BYA:MUSASI WAFFE
Kira,Wakiso
Oooh!!!Ensamba ggere ne ebikonde ebyannyose ku siteegi y’e Mbale esangibwa e Kireka mu Munisipaali y’e Kira wakati wa baddereeva abali mu kiwayi kya Godfrey Banada nekya Abdul Mukasa tebimanyi byali mu lulwaana lwa Nagy na Golola.
Bano okufuula siteegi eddwaniro kyaddirira abe kiwayi kya Banada okulumba ekiwayi kya Mukasa ekyegatira mu kibiina kya Kireka Twezimbe Drivers and Conductors Association n’ekigendererwa ky’okwagala okubawamba siteegi yabwe,ekintu kyebabade batasobola kuguminkiriza wadde esekonda.

OLUTARO LWATANDIISE LUTYA?
Olutalo luno lwatandiise ku ssaawa 05 ez’oku makya abe kiwayi kya Banada webasazeeko siteegi nga bagala okutikirawo wabula baddereeva be kiwayi kya Mukasa ne babagoba nga bagamba nti si ba memba ba siteegi yabwe.
Abe kiwayi kya Banada bagenze mu maaso n’okuwaakuula olutaro ku bwereere webatandiise okuwamba emmotoka za bannabwe ezabade ziri mukutiika abasaabaze.Ejogo lino na kamanyiro abe kiwayi kya Mukasa babade tebasobola ku biguminkiriza era okukakana nga baddereeva ku njuyi zombi bekutte amataayi era ekyadiride kwabade ku bakubagana.
Nga webagamba nti atakulekeera tomulekeera enyanja ekutta omiira,abanaffu webafunye nga waazi,basimbye nga abamanyi amannyo okukirako vampaya era Police teba kujja mu bwamangu waliwo gwe babade bagenda okulumako okuttu.Twaha Kabugo ddereeva okuva mu kiwayi kya Banada bamukubye bubi nnyo ne bamwasa omutwe era yaddusiddwa mu ddwaliro nga anatuuka tatuuke yabali ku mimwa n’abalala abawerako basimatuuse n’ebisago ebyamanyi nga bitonnya musaayi.

ENTALO KU SITEEGI ZIMAZZE EMYAKA ESATU
Ensonda zaffe ezesigika zatukakasizza nga okusika omuguwa mu baddereeva ku siteegi eno wekumazze emmyaka nga 3 era zatuukako ne mu ofiisi ya RDC kyoka nazisindika mu kibiina ekikulira abattakisi mu ggwanga ekya UTOF,abasitukiramu ne batuuza olukiiko olwetabwamu na bakulembeze ku divisooni y’e Namugongo siteegi eno mwesangibwa.Mu lukiiko lino baayisa amateeka ag’okuzza emirembe ku siteegi kyokka ekiwayi kya Mukasa bagazimula ekyayongera okutekawo oluwoonko muba ddereeva ku siteegi.
BALUMIRIZZA AKULIRA UTOF OKUTABANGULA SITEEGI
Sam Kimbowa akola nga omwogezi wa siteegi eno yatumbye nti amateeka agayisibwa bali tebasobola kugakiriza kubanga Ssekindi akulira UTOF,omumyuka we Musitapher Mayambala n’omuwandiisi wabwe Castral abagakola tebagakola mu mutima mulungi.

Nti amateeka bagakola bamaze okutula ddiru na Banada ne banne okuli Godfrey Nsubuga eyali ssentebe wa siteegi oy’okubawulizangako ku ssente za welfare ze basolooza mu battakisi buli lunnaku kyoka nga bali babagooba lwa bubbi.
Ono mu bigambo bye yagaseko nti “wetwagana okugoberera ebiteeka byaba ssekigwanyizi ba Ssekindi,basalawo kwekobana na Banada ne banne ne batusindikira ekibinja kya Bakifeesi okuva mu Kisenyi batukube bamale batugobe ku siteegi yaffe naye Katonda wa buyinza kubanga ekyo tekyasobose.”
Kimbowa wetwamubuziza nti yategerede ku ki nti ababalumbye babade bakifeesi yatuzemu nti baddereeva abasinga obungi abakolera ku siteegi ya Bweyogerere Banada ne banne gyebasengukira mbamanyi naye muba balumbye tebabademu
EKY’OKUBIRI;Nti aba bakozeeko obulumbaganyi babade bavubuka nga n’abamu babade balina bisitayiro ebitategerekeka mu nviri zabwe kwo n’okuwunya enjaga.
Kimbowa yafundikide awaga nti Ssekindi ne banne ne webanapangisa ba Al-Shabab okubalwanyisa,betegeffu okuffa nga balwanirira ebyabwe.
SSEKINDI YEEWOZEZZAAKO
Ssekindi akulira UTOF mukwewozzaako yatugambye nti batuzizza enkikko eziwerako okumalawo obutakanya ku siteegi eno naye tezivudemu bibala kubanga siteegi yayingiramu eby’obufuzi.Nti waliwo ba kkansala n’abantu okuva mu bitongole beby’okwerinda abalya mu bukulembeze bwa siteegi eno ssente.Bano bebalemesezza amateeka gebayisa okuddukanya siteegi eno okukola era yensonga lwaki okulwanagana ku kyalemeddewo.

Ku nsonga yokuvugirira Bakifeesi abalumbye siteegi n’ekigendererwa eky’okujako obukulembeze bwa Mukasa Ssekindi yabade mukambwemu weyatugambye nti abakimusaako bayaaye,banywi banjaga batasobola kumalirako budde era yafundikide alabula nti singa okulwanagana kuneeyongera bagya kuyingirawo betereze siteegi nga mateeka wegalagira.
Ono mukaweefube wokwongera okutereza omulimu gwa ttakisi,aliko baddereeva abasoba mu 1000 bagenda okutwala e Dubai ku ntandikwa y’omwaka ogugya balabe engeri omulimu gwa ttakisi gyegutambulamu eyo n’okusisinkana bamusiga nsimbi.
Brasio Nsubuga Ssekatawa,Ssentebe w’omuluka gwa Kireka nga yabadewo nga olutalo lukwagya yabasabye aba ttakisi okukomya okulwanagana kubanga ekifo siteegi wesangibwa waliwo abantu abalala abakolerawo ekitegeza nti buli webalwanagana emirimu gy’abantu abakolera okumpi n’esiteegi gigotaana.