Ab’oppozisooni e Masaka Basanyukidde Nnyo Akammwanyi Ka Pulezidenti Museveni!

By
4 Min Read

Okusinzira ku Manifesto ya NRM ey’ekisanja kino eyali etambulira kumulamwa ogugamba nti okukuuma ebitukiddwako nga wetusenvula okutuuka mu mawanga agaali yaddeyadeeko,bagala wetunatuukira mu 2031 nga amaka ebintundu 33% agakyakolerera emmere ya leero gabenga gaweddewo. 

Wano Rogers Bulegeya,ssentebbe wa NRM mu Masaka City wasinzidde engabo y’okulwanyisa olumbe lw’obwavu okuggilumisa amannyo weyasakidde abakulembeze abasobye mu  3,000 emmwanyi 350’000 ezibalirirwamu miliyoni 700.

Emmwanyi zino okusinga zawereddwa abakulembeze 15 abakola akakiiko ka LC1 ku ebyalo 201 okwetolola Masaka era buli omu yawereddwa enddukwa z’emmwanyi 100.

Abakulembeze nga bakebeera amannya gabwe mu nkalala zabalina okufuna emmwanyi

Emmwanyi zino Bulegeya zamuwereddwa Ssentebbe wa NRM Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni kyokka yewunyisiza abantu weyalaze eby’obufuuzi bya kisajja kikulu watasosodde bantu okusinzira ku bibiina bya bufuuzi weyabadde azigaba.Abakulembeze abaali mu bibiina by’oppozisoni okusingira ddala NUP ne DF nga bebewandiisa okufuna emmwannyi zino era waliwo n’eyaze nga ayambade esaati ya Abed Bwanika owa DF.

Era Kistu Godfrey,kansala ku Divisooni ya Nyendo-Mukungwe ku kaadi ya NUP mukwogerako naffe yasiimye nnyo Bulegeya olw’okukwata obubaka Pulezidenti we Robert Kyagulanyi Ssentamu bweyateeka mu luyimba lwe Obululu naddala vaasi eri egamba nti “wetuba tulonda tugende tulonde naye obululu tebutwawula,eby’okulonda biggwa naye ate ffe tusigalawo…”

Bulegeya mukwogera kwe yatannyiza nti

Ssentebbe Bulegeya nga atannya

1)Eky’okubanga wa NRM tekyamumalamu kabuntu.Nti newankubadde abakulembeze abo boppozisooni,abamu yakula basamba naabo akapiira,abamu yasoma naabo,abamu bazadde babwe baali bamikwano nabwekityo wekuba kulakulana,bonna balina kulakulanira wamu.

2)Obukulembeze buwereza nabwekityo mukuggusa obuvunannyizibwa obwo kimukakataako okukolagana naabo webafananya endowooza wamu naabo webagyawukanya era yafundikidde abasaba naabo bamuyite ku mikolo gyabwe bogere ebyabwe ebya oppozisooni naye ayogere ebyabwe ebya NRM abantu basalewo wa webaggwa.

EMMWANYI KULUNO TUZIGABYE MU LWATU

Salongo Kalema Pax eyaliko ssentebbe w’abavubuka mu Masaka n’omummyuka wa RDC e Bukomansimbi mukwogera yakyogedde kaati nti buli mwaka,Masaka Pulezidenti Museveni abadde agiwa emmwanyi naye nga zibibwa abakulembeze abeyita abanene b’e Masaka.Ezasembayo Pulezidenti yaziyisa mu musaayi muto Bulegeya,weyazibawa bazigabire abantu era nga bulijjo bazibba kyoka weyabagambako,mu kifo ky’okulaba ensobi zabwe,bafuuka kiiso kya mbuzi…era awo empalana weva.

Ebigambo bino Salongo yabyogedde abakulembeze basakannya amannya nga Nameere n’agabakulembeze abalalala.

Mzee nga asomba emmwanyi ezamuwereddwa
Abesobola bapangisiza tukutuku okutwala emmwanyi zabwe e Masaka

Bulegeya naye weyakuute omuzindaalo, ebigambo bya munnywanyi we Salongo Kalema byeyasoose okuggumiza era natannya nti awo weyavudde kumulundi guno okusalawo emmwannyi okuzegabira ate mulujjudde.Afunnye ensi yonna emurabe naafise naye agende ku likoodi sikubanga abakulembeze beyayise abagala okwekussa bokka badayo ewa Pulezidenti Museveni ne bamulimirira.

PULEZIDENTI YONGERA SSENTE MU MINISITULE Y’EBYOBULIMI

Bulegeya era yayongedde nategeza nti newankubadde abantu b’e Masaka bawagira nnyo Pulezidenti Museveni mu lutaro lwe’nsiko olwaleeta gavumenti ye mu buyinza,obuwagizibwe nga atuuse e Entebbe mu ntebbe baze babusaala kubanga gavumenti ye babadde  tebagifunamu atenga n’akammwannyi kwe baali bayimiridde naako kaffa.

Mukoowe eryo kyeyavudde asalawo kawefubbe wa Pulezidenti Museveni ow’okulwannyisa obwavu amutandiike n’abakulembeze nga babawa enddukwa z’emmwanyi ku bwerere basobole okukyusa obulamu bwabwe n’obwa bantu babwe kubanga emmwannyi terimba.

Okusinzira ku mulimisa okuva mu Minisitule Yeby’obulimi,buli mutti gw’emmwanyi guvaako kiro 2.5 eza kasse mu buli sizooni.Ekiro eno essawa eno eggula 30,000 ekitegeza nti emitti 100 gyebabawadde mu sizooni emu givamu milliyoni 7.5.Ono yafundikidde abuuza abakulembeze bano nti era wano omuzimu gw’obwavu tuuba tetubugoobye?

Maama Masaka adaako Sarah Kiyimba nga yetegereza emmwanyi ezabadde zigenda okugabibbwa

Bulegeya yafundikidde asaba Pulezidenti Museveni ayongere ssente mu Minisitule Yeby’obulimi esobole okwongeza ku mmwanyi zebawa era namusaba aggulire abantu ebyuma eby’omulembe ebifukirira amazzi naye abiteeke ku disitulikiti abantu basobole okugendangayo okubyeyazika bafukirire emmwannyi zabwe mu kyeya ku miwendo emisamusamu. 

BYA:OMULANGIRA DDEMBE YONAH

Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *