BYA:JUMA ALI
Mukoowe ly’okutumbula obunyikivu mu banabyamizannyo,buli mwezi kampuni ya ForteBet etegeeka awaadi za ForteBet Real Stars Sports Awards mwesiimira bana byamizannyo abaaba basukulumye ku banabwe mu mizannyo egy’enjawulo.
Omukolo gw’okukwasa banabyamizannyo abasinze ku banabwe mu mwezi gw’omusanvu gwabade ku Nanjing Restaurant e Kololo era gwakulembeddwamu Resty Mbatiddeomuyambi mu ofiisi ya mawulire mu ForteBet ne Isaac Mukasa Ssenkulu wa Real Stars Sports Awards.
Abasiimiddwa akuliko;
Husnah Kukundakwe:Ono ye muwuzi eyasinze bane oluvanyuma lw’okuwangula omudaali gwa Feesa ogwa sokedde ddala mu ggwanga mu mpaka z’okuwunga eza Commonwealth ezali mu kibuuga Glasgow mu Scotland.
Allan Asiimwe:Ono ye muzannyi w’ensaale eyasukulumye ku bane mu muzannyo gw’okukuba obusaale oluvanyuma lw’okuwangula omudaali gwa Zaabu mu mpaka z’abakubi b’obusaale eza ssemazinga wa Africa ezimanyidwa nga Africa Archery Championships ezaali mu kibuuga kya Oran mu Algeria.
Newankubade Kukundakwe ne Asiimwe bombi baliko obulemu,mukifo ky’okwekubagiza,basalawo obulemu buno okubufula akabonero k’okuweerako banabwe esuubi

She Cranes:Eno ye ttiimu ye eggwanga ey’okubbaka.Wetwogerera kati mu muzannyo guno ttimu eno mu nsi yona ekwata kyakusatu ate ku ssemazinga wa Africa ekwata kyakubiri.
Mu mpaka za Commonwealth ttimu eno yamalide mu kiffo kya mukaaga era yasiimidwa olw’omutindo gweyayoleseza mu mpaka zino
Melissa Akullu,Jane Asinde,Jamila Nansikombi ne Perus Nyamwenge:Bano bazannyi banseero eranga bagizanyira mu ttimu ya Uganda Women’s 3×3 Gazelles.
Akullu,Asinde,Nansikombi ne Nyamwenge bayambako nnyo ttimu yabwe okufuna omudaali gwa Feesa ogusokedde ddala mu ggwanga mu mpaka za Common Wealth.

Hassan Alwi:Ono yasiimiddwa nga omuvuzi w’emmotooka z’empaka eyasukulumye kubalala oluvanyuma lw’okuwangula empaka za 2026 KCB Soroti Rally ezaali e Soroti

Allan Okello:Yalondebwa nga omuzannyi w’omupiira eyasukulumye kubalala.Ono mu liigi ya NBC yayamba nnyo ttimu ye eya Yanga(Young African’s) okuwangula ekikopo kyayo eky’okutaano bweyateba goolo 14 ne ‘assist’ 8.
Ukasha Matovu(Morocco):Ono yeeyetise engule y’ensamba ggere(kick boxing)
Matovu eby’ensamba ggere yali abiwumudemu naye foomu kweyakomedeewo yamusobozesa okukuba Isaac Kasasa engumi tonziriranga(knock out) mu ddakika 7 ne sekonda 29 mu wiiki ey’okutaano ey’empaka za Uganda Boxing Champions League
Yasin Wasswa:Ono muzannyi wa nseero era yalondebwa nga omuzannyi ow’omuwendo(Most Valueable Player).
Wasswa yayambako nnyo ttimu ye eya Toyota Buffaloes okuwutuula ttimu ya Stanbic Black Pirates n’obubonero 30 ku 29 mu mpaka za Special Rugby Premiership.
Catherine Constance Adipo:Ono ye mukyala eyasooka mu East and Central Africa okufuna olukusa lwa FIFA okufuwa ffirimbi.

Mungeri ey’enjawulo yawereddwa awaadi ya Long Time Sports Achiever Awards ewebwa munamizannyo okusiima emirimu gyeyakola mukiseera kyeyaberera munsike.

