BYA:OMULANGIRA DDEMBE YONAH
KAMPALA.
Olutambi ku nfa ya Lydia Babirye; muwala weyali Katikiro wa Buganda Yinginiya John Baptist Walusimbi lukyuse enzingulula Ababukar Ntege agambibwa okumuwamba ate oluvannyuma namutta mukambwe bwe yeganye omusango

Mukwongera okunoonyereza okutuuka kuntobo y’enfa y’omulongo Babirye,ku lw’okusatu lwa wiiki eno,abakugu ba Police mukunoonyereza naddala ku misango egy’ekusa ku butemu,wakati mu bukuumi obwamanyi,bazaayo Ntege mu makage agasangibwa ku kyalo Kiteredde mu Katabi Town Council mu disitulikiti y’e Wakiso omulambo gwa Babirye gye gwazuulibwa abalage engeri gyeyamumiza omussu kwo n’ekyeyali azaako kubanga emabega g’ennyumba ye waali wasimiddwayo ekinnya ekiri mu bunene bw’entaana akabonero akenkukunala nti baali bagenda muzika omwo

Ensonda ez’esigika mu Police zatubideeko nti nga batuuse,Ntege yabategeza nti ye n’omugenzi baali baagalanye okumala emmyaka 5.Olw’okubanga omukwano gubade gubasaza mu kabu,Babirye abadde nga ateera okumukyalirako mu maka ge gano ne bannyumiza ddala akaboozi k’ekikulu.
Okumanya omukwano gubadde gwabazibira ddala amaaso,gubadde gwabanabya n’ensonyi ez’okubanga beddira omuziro gwegumu.
Ntege yayongera nategeza abakugu ba Police bano nti Babirye lwaffa baali mukaboozi naye wakati nga kaggwiridde ddala amakerenda,omugenzi yafunamu embeera etaali yabulijjo era yamusaba ne ku mazzi anyweko wabula olwali okumuuka emimiro,yeyongera kuba bubi n’ekyaddirira kufa.
Embeera eno etuukira ddala bulungi nnyo ku luyimba lwa Gravity Omutujju olweyatuma ekyakuzaala kyekiri kussa naddala eri vaasi egamba nti musajja mukulu olulunkana ki?Ekyakuzaala kye kiri kussa!
Obujjulizi buno abakugu ba Police bwabaviraako okukubagannya empawa era mu kubukubamu ebituuli,Ntege badamu okumukunnya wabula n’akalambira ku kintu kyekimu.
LWAKI NTEGE YEFUULA NTI OMUGENZI YAALI AWAMBYE MUWAMBE?
Ntege nga akumbye kwelima abakugu ba Police wano webasinzira okumubuuza nti wekibanga omugezi yafa oluvannyuma lwa kasukaali k’omuggo okusuuka,lwaki ate obujjulizi yabukyangakyanga okukiffananya nga eyali awambye omugenzi n’ekigendererwa oky’okusaba ffamire ye ssente.Ono mukwanukula yabategeza nti mukusoberwa omugezi yasooka n’amwambaaza ngooye ze n’ekigendererwa eky’okumuduusa mu ddwaliro wabula weyajjukira nti ffamire mwava yamanyi,yaffumintiriza nalaba nti eby’okubagamba nti omuntu wabwe yafudde oluvannyuma lwa akaboozi,tebajja kukiggula bulungi bafundikire nga bamusibye mayisa.Mukubutabutana yaggirwa ekirowoozo kyo’okukifuula nti omugezi yaali awambye muwambe era wano weyasinzira okuweereza muwalawe obubaka ku ssimu nga alaga nti nnyina yali awambiddwa ng’ayagala bamusindikire ssente obukadde 19.
Ssente zino Ntege yaali wakuzikozesa kuduuka mu ggwanga kwo n’okutandikirako okupanga obulamu mu nsi gyeyali agenda okudukira awoone ekkomera.
Ntege webamubuuza ekigenderwa kye kinnya kyeyali asimye emabega ga amaka ge,yakkiriza yali asimye ntaana yakuzikamu mulongo Babirye olw’okubanga omulambo gwe gwali gutandiise okuwunnya atenga n’omuzimu gwali gusuuse okumululumirako.
Ntege era yakiriza nti webamukwatira yaali amaze okukola emikolo gy’okwegoobako omuzimu n’okwenazaako ekisiraani ky’omuntu okufiira mubuliri.
EBYAVA MU KUNOONYEREZA
Ensonda ezesigika mu Police zatugambye nti oluvannyuma lwa abakugu ba Police okulemwa okusanga obujjulizi obukakasa nti omulongo Babirye weyafiira wasooka kubaawo nsitaano atenga n’omulambo gwe teggwaliko yadde enkwaggulo,okunonnyereza kwakaluba kyoka olw’okubanga baali tebasobola kujja Hadith ku Ntege,basalawo abasawo abakugu okwekebejja endaga butonde z’omugenzi okusobola okuzuula ekituufu ekyaliwo ku lunaku olwo
OBUBAKA BW’OMUKUNGANNYA
Emboozi eno egenda kuba yabitundu era mu kitundu ekidaako tugenda kumawo n’emboozi eranga embeera eziviraako omuntu okufa nga ali mu kaboozi.Mungeri yemu tugenda okwongera okugoberera omusango mpaka wegunasalibwa mu kooti.

