Kirabika ekya’bakozi ba gavumenti okwebulankanya ku mirimu mu kisanja kino kigenda kufuuka lufumo kubanga Genero Katumba Wamala,Minisita omugya avunaanyizibwa ku ntambula y’emirimu mu gavumenti,aweeze okufafagana nabo.
Abakozi bano ebiseera ebisinga bungi bakeera mu ofiisi zabwe ne bambaza entebe zabwe amakooti gabwe okukakasa nti mu ofiisi mwebali kyoka oluvanyuma ne bazifulumamu ne badda olweggulo mu ssaawa z’okunyuka
Genero Katumba wano weyasinzide okusaba abakozi bano okuva mu mirimu gya Gavumenti mbagirawo bagende bakole egyo egibasingira kubanga gwanakwata ekigenda okumutukako si muntu.
Genero Katumba mukwogera kwe eri bannamaulire ku ssengegyero lya mawulire ga gavumenti mu ggwanga yagambye nti “ffena tukimanyi bulungi nti Pulezidenti Museveni ekisanja kino yakituuma teri tulo ekitegeza nti omukozi ey’ebulankanya ku mulimu aba yebakide ku mulimu ekikonnya etambuuza y’obuweereza eri abantu.Kino tetusobola ku kikiriza era abakozi abo tugenda ku bakwatako”
Mungeri yemu Genero Katumba yalabude ba CAO abagufuula omuze okusaba gavumenti ssente bawandiise abakoozi kyoka ne batawandiisa.Newankubade ssente ezo ku nkomerero y’omwaka gwe bye nsimbi zidaayo mu ggwanika lye ggwanga,okuzibezaayo ne zebaaka omwaka mulamba kifiriza Pulojekiti za Gavumenti ndala ezandiyambye abantu.
Mu bufunze CAO ono abanga asabye emmere gyatagenda kulya kumalawo.Kino mu lufutifuti kuba kwonona.
Ekirala aba azanyide mu buweereza ku disitulikiti.Kikulu nnyo okumanya nti buli ofiisi eri disitulikiti erina obuvunanyizibwa bwayo eri abantu, kati buli eddibu ly’okukozi oyo welibawo,kitegeza nti abantu tebagenda kufuna buweereza bujjude.
OMUSAALA GWA BASOMESA GWONGEZEDDWA
Mukoowe ly’okutumbula embeera za basomesa ba “arts” basobole okwennyumiririza mu mulimu gwabwe olwono balyoke basomese abaana be ggwanga ewatali nkenyera, Gavumenti ebongeza omusaala okugeza
Omusomesa wa Pulayimale ali ku ddala lya satifikeeti bamwogenza okuva 499,684 okutuuka ku 700,000
Omukulu w’essomero lya Pulayimale naye bamwongeza okuva ku 777,512 mpaka ku 1,537,976
Omusomesa owa diguli owa Ssekendule bamwongeza okuva ku 740,005 okuda ku 1,357,964
Omukulu w’essomero lya Ssekendule abadde ku 2,270,984 bamulinyisiza mpaka 3,562,500

Abakozi ba Gavumenti abalala abalinyisiddwa omusaala kuliko abavuga ebiddyeri ne guledda,abalongoosa emirambo mu ggwanika n’abalala bangi.
Genero Katumba era yakakasiza nga omusaala guno abasomesa bano n’abakozi abalala webalinyisidwa webagenda okutandiika okugufuna mu mwaka gwe by’enfuna guno gwetugenda okutandiika.

