
Al Hajji Kigongo nga atagogoza ekiffananyi kyebagenda okukozesa mu kalulu
BYA:OMULANGIRA DDEMBE YONAH
Kyadondo,Kampala
Ekibiina kya NRM kyongode okwongera okulaga nga bwekitalina ntekateeka yakuva mu buyinza nkya bwekyatongoza ekifaananyi ekigenda okukozesebwa kandideeti waakyo Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu kalulu

Kino kyagyeyo bulungi nnyo amakulu ga kayimba ka Bobi Wine akagamba nti naye nze wendi, Mukama yampa, ab’ennugu bangi, naye sifaayo, alooo…!
Omukolo guno amata obuta gwayiidide ku kitebbe kye kibiina kino ekisangibwa ku Polooti 13,Kyadondo mu Kampala era gwetabidwako bassentebbe be kibiina okuva ku disitulikiti ez’enjawulo ne bamemba ba NEC ne CEC
Al Hajji Moses Kigongo, omumyuuka wa Ssentebbe wa NRM asooka eranga yeyabade omugenyi omukulu ku mukolo guno, mukwogera kwe eri abakulembeze abaze okujulirila omukolo guno, yategezeza nga bwebaagala kandideeti waabwe akalulu k’omulundi guno akawuute buva mu ngeri etabangawo mu byafaayo bya Uganda.
Misooni eno bweba yakuguka, Kigongo yakigumiza nti omulimu ogusinga gulina kukolebwa bassentebe bano nga kyebaavude babayita babewo ku mukolo guno. Mubuufu bwe bumu, Kigongo yasabye bassentebbe bano;
1)okubeera ne mpiisa,
2)okuwanŋŋana ekitiibwa,
3)okukolera awamu
4)Okusonyiwagana nga basowaganyeemu
Kigongo yayongede nawabula bassentebbe okukozesa olulimi oluperereza obulungi abalonzi nga basooka na kubanyonyola NRM byekooze bamale babakubire tooki ku wa gyegenda okutwala eggwanga basinziire awo okuyiira kandideeti waabwe Museveni obululu obungi ng’enkuba aba oppozisoni babulwe ekyekwaaso kwe banasinziira okumutwala mu mbuga za mateeka ng’akalulu kawede okuloopa mbu yababbye.
Ku mukulo gwegumu baatongolezako n’omulamwa kwe bagenda okutambuliza akalulu kano. Omulamwa guno gugamba nti okunyweeza ebitukidwaako nga bwetulubirira okutuuka awo ensi eziri yadeyadeko weziri.
Richard Twodwong, Sabawandiisi w’ekibiina mu kutongoza omulamwa guno yakakasiza nga mu Uganda bwemutali yadde etondo lye kibiina ky’ebyobufuuzi ekigezaako okugoba NRM.
Ono mu bigambo byatalumyemu yagambye nti waliwo ebintu by’ojja okulaba ku NRM ng’omaze okukakana newekeneenya oppozisoni enkongozi. Okugeza; mu kamyuufu ke kibiina akaakagwa, NRM yasobode okuvaamu abakulembeze obukade 2.5 okwetolola eggwanga lyonna, era nti ng’ogyeeko NRM, tewali kibiina kyabyabufuzi mu Uganda wano kisobola kuvugirira bakandideeti baakyo okuviira ddala ku kyalo okutuuka ku ntebbe esinga obunene mu ggwanga eya Pulezidenti.
Bakira bino Twodwong abyogera nga abamu kubavubuka ababade ku mukolo guno basaakanya nti ebyo byebiruma abayaaye abandi nti kuba mpola taata. Olwo abalala nti wamma yuza yuza Salongo, oba sobola Salongo!
Twodwong yeeyongede okukona ab’oppozisoni ewaluma bwe yakaatiriza nti eby’okulabirako bye ebyo byoka bwebimala obumazi okulaga nga mu Uganda NRM bwetalina yadde kibiina kyabyabufuzi kyevuganya nakyo era neyeyama nga bwebali abeteefuteefu okubisomesa enkola z’obukulembeze entuufu y’ebintu.
Wabula Ibrahim Sssemujju Nganda, omubaka wa Kira Municipality, Twodwong yamwambalide nti NRM kyekola kyenkana n’omudusi asooka naasiba bavuganya nabo emikono n’amagulu n’amala nafubutuuka nnyo okukira akaweewo n’awangula. Olumala abasazi beyelondera ye kennyini ne bamulangirira wakati munduulu ey’olulekeleke okuva mu bantu beyasombye mu baasi nti awangude. Akitegedde akubire Mukama engalo ez’amaanyi…!
ABANTU AB’ENJAWULO KYEBAYOGEDE KU MULAMWA GUNO
Tuhaise Prosper, Ssentebbe wa NRM e Mbarara eranga ye mutandisi wa kkampuni ya Bunga Bet yatugambye nti omuntu anagaggawala, asooka na kummanya bintu byalina nasinziira awo okunoonya obugagga obulala bwayayaanira.

Ssentebbe Tuhaise
Nabwekityo NRM okusooka okuteeka essira ku bitukidwako nga bwegoba ekinene eky’okutukira ddala mu mawanga agali yadde yaddeko, kikulu nnyo.
Samuel Buchanan, Ssentebbe wa NRM mu Luweero disitulikiti ye yatugambye nti omulamwa gw’omulundi guno gutuukira bulungi nnyo ku Pulogulaamu za Gavumenti ng’emyooga, Bonna bagaggawale,Entadiikwa, PDM n’endala nnyingi eziyambyeko ennyo okujja abantu mu bwaavu.

Ekitegeeza nti buli munayuganda Pulezidenti Museveni gwayaambyeko okuzimba omusingi gw’okulwanyisa obwaavu, ebbanja abalina limu lyakumwongera kalulu asobole okukuuma obugagga obutono bwazimbye n’okubwongerako.
Joseph Mukasa Ssewava, omu kubavuganya ku kiffo ky’omumyuuka wa Sssentebbe wa NRM owa Buganda yatutegezeza nti omulamwa ogwalondebwa okusobola okutukirira, Pulezidenti Museveni agwaana okubanga yetoolodwa abavubuuka nga ye abamanyi ebintu byenyini ebiruma omuntu wa bulijo ate nga na bakkozi.

Wano weyasinzide nasaba bassentebbe bano okumulabiranga ddala ku lunnaku lwa ttabamiruka w’ekibiina agenda okuyindira e Kololo ku nkomerero y’omwezi guno.