BYA:OMULANGIRA DDEMBE YONAH NE SSAMULA MATHIAS
Filbert Baguma,Sabawandiisi w’ekibiina kya basomesa ekya UNATU akakasiza ekibanja kino ekiterya ntama nga bwebatagenda kuzikiza kwekalakasa kwa basomesa abasomesa amassomo gabulijo(Arts) kwebatàndiika ku ntandiikwa ya ttamu eno mu gwo 09,15 nga bawakanya ekya gavumenti obutabasasula kyenkanyi na basomesa basayansi.

Bwino ataliiko nfuufu okuva mu Minisitule y’Emirimu gya Gamuventi alaga nti omusomesa wa sayansi owa diguli afuna omusaala gwa bukade 4 buli mwezi naye bwegugibwako emisolo ne misoso gyona, ewaka atuusa obukadde nga 2.8 ate owa Diploma afuna omusaala gwa kakade 1.54 kyoka omusomesa asomesa amassomo gabulijo owa diguli awaka atuusa wakati w’e 672,000-754,600 ate ye owa Diploma ewaka atuusa ssente za mmere na bikozesebwa eziri wakati w’e 521,500-548,800
Wilson Muruli Mukasa,Minisita avunanyizibwa ku mirimu gya gavumenti yasinzira ku sengerero ekulu ery’amawulire muggwanga nategeeza nga gavumenti bwekigyetagisa akasse 1.4 bweba yakwongeza omusaala gwa basomesa abasomesa amassomo gabulijo gudde ku bukade 4 obwa basomesa basayansi kyoka nabika nga ssente ezo bwezitaliwo kati naye nawa obweyamo nti entekateka zona zakoledwa ssente zino okuziteeka mumbalirira y’omwaka gwebyesimbi oguja.

Ono yagatako nga okwekalakasa kuno basomesa bano bwebakukolera mu mutima ogutali gwa buntu kubanga taamu eno eba yalusoma olusembayo mu mwaka olubamu abayizi okutuula ebigezo byabwe ebyakamalirizo ebya UNEB n’ebyokuyita okuva mu kibiina ekimu okuda mu kirala ekitegeza nti okwekalakasa kwabwe kuteeka okuyiita kwa bayizi bano mu matiga era wano weyasinzira okusaba abasomesa bano beekube mu kifuuba badeyo mu bibiina basomese abaana.
Wano Muruli weyakigumiriza nti omusomesa atadeyo kusomesa mbagirawo ku Mande,bajja kumugoba bamusikize owa Pulayiveeti ayayanira omusaala gwa gavumenti omusava nga bakibalanga nga omusomesa oyo eyagenda muluwumula nga tafunye lukusa.
WATULYAMU DDA OLUKWE
Ebigambo bino abasomesa abamu byabasikuula nnyo emeeme ne balangira Minisita Muruli okubalyamu olukwe nga Yudah.
Bano abatayagade kubatukiriza mannya batutegezeza nti engeri Mukasa gyali musomesa munabwe, bandibade bamusuubira okubawagira kubanga amanyi bulungi enaku yabwe naye okuva bweyafuuka minisita natandiika okutambulira mu bugombe n’okufuna omusaala omusava,yaberabirira ddala era wano omu kubo yafundiikide akolima nti Muruli agwanye akimanye okutambula n’abalangira tekikufuula mulangira.
Omulala enjawulo munsasula yagiyise kamaanyiro ka gavumenti akagenderere kubanga ebisanyizo byabwe byebimu eranga bamala emmyaka gyegimu mu ssomero okubifuna era mubigambo bye yagambye nti bwekutaba kutulengeza,gavumenti lwaki eba etusasuula ssente ezawukana?
Ono yagaseko nti Pulezidenti yewunyisa buli omu bweyeyama okuwa ttimu y’eggwanga akawumbi 1.2 kubuli mu mpiira gwenagooba mu mpaka za CHAN.Ekisubizo ekyo Pulezidenti yakitukiriza.Bwekibanga akasse ssente nnyingi nnyo,ttimu y’eggwanga eba kugooba mimpiira egiweza akasse,Pulezidenti ssente ezo ttimu y’eggwanga yandizigiwade?Ekyo kyatulaze nti ssente weziri era twagala Pulezidenti weyatodde ssente zeyawade ttiimu y’eggwanga waba atoola naffe atwongeze omusaala.
TETUGENDA KUZIKIZA
Baguma yatugambye nti bagenda tugoba?Nga basinzira mu teeka ki?Bwetwali tutandiika okwekalakasa kuno twagoberera emitendala gyona omwali okuwandikira minisitule y’ebyenjigiriza,eyebyensimbi,office ya Pulezidenti ne y’emirimu gya gavumenti naye zona zafuuka kyesirikide ku nsonga yaffe
Ono yayongede natanya nti eby’okuteeka ssente z’okutwongeza omusaala mu bageeti Pulezidenti Museveni yabyeyama mu 2022 naye okuva kw’olwo batuzanya jangu onkwekule gwetwakoye. Tetugenda kuzikiza era nyongera okusaba abasomesa obutalinya mu kibiina oba batugoba batugobe.