Sipiika wa Kampala Awanda Muliro: Lukwago bwetuba twalya Ssente Za Ham Naawe Oba wazilyako

BYA:OMULANGIRA DDEMBE YONAH

City Hall,Kampala

Zahara Luyirika,Sipiika wa Kampala mu mboozi ey’akafubo n’ekibanja kino yeeganye ebize byogerwa Omuloodi w’ekibuga Kampala Ssalongo Eriyasi Lukwago nti Kanso yawa Omugagga omuto Hamis Kigunddu omwala gwe Nakivubo agugobeko abanaku mu linnya ly’ogukulakulanya oluvannyuma lw’okubawa ebisawo bya ssente. Ono yadiza Lukwago omuliro bw’agambye nti bwebaba baalya ne Lukwago naye aba yalya kubanga mu lutuula lwa kanso olwo yalimu.

Mu ngeri y’emu anyonyode ekyamujja e Makindye West okuvuganya ku kifo ky’omubaka omukyala owa Kampala ekirimu munakibiina munne Shamim Malende gw’amanyide ddala nti abadde mulwadde muyi eranga akoze kinene nnyo okuyiirawo ba foot solider abaze basibwa olw’ensonga eby’obufuzi omubiri

Luyirika ng’ennaku zino bamwongerako erya Maama Kampala yayongede natangaaza ne ku bigambwa nti ye Hakki ya Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu ey’okubiri gwakyanga ne mutabani  w’omukelembeze w’eggwanga era omuduumizi w’amagye Genero Muhoozi Kainerugaba.

Emboozi yaffe naye yayindide mu office ye ku kitebbe ekikulu ekya KCCA era yagude bweti amakerenda…

EKYAMUBAGULA AVE E MAKINDYE WEST YESIMBEWO KU KIFFO KY’OMUBAKA OMUKYALA OWA KAMPALA

ALIPOOTA:Bwelitaba Ttima,Kiki Ennyo Ekyakubagula Ove e Makindye West Gyewali Weesimbye N’odda Ku kifo Ky’omubaka Omukyala Owa Kampala Okuyikiriza Muno Shamim Malende gwomanyide Ddala Nti Mulwadde. Oyagala Kumwabya Mutima?

LUYIRIKA:Ekyamazima namala emmyaka 4 nga negwanyiiza okuba Omubaka wa Makindye West kubanga 1)Ndi mu bisanja 2 nga ngikikirira wano ku KCCA ekinyambye okufuna obumanyirivu obumala mu by’obukulembeze n’okumanya engeri abantu gyebabateeserezamu. 2)Konsituwensi ya Makindye West obunene bwayo bubade bwenkana nobwa Kansala wayo,wano abantu we baasinzira okubaga ssemateeka atali muwandiike nti omuntu anamalanga ebisanja 2 kubwa kansala,bwebigwako aba alina okuvuganya kubwa MP. Eteeka lino lyenali ntekeesa munkola. 3)Ndi mwana nzaalwa ya mu Makindye West, mwenkulide, mwensomede, mwenkolera kyoka era mwenfumbidwa na bwekityo konsituwensi eno endi kumutima ddala kubanga buli kimu ekyange kiri kuyo naye akadde bwekatuuka ekibiina kyaffe ne kitulagira buli omu alage wa wayagala okwesimba, nesanga mukaseera akazibu abakyala okuva mu bitundu bya Kamapala eby’enjawulo bwebantukirira nga bansaba mbere Omubaka waabwe.Bwenaza akatambi emabega, omukwano gwabakyala bano nange nali ngulabye buli bwenagendanga mu butale gyebakolera ne kumikolo gyabwe kwebampita ng’omugenyi omukulu. Engeri gyendi ne Sipika wa Kampala, abakyala bano babade nga badukira nnyo ewange okukola kunsonga zaabwe eranga mu butuufu mbade mbayiirawo nnyo omubiri n’akatono ke nina

Engeri mu by’obufuzi gyesitali kyeleeta natukirira abantu abaze bantekateeka okubebuuzako. Buli mukadde gwenebuuzangako ng’anziramu kimu nti ogenze okutuuka wano nga njagala kuyita nkubulire nti abakyala b’e Kampala gwe gwebalaba mu embavu z’okutuusa obulungi edoboozi lyabwe mu Paliyamenti.

Bwenefumitiriza ennyo nalaba ng’okukulembeza ensonga zange ez’omubuntu okwesimba e Makindye West ne ndekawo eddibu ly’omubaka omukyala owa Kampala, nalaba nga nja kuba nzannye kifiiriza. Mubulumi obungi wano wenasalirawo okwesimbawo ku kifo ky’omubaka omukyala owa Kampala nsobole okwambala obulungi engato z’omukulembeze omulungi abakyala be Kampala gwebayayanira.

Ebipande Luyirika byakupisiza nga atekateka okwesimbawo ku kiffo ky’omubaka omukyala owa Kampala

ALIPOOTA:Mubigambo Byo Ogambye Nti Wajja Kubika Ddibu Ery’omubaka Omukyala owa Kampala.Mulufutifuuti ogezaako kutegeza nti Shamim Malende aliyo eranga na munakibiina munno taze?

LUYIRIKA:Mpayo Omubaka omu aliyo nga talina bamwesimbyeko.Muganda wange okufananako n’abakulembeze abalala abali mu buyinza, nkakasa nti bakoze ekyo kyebalina okukola naye abantu bano abatulonda, waliwo ensonga ze babeera baagala tubayambeko naye nga zeetaga kubeerawo kwaffe.

Era nkiziriza nti obukulembeze kirabo okuva eri Katonda. Ye yasalawo ddi lwekyeyoleka era nawa. Kati Mungu bwaba yasazewo kyeyolekere ku kiffo ky’omubaka omukyala owa Kampala ate nze ani agaana? Tulinze Mukisa.

ALIPOOTA:Ebanga Lyomaze Nga Gwe Sipika wa Kampala,Biki By’okoze Byewenyumirizamu?

LUYIRIKA:1)Ffe tusoose okulwanyisa obubbi wano ku City Hall nga byaddala. Kino mwakiraba bwebatunda polooti za Ppaaka Enkadde era ne mukiraba mukulwanyisa obubbi obwaali mu ssente z’okuliyirira abantu b’e Kiteezi n’ebyokulabirako ebirala bingi.

2)Kanso yaffe yekyasinze okuyisa amateeka amalungi agatagenda kunyigiriza muntu wabulijjo asembayo n’omugagga asembayo. N’ebiralala bingi.

KITUFFU BAKANSALA BA NUP BAGUZA OMUGAGGA HAM OMWALA GWA NAKIVUBO?

ALIPOOTA:Ekitegeza Wenyumiriza Muteeka Lyemwayisa Nga Muwa Omugagga Hamis Kigundu Omwala Gwe Nakivubo Oluvanyuma Lwokulya ne Mukomba ne Sowaani ng’Omuloodi Lukwago bw’alumiriza?

LUYIRIKA:Oyinza okukikiriza nti Ham simusisinkanangako. Eteeka lyetwayisa ligamba nti “KCCA partners with credible and able local investors with in their respective areas to develop and upgrade the City Drainage System under the Guidence,Approval and Supervision of KCCA.”Ekivunulwa nti musiga nsimbi owakuno asobola okulakulanya omwala ogumulinanye naye nga pulaani ye ekakasibwa era nelungamizibwa KCCA. Ekyo nga kiwede Omugagga aba atandiika okuzimba naye nga KCCA esigala erambula emirimu gy’akola okulaba oba gitukagana n’omutindo ogwakanyizibwako.

Eteeka lino twalikola n’ekigendererwa eky’okutaasa Banakampala kubanga ffena tukimanyi nti enkuba bwetonya obulungi Kamapala afuuka mataba oluvannyuma olwa ssente zetwasaba gavumenti okuzimba emmyala gino okufuuka ganyana.

Emirimu gyekikugu gikolebwa bakugu mu KCCA so si Kanso gyenkulira naye mu bakugu baffe pulaani ya Ham yayitayo? ED twemwamulabye mu Kanso nga agamba nti ye talina ky’amaanyi. Nze kennyini ensonga eno nga yakangwa mumatu nasituka mu office yange ne ŋŋenda muba Physical Planning(Abafulumya Pulaani) nabo nebaŋŋamba nti tebalina kyebamanyi.

Omugagga Ham nga asowode mu ntebbe ye mu lukiiko olumu

Wano Kanso awatali kwesalamu wesinzira okugamba nti Ham byazimba bimenya mateeka era bigwanye biyimirizibwe mbagirawo ne Ham asibwe naye mukama waffe bwadda mu mawulire natandiika okukitusaako nti twatunda omwala eky’amazima aba atukongyede ekitali kirungi.

Nsaba okumujjukiza nti amateeka agatufuga gagamba nti okusalawo kwona tukukolera wamu, mu kanso mwetwayisiza eteeka eryo yalimu, ekitegeza bwetuba twatunza Ham omwaala naye yaliko

ALIPOOTA:Aba PFF Bagamba Nti Baali Balowooza Nti Engeri Gy’oli Omu Kuba Kansala Abaagwa Oluvannyuma Lw’okujjamu Omuloodi Obwesige Wayiga Naye Bwewada, Empalana yo Kuye Kati Eri na Promax. Kiki Kyoffa n’Omuloodi Lukwago? Yakusabako N’ogaana?

LUYIRIKA:Omulimu gwaffe Omukulu kuyisa mateeka, Lukwago mu bya mateeka wano mu ggwanga tabusibwabusibwa era ekyo bwotakikiriza oba togenda kuyiga. 2)Lukwago wano aba mukama waffe,kati ngugulane naye kuki?

“In fact” mukisanja kino tukolaganye naye nnyo okugeza twegata ne tulwanyisa ababbi benguudo okumala omwaka mulamba,twegata ne tulwanyisa abaali bagoobye abaana abeera ku nguudo kyoka nga tebabawade na musaala ne twegata okulwanyisa abaali baagala okubba ettaka lya Ppaaka Enkadde n’ebirala bingi.

Nze ne mukama wange oyo twagugulana omulundi gumu gwoka bweyagana okutuuwa Alipoota y’e Kiteezi songa twalwana naye mpaka kutuuka mu kakiiko ka COSASE ng’oluda lwa ED lugaanye okutuwa Alipoota era twemulugunya nga tugamba nti ekibade kitulwanya bali, kugana kutuwa Alipoota, kati kijja kitya nti mukano akade ng’abantu bafudde, Omuloodi n’oluda lwe baganye okutuwa Alipoota.

Omuloodi Lukwago nga mwenyamivu olw’omwala gwa Nakivubo

Abantu abakolera awamu okwawukana mungeri ebintu gyebirina okukolebwa kyabulijjo naye lwaki aba PFF Lukwago bwaba omukyamu n’ekikyamu bagala bakinenyeze nze?

Aba PFF obuzibu bwebaninako buva ku kuba nti  ndi wa NUP naye ekyo tekigenda kukyuuka.

ALIPOOTA:Naye Nga Bakikusako Nti Gwe Abade Bulooka Wa Buli Mugagga Abade Ayagala Okuyisa Ddiru Mu Kanso Era Nti Ensolo Obadde Ogigabanyiza Mu Office Muno

LUYIRIKA:Okuva bwenatuula mu office eno njogeredwa buli kimu ekiyinza okuvoola omwana omuwala ky’omanyi naye ebigambo ebyo tebinyinude ttama kubanga kyendi nkimanyi. Basooka nebaŋŋamba nti engeri gyendi owa High Class, okusobola okukuuma omutindo ogwo ŋŋenda kwenyigira mu kulya enguzi mu ngeri etabangawo bangoobe mu mwezi gumu naye ekisanja kikino ndi mukikuba luku mutwe. Bakipingamizi bwebabulwa engeri gyebanfundiriza ku nguzi, baatekawo ekibooziboozi nti neguza emotooka ya KCCA neberabira nti najja nvuga Kawundo. Ffamire mwenva mu Kizungu sintono. Katikiro temwamulaba nga agamba nti bweyali atandiika okwezimba yapangisako ku nnyumba zaffe. Bwenali ngiga okuvuga emmotooka nayigira mu Benz kyoka nebwebankuba akalulu saatambuzako kubigere. Ekirungi IGG bamuwandiikira nanoonyereza nakizuula nti sirina musango. Ebyobwebyakona kwekutandika ekiboozi ekyo kyoyogerako naye ekirungi oli munamawulire, mbulira ddi wa wewali ondabye nga nsisinkanye omugagga gundi. Gwe nebwonandetera akatambi akamu bwekati nga ngabira bakasanla bange ssente mu office yange, nkukakasa nti webuzibira office eno njakuba ngivudemu.

ZAHARA KITUFFU NTI AKYANGA GENERO MUHOOZI NE KYAGULANYI?

ALIPOOTA:Enkolagana Yo Ne Mwami Kyagulanyi Etandikira Wa Era Ekoma Wa Kuba Kigambibwa Nti Gwe Hakki Ye Eyokubiri Era Eno Yensonga Lwaki Ennaku Zino Weyita Na Maama Kampala Ekivunulwa Nti Gwe Maama Solomon Kampala omulala Era Nti Enkolagana Eyo Ey’omunda Gyemulina Y’eyakujja e Makindye Okuvuganya Ku Kifo Ky’omubaka Omukyala Owa Kampala

LUYIRKA:Katonda Wange! Bwenali nzijja okuvuganya kubwa Sipika navumibwa buli kimu nebatuuka n’okumpita malaya, temwabiwulira? Ekyo bwebalaba tekinyinude ne batandika okugamba nti ndi mukyala wa Muhoozi ne bawa n’amanya ga woteeli ennene mwetusisinkana e Makindye, Buziga n’ewalala naye abantu bange olw’okuba baali bamannyi ekituufu, banonda.

Oba ndi Hakki ya Pulenzidenti wange omulungi oba siri, njagala okukakasa nti Banakampala bamanyi kyebagala. Kaadi newebanagimpa nga Banakampala tebanjagala era tebajja kunonda.

Pulinsipo Kyagulanyi

Kati abankonjera amagezi ge mbawa bwebaba baagala okunŋŋoonza gakufulumya kifaananyi kyange nga ndi butte.Ndi mukyala musiraamu era ntya nnyo okulaga obwerere bwange. Ekyo bwebanakikola bajja kuba bampangude. Kw’olwo bwenfuluma wano sidda era sisubira nti ndiba ndidamu n’okufuluma ennyumba.

ALIPOOTA:Waliwo Abagamaba Nti Osambisa Amagulu Abiri,Oli wa NUP ate Mukiseera Kyekimu Oliwa NRM Gwemudidi Gwa Ssente Gwoyiwayiwa Mukalulu

LUYIRIKA:Allah Akubar! Singa mbade nina ekivumo ekinene kyensobola okuvuma abantu abo nkakasa nandi kyeyambisiza naye olw’okubanga sinze oyo katubaleke boogere.

Ntude mweno Entebbe okulaga omuwala omuto angoberera nti olina kuba mukozi ate nga wasoma okufuuka ky’oli so ssi kusooka kuta magulu, nti olina kusooka kuba muwemuzi nga abawabuzi ba Pulezindenti Museveni abamu, nti olina kusooka kubba abantu n’ebirala bingi.

ALIPOOTA:NUP Bweba Nga Egaba Kaadi Esinzira Ku 60% Omuntu Gy’alina Ku Gulawundi Ate 40% Neva Ku Kitebbe. Ebitambula Biraga Nti 60% Malende Agirina Ate Gwe N’oba Ne 40%, Wano Wetusinzira Okubuuza Nti Singa NUP Ekuma Kaadi, Ozaako Ki?

LUYIRIKA:Asitagafullah. Ndowooza kaadi ngirina naye singa Mungu akigera bwatyo, nze Zahara seetaga ndagaano, njakukwata mu ngalo z’oyo anaaba aweredwa kaadi era muwagire.

ALIPOOTA:Kaadi Ya NUP Mbu Yakugula. Gwe Kumusondera Ekibiina Wawayo Obukadde 10, kati osigazayo mmeka?

LUYIRIKA: Njogera mazima nga ntya Allah wange, NUP tensabangako ssente. Obukade 10 zenawayo twaziwayo lwa mukwano, kwagala na kusiima. NUP yampa kaadi nenfuuka kansala, olw’okubanga NUP kati ndi Sipika wa Kampala. Nfuna emisaala ebiri; ogwa Kansala n’ogwa Sipiika kyoka ga NUP sirina kyenali ngiwade, kati bwebatekawo okusonda nempaayo obukadde 10, mu mazima temulaba nga mba ntodde na kitono.

ALIPOOATA:Bwosisinkana Shamim Malende Oyinza Kumugamaba Ki?

LUYIRIKA:Engeri gyekiri nti ffena tuli basiramu,mubuzako nekiramuso ekisinga byona nti Salaam Aleikumu

ALIPOOTA:Naye Nawe Olowooza Nti Malende Yali Mulwadde Oba Yali Yeekoza?

LUYIRIKA:Owaye gwewalaba ki?

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *