Gomba.

Katunsha Benard,Ssentebe w’ekyalo Kalusiina ekisangibwa mu mulukka gwe Kyabagamba mu ggombolola ye Maddu mu disitulikiti ye Gomba atukakasiza nga bweyaduuse ne sitampu ye kyalo mu buwaŋŋanguse e Mubende mukutya okuttibwa amagye ga NFA agali mu kukuuma ekibira kye Nsowe ne Kalombi

Olutaro lwa amagye ga NFA olw’okugoba Abalaalo abesenza ku 8933 hectres(sikweeya mailo 19) ez’ettaka lye bibira bino lweyongede okukaluba bwekyagambidwa nti mubikwekweto abantu okuli Yusuf Musoke, Emmanuel Baguma n’abalala 3 baluguzemu obulamu ate abalala bangi bagenze bapokya na bisago kwosa ne nte zaabwe okuwoyebwa,amayumba gaabwe okumenyebwa n’okubononera ensuku.
KATI TUSULA KU TEBUUKYE
Pasita Bwooya Francis(emyaka 56) omu ku batuuze enaku zino yebasaako eriiso limu olw’okutya okulumbibwa amagye agalina okubakuuma. Ono yalumiriza abasirikale ba NFA okumutisatisa nga bwebagenda okumwokyera mu nnyumba ye singa tayabulira ttaka lye kibira kye Nsowe mu bwangu. Okulabula kuno Bwooya teyakunyooma kubanga mu masekaati g’omwezi oguwede amagye nga gawerekerwako abasajja be bijambiya baamusalako ng’enjogera y’ennaku zino mukiro, ng’enduulu eyasombola ab’okumpi n’ewala yeyamutasa
Bwooya yanyumiza nti bweyali yakamala okusaba ku ssawa 09 ez’ekiro yawulira abantu abali basaalimbira mu lugya lwe. Bweyalingiza mu ddinisa yalaba abantu abaali bambade ebyambalo by’amagye nga bataano nga bawerekedwako abantu abalala abali mu ngooye eza bulijjo nga bakute amajambiya. Wano omu kubo yamuyita erinnya lye mudoboozi ery’obukambwe era namulagira afulume ennyumba ye nga tebanamenya luggi.
Mukyata okutagambika Bwooya yakwata akasaale ke nasooba ng’agenda mu kisenge ky’abaana be naye agenda okuwulira nga abasajja batandiise okukona oluggi kyebava batandiika okukuba endululu eyazukusa balirwanwa ekyawaliriza abalumbaganyi okudukira mu lusuku oluliranye amaka ge.
Bwooya n’abatuuze enviri zabava ku mitwe, abakuuma ddembe abagya okubadukirira kumakya we batuukira mukwagala okubakuba amasasi mu kiffo ky’okusooka okubabuuza ogubade. Efujjo lino abasirikaale bano baalikomya bwebalabawo banamawulire.

NZE ABA NFA BAANSOBYAKO!
Allen Kyomugisha; omutuuze ku kyalo Kabalaka Mugole eranga nakyo kisangibwa mu muluuka gwe Kyabagamaba mu ggombolola ye Maddu yatutegezeza nga omutima ogwekko amagye ga NFA bwegagwenkanya ne eggye lya Sabayekeera Joseph Kony abasirikaale bago 2 bwe bamukaka okunyumya nabo akaboozi k’ekikulu.
Kyomugisha nga maziga bwegamukulukuta yanyumiza nti ekikolwa kino ekikyasinze okuwebuula ekitonde ekikyala bwe kyamutusibwako mu 2022. Nti kw’olwo yali ava mu lukiiko olwokwongera okusala empenda z’okumalawo enkayana ze ttaka lyabwe ne NFA. Olukiiko luno lwakubirizibwa Brigadier Flavia Byekwaso era lwali lwa bugumu nnyo.
Kyomugisha aba yeebase mukiro, yawulira ng’ente zaabwe zikaaba nnyo. Engeri gyeyali asuze mu “legging”, yesiba ka leesu agende ebweru alabe ogubade. Ng’atuuse mu ddiiro, yabutikibwa entiisa bwe yalaba nga oluggi lwe nnyumba yaabwe nga lugule. Aba akyeyongera okwetegereza embeera, abasajja babiri baatebereza okuba abamagye kubanga bali mubyambalo ebifanana yunifomu yaago besogga enyumba yabwe.Omu yamuda emabega nazingira emikono gye emabega. Omulala yamukwata ku mumwa namutega engwala nagwa wansi nayuza ka leegingi keyalimu namwekakatikako. Ono bweyamala ne mune yajja nakola atyo! Bakalitima bano Kyomugisha bamukozesanga bamugamba nti kakazi gwe oyogera nnyo, kati katulabe oba nakino onakyogera.
Olw’okuba abasajja bano abanaaba ensonyi mukumukozesa amaanyi bakozesa mangi, Kyomugisha agamba nti yakosebwa amagumba g’ebitundu byekyama era kati alumizibwa nnyo nga asitamye okweyamba.
Kyomugisha yafundikide agamba nti ekisinga okumuluma kwekuba nga negyebuli kati tafunanga bwenkanya nga bweyagenda ku Police y’e Kigezi okwekubira endulu, OC yada mu kubalatira mu nsonga.
E GOMBA AMAGYE GAAKOLAYO N’EKKOMERA LYE NTE
Kasiima ono nga naye mutuuze e Kalusiina yalumiriza amagye NFA okukwatanga ente zaabwe kutale n’okuva mu maka gaabwe ne bazisibira mu kkomera mu Luggo nga nnyini zo bw’ajja okuzinunula alina kusooka kuwa ngasi eri wakati w’emitwalo 200 ku 300. Mumbeera eno ente ze banditunze ne bafuna ka “fees” ka baana baabwe ziffa ekiziyiro olw’omugoteko ne njala.
Ono mukunyorwa yagaseko nti munsi yonna, ekkomera lye nte lirabika liri Gomba woka kubanga munkola entuffu ente bwesalimba oba n’emenya amateeka mu ngeri emu oba endala, nnyini yo bw’ajja ne bakakasa nti yiye, aliwa oba nasibwa ente yo n’eteebwa naye e Gomba enkola eri kubikukuju.
Kasiima era yewunya nekya magye okuba nga gegakola omulimu gwa Police ogw’okukwata abantu. Kasiima era yakomerede nnyo amagye ga NFA olw’okubawambangako enimiro zaabwe ne gatunda ne birime byabwe kumusiri kubeeyi layiisi kyoka ne batabawa yadde olwataano.
Abatuuze betwayogede nabo ekya magye agalina okubakuuma okwefulira mukitti ng’embazzi ne gatandika okubayiga nga abayekeera mu bibiira bakinoganyiza nti gakikolera ku wooda za John Kibuuka, Sector Manager wa NFA e Gomba. Wabula kino Kibuuka takikola mubuntu,alina musajja we Obid gw’atuma n’amukolera emirimu gye gyona emikyaffu omuli okuleeta tulakiita eziyiwa ettaka mu nzizzi zaabwe n’okuba sendera enimiro zaabwe n’amayumba nga bamaze okuguza abagagga ettaka lyabwe. Abatuuze bano baayongede ne batukuba akaama nti Obid ebiragiro bya mukamawe abitekesa mu nkola nga yeeyambisa bakifeesi okuva e Congo era efujjo lyabwe lyonna balikola nga bakuumibwa magye. Nti okumanya Obid amaanyi gamuwaga, oluusi amanyi n’okubakudalira nti bwebaba bakuba akabonero k’omusalaba, balina kugamba nti mulinnya lya Pulezidenti Museveni n’erya bakama be, nerirye, amiina kubanga ye Katonda wa kusatu!
Abatuuze bano, Kibuuka bafundikide bamuteeka ku minzani nti bw’aba yewakana nti siyakozesa Obid, lwaki efujjo ali bakolako akuumibwa magye gaddumira era lwaki emirundi gyebaze bamwemulugunyako mu office ye temukwatanga ekitegeza nti byakola abiwagira.

DDIRU Y’OKUTUNZA ABANENE ETTAKA LYE BIBIIRA BINO YALUKIBWA ETYA?
Okusinzira ku alipoota eyakoledwa aba ISO ekibanja kino gyekyalabyeko, ennyonyola nti ddiru y’okutunda ekibiira kye Nsowe ne Kalombi yafumbibwa Nayebare Kyamuzigitta mu kiseera weyaberera RDC w’eGomba. Olw’obugazi bwa ddiru eno,Nayebaale yamanya nti talina kulya yekka era bwatyo yatukirira Ssentebbe wa Disitulikiti eno (Rtd Lt)Godfrey Kiviiri n’agimuliramu. Kiviiri newankubade obusava bwa ddiru yali abulaba bulungi, yasooka kugitya kubanga yali akyayagala okudamu okwesimbawo naye Nayebare yamugumya nti yali talina wagenda kulabikira kubanga baali bagenda kweyambisa entekateeka ya NFA ey’okudamu okupiima ensalo z’ebibira bino okugobamu Abalalo bano luberera bamale banoonye abagagga balibaguze mulinnya oly’okukulakulanya ebibira.
Mubufunze pulaani ya Nayebare yali envuza NFA ssi bukulembeze bwa disitulikiti Kiviiri mwagwa. Erudda pulaani eno Kiviiri yali emukolera na nnyo kubanga yali egenda kumuyamba okwefuula alwanirira abalaalo bano songa “ndyanabo”
Era kikulu nnyo okujjukira nti mu kiseera ekyo NFA yali emaze okutegeeza Abalaalo bano nga bweyali tegenda kudamu okuwa oba okuza obujja “permit” ezaali zibakiriza okulundira ente zaabwe mu bibira bino kubanga mubo mwalimu abaali besenzeza ku ttaka lyebibira bino nga nabwekityo kyaali kikulu nnyo okudamu okulipima. Ebanga entekateeka eno lyeyali egenda okutwala teryaweebwa.
Kiviiri ng’amaze okukakasa nti mu kooti y’abantu engalo ze zijja kuba nnyonjo, ddiru yagyesoga bulamba naye okusobola okugigusa obulungi, bayiita buli atuula ku kakiiko ka disitulikiti aka security okumunyonyola ddiru eno ebaluka. Olukiiko lwe lumu lweetabwamu eyali Sector Manager Jonan Mugisha, Kennedy Awula eyali akulira eby’ettaka mu disitulikiti, Benjamin Kamukama, Range Manager w’ebibiira bino n’eyaali sipiika wa disitulikiti Olivia Nankunda.
Bakanya nti NFA “permit” yali yakudamu okuzigaba naye nga ezigabira bbo bebayitta ba yinvesita era buli yiika y’ettaka bali bakugitunda obukadde 3.
Olw’okubanga ddiru eno yali ezimbidwa ku musingi omugumu, Kyamuzigitta ne Mugisha ne bwebaakyusibwa yasigala egenda mu maaso era bweyakwatayo emigabo gyabwe baagifuna bulungi.
ENGERI ABANENE GYEBAZE BEEGABANYA ETTAKA LYE BIBIIRA BINO
Abatuuze betwayogedeko nabo baatukakasiza nti bw’otuuka awaali ebibiira bino ne bakunyumiza nti byaaliwoko oyinza n’okusibawo omutwe gwo ng’obawakanya kubanga tewakyaliwo kantu kona akalaga nti byaali bibadewoko. Abanene abeegabanya ettaka lye bibiira bino basuka mu 25 era balimu emiteeko esatu;
A)BANANYINI KINTU;Wano babeera bogeera ku bantu abaluuka olukwe olw’okutunda ettaka lye bibiira bino okuli; Kyamuzigitta n’eyali omumyuka we Mugenyi, Ssentebe Kiviiri, Sipiika Nankunda, Sector Manager Mugisha, ow’ebyettaka Awuula, Range Manager Kamukama, DISO Kanywanyi,DPC ne OC n’abalala. Nga bwebagamba nti omugabi teyeseera, kigambibwa nti bano beegabanya yiika 200 buli omu, wabula abamu baazitunda okugeza ssentebbe Kiviiri aze aguza omugagga Joseph Kiyimba era kati asigaza yiika 77.
Mw’abo abatuuze basinga kwevuma Mugisha kubanga yeyasinga okukozesa eryanyi erisukiride nga abasenda ku ttaka. Nti lumu ya bakudalira bwati ‘mpulira nti mumwe waliwo abatekateeka okutuloopa ewa Pulezidenti naye njagala okubakakasa nti talina kyajja kukola kubanga lino ettaka sirirye, lya gavumenti. Mwe abaagala Pulezidenti abawe ettaka mugende abawe kulye yasikira okuva ku kitaawe ndaba nalyo ddene mu zimbeko mpaka ku ggulu’

B)BAYUDA; Wano abatuuze babeera bategeza abantu abalina ekigendererwa eky’okubalwanirako bafune obwenkanya kyoka ne bafundikira nga babalidemu olukwe okufuuka Bandyanabo okuli;
1)Robbinah Rwakojjo. Ono abatuuze baamulopeera ensonga zaabwe ng’omubaka waabwe naye olwali okumuteeka omugatti mukamwa gwa yiika 200 teyadamu kubalwanirira. Kati kigambibwa nti ku ttaka lino, Omubaka Rwakojjo ne bba baweza sikweeya mailo emu ne yiika ezigwamu.
2)Yiga Kissakyamukama: Muyambi wa Pulezidenti kubyempereza mu ggwanga(service delivery). Ono yajja n’amaanyi naye olwali okumuzizika yiika 28 nalooza ku buwoomi bwe ttaka yatandiika okulinya mukya wakaati. Ono yasirikira ddala bwe baamwongera yiika 62.
C)ABAGAGGA ABAGULA;1)Joseph Kiyimba;Ono ye nanyini ma bbaala ga Club Ambiance ne kkampuni ensogozi eya Ambiance Waragi. Kigambibwa nti ono alina sikweeya mailo 7 era kikirizibwa nti kati ye landiloodi asinga ettaka. Kiyimba erimu ku ttaka lye baamuguza lyali lya mugenzi Genero Aronda Nyakayirima.

2)(Rtd)Emmanuel Rwashande; Ali mukwegwanyiza kiffo ky’omubaka wa Lwemiyaga ewali Theodore Ssekikuubo. Baatutegezeza nti alina oluganda ku Kyamuzigitta era y’omu ku beyasooka okuperereza okugula ttaka lye bibiira bino. Kikirizibwa nti mu balandiloodi Rwashande akwata kyakubiri ne sikweeya mailo 3 era ku ttaka lye alundirako ente ze n’okulimirako kasooli.
David Bambase omu ku bananyini bibanja Rwashande byebaamuguza amuwanda lulusu lwa kumuwambira ddamu ye. Ono agamba nti okumanya Rwashande yamujooga, yamulagira asooke agule genereta emusikirenga amazzi mu lupiira. Abagagga abalala kuliko Pulofeesa Mondo Kagonyera, Col.Mugisha, Col.Byaruhanga, Asaba Hannington, Omubaka Sylvia Nayebaale, Aja Baryayanga, Omubaka Grace Ngabirano n’abalala bangi.
NANGE BAGALA KUNZITA
Frank Sserubiri omummyuka wa RDC e Gomba yatugambye nti olutalo lw’okununula ettaka lya Balaalo bano bwelulina okulembererwa Pulezidenti Museveni kenyini kuba bonna abali mu kutigomya abantu bali mu office n’amagye byavunanyizibwako obuterevu. Ono yatukakasiza nga naye bwe yawandiikide Pulezidenti alipoota enkwambwe erumiriza abamu ku bantu betuwandiiseko waggulu okunyaga ettaka lya banaku era yalaze okutya nti olw’alipoota eno abanene abali mu bubbi bwe ttaka lino atenga bakola ne State House bayinza okugiremesa okutuuka ewa Pulezidenti nebamupangira n’olukwe olumutta mukwesasuza.