Judith Kanyena omu ku bakunzi mu kibiina ky’e NRM asabye abakulembeze amannyi gebateeka mukwelumaluma n’entaro ezitakoma,bagateeke mu kulondoola pulojekiti za gavumenti mu bitundu mwebabeera.
Ono mukwogera kwe yatannya nti engeri gyekiri nti NRM ky’ekibiina ekiri mubuyinza,manifesto eba etekesebwa munkola eba yakyo kubanga gyebaba banonyezaako akalulu nabwekityo abakulembeze amannyi okugateeka mu ntaro z’okwelaga eryannyi eno nga ssente za PDM,Emyooga ne pulojekiti za gavumenti endala wezibibbwa abantu ne batafuna buweereza,wekikonnya ekibiina.
Kanyena era yagaseko nga webakooye abakulembeze aberimbika mukibiina okwennyigira mu bikolwa eby’ekifere okugeza nga okubba ettaka lya bannaku.
Bino Kanyena yabyogerera ku kabaga ka munakibiina Denis Arinaitwe keyategeese okujjaguza olwa Akakiiko k’eby’Okulonda okusazamu obuwanguzi bwa munakibiina mune Umar Muyanja kubwa Ssentebbe bwe ekyalo Kireka D
Arinaitwe yagamba nti engeri Muyanja eranga yeyali akwatidde ekibiina bendera mu kulonda okwo gyeyabbamu ng’akozesa ebitingole byeby’okwelinda temanyi ya Pulezidenti Milton Obote mu 1980,ekyamuwalirizza okuddukira mu Kakiiko k’eby’Okulonda ne yekubira enduulu era Akakiiko nga kasinziira ku obujjulizi bweyakateera ku meeza,awatali kukiwa ndowooza y’akubiri,kasazaamu obuwanguzi bwa Muyanja.

Wano Arinaitwe weyasinzira okulangirira nga weyesooze NRM empya.Ono yannyonyola nga NRM enkadde webademu bamafia,abafere ababbi n’abalyake kyoka nga wogezaako okubalopa mu bobuyinza,nga beyambisa abebitongole beby’okwelinda okuyiga nti naye waaba yasobode okuloopa Muyanja mu Kakiiko K’eby’okulonda namuwangula,kabonero akakaasa nti NRM yeyubude ekigyayo obulungi amakulu g’ekisanja kino agagamba nti No Sleep and Zero Tolerance to Corruption
Wabula Kkansala wa Banda ku division y’e Nakawa Isma Mukoiko asabye abakulembeze ku kyalo kino okukomya okulwanagana bakwatagane kubanga sitampu gyebalwanira eyinza okubalema okufuna nesigala ewa ssentebe wa LC2 .

