. Okusobola okufuna kubuwerero, yafundikira anywede amazzi g’omutooyi.

Akaseera katuuka nga Nsiimenta buli wakola ensobi,nga mukama we mukama we amusibira mu tooyi nga amuma ne mmere era olw’enjala yafundikira nga anywede amazzi g’omu tooyi!

BALOOPA KU KKAMPUNI

Nga bwebagamba nti ekumi teri kyawa omu, ewaka mukama we yalinawo muganda we eyali takiririza mu bikola ebya mukulu we eby’ekko.

Ono bwebaasibira nga Nsiimenta mu tooyi yamubiranga ku mmere oba ku juice w’akatunda omulungi nabimuwa.

Mubuffu obwo,lumu yamuwa ne ku ssimu ye gyeyakozesa okukwata obutambi bwa maloboozi nabuwereeza ssenga we nga bunyonyola embeera embi gyalimu.

Ssenga newankubade yatukirira kkampuni ya Impact Recruitment Uganda Agency Limited n’obutambi buno, besulirayo gwanagamba.

BATANDIIKÀ OKUMUSIBIRA EBWERU

Mukama wa Nsiimenta okumukyunga yakwongeramu ka sukaali bweyatandiika okumusibira ebweru mu myezi gy’amanyide ddala nti akasana kaba kangi. Okumanya akasana kano kaba kangi, omuntu aba asobola okukasikiramu eggi nerigya bulungi nnyo!Kyokka ate bwebuziba obunnyogovu bubeera bungi nnyo

Nsiimenta bweyemulugunya eri mukama we okumutulugunya ekyenkanidewo awo, yamudamu kimu nti wano oli muddu nakugula na ssente zange kyenjagala kyenkola.

ENGERI MUKAMA WE GYEYAMUSINDIKA OKUVA KU KALINA WAGGULU

Nsiimenta agamba nti mukama we yamusindiika okuva kalina ya myaliro esatu nga 01,04/2023.

Kw’olwo baali bamusibide ebweru okumala enaku 4 nga talya eranga tenywa kintu kyona eranga atandiise n’okukolola omusaayi.

Kyoka buli lweyamuguliranga,nga amusokeza mukwoza ebintu eby’ennaku esatu byebaali baliriridemu. Wano Nsiimenta naye yava mubuntu naatekawo embeera. Yagaana okukola ekintu kyona nga ayagala bamutwale ku police oba ku kkampuni yabawarabu eyamuleeta ewa Fixam.

Mubusungu Nsiimenta mukama we yadamu namusibira ebweru.

Okusinzira nti yali amaze ennaku nga talya ,yeyongera okunafuwa ennyo naye yasigala awulira. Mukama we bweyajja olw’egulo, yalowooza afudde. Mukutya yasalwo okumusindiika okuva waggulu kukalina naggwa wansi kifananane nga Nsiimenta eyabade ayagala okwetta.

Nsiimenta n’omuwala Omunakenya eyamujanjaba mu ddwaliro

Nsiimenta bweyaggwa, yagwa kumusenyu era yewalula mpola mu bulungi mpaka abantu webaali basobola okumulabira natandiika okubasaba obuyambi oba bamuyitire police. Omu kubalinanwa yawulira omulanga gwe. Ono yakubira police eyajja ne bamutwala mu ddwaliro lya King Khalid International Hospital okufuna obujanjabi.

Mu ddwaliro yamalayo emmyezi 9 nga ajanjabwa naye nga ali kumpingu. Nga akubye kumatu abasawo mu ddwaliro bebamuwa essimu zaabwe nakubira abantu bbe nasobola okwogerako nabo era nabanyonyola byona.

Abeŋŋanda za Nsiimenta newankubade besitula enfunda nnyingi ne bagenda ku Impact Recruitment Uganda Agency Limited,bano besulirayo gwa nagamba. Emmyaka 2 gyeyalina okukola e Saudi bwegyagwako, gavumenti ye Saudi yasalawo okumudepotinga.

EMBEERA Y’OBULAMU BWA NSIIMENTA NGA BWEYIMIRIDE KATI

Nsiimenta agamba nti ku 100 alinga eyawona ebitundu 60% naye akyalumizibwa mu mugongo singa atuula nnyo era asiba mu pampa nga mwana muto kubanga takyasobola kusiba musulo. Mubuffu obwo singa afuna embiro zimuyitamu buyisi.

Newankubade atambula, takyasobola kuyimirira kiseera kiwanvu.

NSIIMENTA AYINZA OBUTADAMU KUZAALA.

Nsiimenta agamba ekisinga okumuluma kwekubanga tagenda kudamu kuzaala. Ono newankubade ebitundu bye eby’omunda ng’ekibumba, ensigo, obwongo n’ebirala tebyakosebwa kiggwo, eranga bwebamulongoosa mpawo kintu nakimu kyebamujamu, abasawo bamukakasa yali asobola okufuna olubuto naye eby’okusindiika omwana yali tajja kumalako nabyo ekitegeza nti yali aja kuba wakulongosa naye nti babeera balina okumukuba Kalifoomu mungi ayinza nokumuvirako okuyitirayo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *