Mumannya g’abantu abalira mu ‘nnyana’ Gravity Omutujju beyayimbako mu luyimba lwe Ekyakuzaala Kyekiri kuta,yelabira okusamu ery’omuyimbi Moses Matovu kubanga oluyimba luno lumutukideeko bulungi nnyo naddala layini egamba nti basajja bakulu mulidde by’enyanja kyoka temubikutta,osanga n’owekyenda nga akyakukuta kyoka nga emmyaka jamwegana dda akotakoota naye nga alemedeeko asaba nva ayagala wuuta…
Obudde nga Omutonzi abujjako eddiba,ensi y’abayimbi ne banakatemba ebuutikiddwa amawulire g’okufa kwa Mzee Matovu ku emmyaka 77.Ono y’omu kubatandiisi ba bandi ekyasinze okuwangaala mu Uganda eya Afrigo eranga abadde nakinku mu kufuuwa omulere.
Kigambibwa nti Mzee Matovu yakubiddwa Omulumbaganyi mu zooni B e Kibuli okuliraana akatale mu Divisoni y’e Makindye weyabadde agenze okwesannyusamu n’ekibeibe ekyetutegedeeko erya Rose.

Obubonero bwonna bulaga nti Mzee Matovu n’ennyana eno babadde bava kwesanyusamu ne basalawo egooga balimalire mu kazigo kaayo era nti Mzee Matovu kennyini yeyavuze avuga Range Rover ye nga ennyana etudde mu mutto gw’omumaaso mu ki laavu laavu ekitagambika
Mulirwana yatugambye nti engeri yingini gyezabadde zakyamuse edda, Mzee Matovu olwatuuse yatandikideewo okusimba ebijinji naye yakangibwa okwatika kwendabirwamu y’eddinisa y’akazigo kennyini mwebabade.Eyayasiza eddinisa wano weyasinzide okubuuza nti Mzee okola ki ne mukazi wange akabonero akaakasa nti yabade aze abalondoola.

Mzee Matovu mukweteggula ekibaabu,ennyana yamuwondeera emwegayirira asigale.Nga batuuse ku kuubo weyabadde apakinze,basanze omulumbaganyi agiyimirideeko ku luuyi lwa dereeva.Omuvubuka eyabadde akedde okugenda okusika chapati yatugambye nti wenabadde mbayitako,nawulide omuwala nga abuuza omulenzi nti gwe nakugamnba dda nti sikwagala,lwaki onesibaako?Wano omuvubuka yavudde mu mbeera natakandiika okukuba omuwala ebikonde.Mzee Matovu weyamugambye nti gundi tokuba muwala,obwanga yabukyusiza namukuba engumi tonziriranga eyamuvirideko okuggwa wansi nakubawo nnyo omutwe era awo wennyini weyakomye okutegeera ebiri ku nsi
Owa Boda eyaddusiza Mzee Matovu mu ddwaliro e Kibuli gyeyaffiridde alowooza nti engeri Mzee Matovu gyeyabadde ava mu kikolwa ekyamanyi atenga yabade atamidemu,ekiggwo kyeyagude kiyinza okuba kirina engeri gyekyamukosesamu ku bwongo naye yakinoogannyiza nti Mzee Matovu webamutusiriza mu ddwaliro yabadde akyali mulamu
Abamu ku bakyala mukwogera obutonono ku nfa y’omugenzi,bewunyiza nnyo okulaba nti omuntu gwebasasulira obukadde okulaba yabadde yesoze akazigo akatajja mu duguledi ye okwesanyusamu wabula omu kubasajja eyabadewo bano yabanukudde nti omusajja yenna taffa kusowani mwalira kasita abeera agenda kulya,awomerwe ate era akkute.
Enfa ya Mzee Matovu etuukiddala bulungi nnyo ku lugero lwa Baganda olugamba nti Omuzira afira watono

POLICE ETANDIISE OMUYIGO GW’OMUZIGU
Mukwogerako n’ekibanja kino ekiterya ntama ku ssimu,Racheal Kawala,mwogezi wa Police mu Kampala atukakasiza nga Police wetandiise omuyigo gw’omutemu era nasaba buli alina kyamumanyiko abatukirire kibayambeko mu kunonnyereza.

Wabula omu kumikwano gya ndibasa Rose atayagade kumwatukiriza linnya atubulidde nti omutemu ne Rose webalina enkolagana ey’enjawulo era nakazigo nga yakasasula naye nga Rose abaligga nnyo ekyabavirako okwawukana.Nti naye olw’omukwano,Omutemu Rose yasigala amuwondeera era nti ne enaku ezo yamusanga n’omusajja omulala namukuba bubbi nnyo lwakuba ensonga tebaziwanvuya.
Nga Adamu weyalya ekibaala Katonda namugooba munimiro ya Eden ne Mzee Matovu obuwoomi bw’ekibaala webumuleseza ensi eno ewooma.

