Ssentebbe Mugerere:Ngenda Kufa Ne Balandiloodi Abagoba Abapangisa Mu Nyumba

Omulangira Ddembe Yonah
4 Min Read
Ssentebbe Mugerere

‘Nze Siva mu Ntebe’ yemu kundwadde esinga okuluma abakulembeze ku mitendeera gyona mw’Afrika naye Mzee Sulaiman Mitti,oluvannyuma lw’emmyaka 40 nga ye Ssentebbe wa Nalukolongo zooni,newankubadde akalulu yaali akyasobola okukawuuta, yewunyisa abatuuze bbe weyakiriza nti kyafuzeeko kimala, nadda ebbali n’abalala bakwatemu.

Mzee Mitti yeyongera okuzannya eby’obufuzi bya kisajja kikulu weyetaaba mubuntu ku kabaga k’okwebaaza abalonzi akeyamudidde mubigere Zimbe Hudson Kikaawa amanyikiddwa ennyo nga Mugerere  namukwasa ne ofiisi mubutongole nga ensi yonna elaba wakati mu mukwano,okwagaliza n’e sanyu.

Ssentebbe Mugerere nga bazinamu ne Mzee Mitti

Mugerere naye wano yalaga obwetoowaze weyafukamira ne yebaza Mzee Mitti olw’ekikolwa kino kinantalabikalabika.

Okumanya akabaga kano kabadde kanjawulo nnyo,Mubiru Haruna Kabuliti;omu kubavuganya ne Mugerere naye yaketabyeko era mukwogera kwe yakiriza nti bamuwangula n’enkona n’ennywa.

Ssentebbe Mugerere nga aggwa Mubiru mu kifuuba

Obugunjjuffu obwayoleseddwa ku kabaga kano bwawaliriza abamu ku batuuze okwewunaganya nga webagamba nti kale singa enkyuka y’obuyinza eno mu ddembe ekula mpaka kubwa Pulezidenti netusobola okukyusa obuyinza ewatali kuyiwa musaayi…!

Dalson Tamale:Ye ssentebbe w’akatale k’e Nalukolongo akaali ku Railway.Yagambye Mugerere newankubade abadde tanalondebwa nga Ssentebbe,abadde yatandiika dda okuweereza ekyalo weyabayambako okulwanyisa ababbi abaali babamalako emirembe.

Nti engeri Mugerere gyawangalira ennyo mubavubuka, ababbi bano yabatukirira  n’abalisa ekigambo ne balokooka era nabayigiriza n’okukoola weyabatwala mu garage ye nabayigiriza okukanika.

Ono yafundikide akaakasa nti kati ekifo kyatelerera era abantu bayitawo nga banyiga nassimu gabwe nga mpaawo abakuba ukono

Kawamala Christopher Akiiki:Ye ssentebbe w’ekibiina kyaba nekolera jange ekya United Informal Sector Forum.Ono yakakasiza abantu b’e Nalukolongo nti balonze omuntu omutuffu kubanga Mugerere baludde nga bakolagana naye mu mirimu n’obuweereza obutali bumu naye nga ebintu abikola bulungi,mubweruffu n’obwesimbu.

Mugerere mukwogera kwe yebaaza nnyo abatuuze okumulonda nga tebakulembeza bibiina byabufuzi.Abagoberera ennyo eby’obufuzi bya Lubaga batugambye nti kizibu nnyo Banarm okuwangula akafo kona kubanga abalonzi abasinga abakiririza nnyo mu birowoozo byaba oppozisooni nabwekityo Munanrm yenna okuwangula ekifo mu alaali,abantu baaba bamwagala nnyo nga ye omuntu.

Mugerere nga aweera okuffa ne Balandiloodi

Engeri gyekiri nti abatuuze abasinga mu zooni eno bapangisa,Mugerere mu kampeyini ze yeeyama  okufafagana ne Balandiloodi abalisa abapangisa akakanja kubanga okusinzira ku kawayiro 26 ak’eteeka erirambika abapangisa ne balandiloodi ery’omwaka 2022;

1)Landiloodi asobola okwongeza lenti oluvannyuma lw’omwaka gumu nga omupangisa amupangisa ekitegeza Balandiloodi abogeza lenti kumakya n’olweggulo bakikola mubukyamu

2)Ssente z’obupangisa Landiloodi zayongeramu tezirina kusuuka bintu 10%

3)Landiloodi waba wakwogeza lenti,alina okutegeza ku mupangisa we mubuwandiike emmyezi 2 emabega

Ono yadde teyasoma nnyo yakinoganyiza nga etteeka lino weyalisoma era nalitegeera bulungi nnyo era yafundikide aweera okuffa ne Landiloodi yenna sitaani gwanakeema mu birowoozo,mu bikolwa,mubugenderevu nemu butaali bugerevu okumenya ennyigo yonna eri  lye tteeka lino. 

Obutebenkevu ku zooni bakubukumira ku musingi gwa bamayumba kumi.Obubi bakizudde nti ebiseera ebisinga bukolebwa baana nzaalwa nga basinzira muzi Ghetto.Wano webasinzidde buli Ghetto okugilondera komanda waayo era nebamuwa n’ekitabo okuwandiika buli muntu awangalirayo.

Abatuuze betwayode naabo batugambye nti Mugerere bamulina nnyo esuubi kubanga social capitali amulina,connection azirina ate amanyi n’okusaaka.

Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *