Baayi Baayi Ssenyonyi:Luluno Olukwe Omutume Kabanda Lwa Luuse Okumusuza Obwa LOP

Omulangira Ddembe Yonah
9 Min Read
Ssenyonyi ne Kabanda n'ababaka abalala nga banyumyamu nga Paalamenti tenatandiika

PAALAMENTI

Akulira Oluda Oluvuganya mu Paalamenti (LOP) Joel Besekezi Ssenyonyi,atandiise okukuba pulaani ya butya wagenda okutambuza obulamu nga Akulira amagye ge ggwanga Genero Muhoozi Kainerugaba,amaze okumusuza ekifo kye. 

LOP Ssenyonyi

Genero Muhoozi okumalirira agyeyo na g’omuto aze Ssenyonyi mu kyaalo kyava ku Ssenyonyi kumujjonkeera.Nti mu mukolookota olw’okuddumira magye ne gakwata eyaali Omuloodi w’ekibuuga Kampala Ssalongo Erias Lukwago okuva mu makage e Wakaliga mungeri eyali telaga bukugu na bugunjjufu kwo n’okumutulugunyiza mu ‘basement’,yamukoona ewaluma weyamuyita omutitiizi,omulalu,omutemu era namulangira n’okwekaaka ku bantu bamwagale.

Genero Muhoozi nga alagira Kabanda aluuke olukwe bagyeko Ssenyonyi kubwa LOP

Emboozi eno mpaavu. 

EKYASINGA OKULUMA MUHOOZI.

Ssenyonyi webamutenda okudduka yayita weyalina okukoma weyazoleeya Genero Muhoozi eranga ye mutabani w’omukulembeze eggwanga Ssabalwanyi Yoweri Kaguta Museveni,nga amugerageranya ku mumpebe Joseph Konyi eyali akulira abayekeera ba Lord’s Resistance Army abalubanga ebyaalo mu bitundu by’omumambuka ge ggwanga ne babisanyawo ate oluvanyuma ne bada ne ku bakawoonawo ne baabasalamu enimi oba okubatemako ebitundu by’emibiri gyabwe ebitali bimu kwo n’okusobya ku baana. 

Genero Muhoozi

Mukwogera kwe,Ssenyonyi yagamba nti Muhoozi wamala okukola ebyambyone bye,nga agenda ku kibanja kye ekya X nga yewaana nga waali omugobeerezi wa Yesu Kristu nga alinga agamba nti yamutuma atulugunye abantu era na mukomerera nnyo nti ebikolwa bye ebyo,baalaba ggye lya Konyi nga lyelibikola mulinya lya Katonda.

Abali okumpi ne Genero Muhoozi batugambye nti byonna yali abigumide naye eky’okumugerageranya ku mumpembe Konyi,kaali kasaale kennyini ku mutima.Engeri Ssenyonyi gyeyayita Muhoozi mu ring y’ebyobufuzi,wano mubusungu obw’ekitalo,weyava okulagira emundu ye emennye David Kabanda eluke olukwe olwokugya Ssenyonyi kubwa LOP obumuwaga mu bwangu asobole okukitegera nti sifaala.

Kabanda nga yeeyama okuggusa omulimu gw’okujjako LOP Ssenyonyi mu wiiki 2

Kabanda ennaku zino nga yeyita mutume nga weyaggusa missoni y’okusuza Annitah Annet Among ekifo ky’obwa Sipika,n’omulimu ogw’okusiguukula Ssenyonyi yalaba ndabye kuki era yeeyama okuguguusa mu banga lya wiiki bbiri zokka.

Kabanda mukyambalo kye eky’obutume

Ensonda zaffe ez’esigika mu PLU zatubideeko ennaku 4 eziyise Kabanda abadde mu lusirika era yagenze okuvaayo okwolekera olukungana lwa bavubuka mu ggwanga lya Ghana nga amaze okufumba olukwe kanywe okawulire olutagenda kuleeka Ssenyonyi kubwa LOP okugyako nga Pulezidenti Museveni oba Genro Salim Sale nga bebasabye Genero Muhoozi azikize omuliro.

EBIRI MU PULAANI Y’OMUTUME KABANDA OKUSUZA SSEKINYONYI OGUFO

Ensonda ezesigika mu PLU yayongede ne zitubirako nga Kabanda weyatudde ne ttimu kabiriti eyaba namateeka ne baabaga ekiwandiiko omuli ennongoosereza zebagenda okwanjula mu Paalamenti munaku ezigya mu maaso nga gyekanagweramu Ssenyonyi aja kuba atulabyeko nnyo

Ennongoosereza zino obwanga buzitunuliza kukwata ku kawayiro 6B aketeeka ly’enzirukanya y’emirimu mu Paalamenti eryakolebwamu ennongoosereza mu 2006.Akawayiro ka kazaala buulwa kagamba nti LOP analondebwanga okuva mu kibiina ekisinza ababaka abangi ku luda lwa Oppozisoni 

ENSONGA ZEBAGENDA OKUWA OKUKWATA KU KAWAYIRO KANO

Kabanda ne banamateeka bakwesigama ku nsonga 2;

Ssenyonyi yalondebwa Kyagulanyi si kibiina.Nti mu kibiina kye by’obufuzi,akikulira tabanga Katonda,okusalawo kwonna akukolera wamu ne bakulembeze bane banakibiina webaba babalonda okulembera ekibiina ekitali NUP kubanga Kyagulanyi okulonda Ssenyonyi okubeera LOP,okusalawo kuno yakukoola yekka nga asinzira mu makage e Magere ekitegeza banakibiina n’oludda oluvanyuma lwonna aba yalukaakatikako omuntu we ekintu ekikyamu ennyo

Ekyo kiba kitegeza nti enondebwa ya Ssenyonyi kubwa LOP etta n’ennyigo ya ssemateeka w’eggwanga egamba nti amanyi gali mubantu era ne wagirwa ne “Principal” ya demokulasiya egamba nti abantu tebagonderenga bakulembeze bali mu buyinza nga engeri jebabufunamu tebagirinamu mukono ekitegeza nti Paaliyamenti okukiriza Ssenyonyi atuule mu ntebbe ya LOP yakikoola mu bumenyi bwa mateeka.

Ssenyonyi yalondebwa munkola eye ffugabi eya Patronage System.Nti munkola eno omukulembeze w’okuntiiko wamala okufuna obuyinza,aba zako kyakulonda abantu babeera agenda okuwereza nabo naye ekye mbi abalonda asinzira ku nkolagana jaba alina nabo.Enkolagana eno esobola okuba ey’omukwano(friendship) oba ey’oluganda era wano webagya okusunzira okuluma egiiko nti Ssenyonyi yali tagwanye kuba LOP kubanga Kyagulanyi yamulondera mu mutima(spirit) gwa kisaazisaazi ogw’okuba mukwano gwe.

Enkola eno tezimba ggwanga kubanga;

EKISOOKA:Ebiseera ebisinga omukulembeze w’okuntiiko abantu babeera alonze tebàbeera na bisanyizo bibàfunisa biffo ebyo okugeza Ssenyonyi akyali kyakayiga nnyo muby’obufuzi,mubulambulukuffu yali tagwana kulya bwa LOP era nti kyali kyabulyazamanya Kyagulanyi okusuula Mathias Mpuuga n’amusikiza kyakayiga mukiffo ky’okulonda ababaka,John Baptist Nambeshe,Betty Nambooze Bakireke n’abalala abamaze ebisanja ebiweera mu parliament atenga bateesa balungi ekitegeza nti balina obumanyirivu obumala kungeri ebintu jebikolebwamu mu Paliyamenti.

EKY’OKUBIRI:Enkola eno efuula omuntu abalondebwa akagologosi ka mukama we kubanga aba atya okukola ebimunyiza.Mumbeera eyo omuntu oyo aba tasobola kwesimba bwantogo nakoola kusalawo kutuffu okwandiyambye eggwanga olw’okubanga aba atya okunyiza mukama we.Nti eno yensonga lwaki Ssenyonyi ebiseera ebisinga ava kumulamwa gw’okuzanya eby’obufuzi bya kisajja kikilu nada mukuzanya eby’obufuzi by’okukyamukiriza ebijudemu kapampane Kamera za bannamawulire zisobole okumukwata mbu nga “alabisa”

ENNONGOOSEREZA ZEBAGALA ZIKOLEBWE

Mu kiwandiiko Kabanda ne banamateeka kye baabaze bagala

A)Ababaka b’oluda oluvuganya bonna babenga bebelondera LOP wabwe ekitegeza eby’ekibiina ekisinza ababaka abangi ku luda lwa Oppozisoni okubanga kye kivamu LOP biba biwedewo

B)Eby’ekibiina ekiba kya londa LOP okwesigaliza obuyinza obumugooba wona wekyagalide nabyo biveewo kibaawe omwaganya ogumugooba nga akooze ensobi obanga tasaana(not competent) wonna webagalide

SSENYONYI ANAGIBWAMU ATYA OBWESIGE NGA ETTEEKA LIMAZE OKUYITA?

Ensonda zaffe era zayongede nezitugamba nti nga ennongoosereza zino zikoleddwa, Kabanda ne banne awo babeera basobola okwekwasa nti Ssenyonyi tamalako(incompetent).Basooke bamusige ebitomi ebiraga nti talina kyeyali akooze okujako okweyagalira mu bugombe bamale bagambe nti okumanya Ssenyonyi yali tagwanye kubeera yadde omulongosa mu office ya LOP,weyaberera Ssentebbe wa kakiiko ka COSASE alipoota nnyingi ezamulema okukola ekyawaliriza ne eyali Sipika Annita Annet Among Magogo lumu okumulangira nga wali “omulenzi omunafu asobola ogwokwogera gwoka.”

Era nti banoonyereza ne bakizuula nga obunafu bwa Ssenyonyi munkola ey’emirimu neku UBC jeyandikira okukola nga munamawulire webwaliyo era bafuna n’obujjulizi bungi nga bamutuma emboozi ne zimuremerayo kyoka nga bamuwande ne “ssente za facilitation ezimala.”Nti n’ebiseera ebisinga emboozi yaziwanga bakamabe kikerezi.

Ssenyonyi likoodi ye ku nguzi naayo sinungi.

Wabula ababala eby’obufuzi bya PLU abamu ekuubo ery’okujamu Ssenyonyi obwesige tebaliwagide nga bagamba nti lijja kwongera kubakyaya mu bantu bawansi kubanga Ssenyonyi abakolera ebyebagala eby’okubanja ba Eddie Mutwe na basibe abalala abaze bakwatibwa olwensonga z’ebyobufuzi.Wano omu weyasinzide okuteesa nti mukiwandiiko kyabwe bawagikemu akawayiro akagenda okusobozesa eteeka lino okukola nga liva mabega ekitegeza nti etteka lino oluyisibwa weriti,Ssenyonyi mbagirawo alekerawo okuba LOP era Paalamenti eba erina kugenda mu maaso ne tegeeka okulonda kwa LOP omugya.

ENGERI MUHOOZI GYAGENDA OKUBA N’OMUKONO MUNONDA YA LOP ADAAKO

Mu zimu ku ‘tweet’ za Genero Muhoozi yakiggumiza nga LOP adaako wagenda okuba owa PLU.Newakubade kiringa ekitasoboka kubanga ekifo kino kya Oppozisooni,Saddam Gayira Pulezidenti wa PPP ekyatandikibwa Mzee Bidandi Ssali yatugabye akabuuza tukagyewo kubanga mu by’obufuzi ekitasoboka kyoka ye mukazi okufuka omusajja oba omusajja okufuka omukazi.

Gayira yatunnyonyode nga wekiri ekikulu ennyo okumanya nti mu Paalamenti tulinayo ababaka 45 abayitamu kubwa namunigina.Singa eteeka liyitamu,bano naabo LOP baaba bamulonda kubanga ssemateeka abatwala nga ba Oppozisoni era yesonga lwaki ne mu ntuula za Paalamenti bano batuula ku luuyi Oppozisoni.

Bano 30 kubo bateeka dda emikono ku ndagano ez’okukolagana ne NRM atenga ffena tukimanyi bulungi NRM ne PLU byebimu.Kiba kitegeza mwabo ajjakulondamu omu amufuule LOP

Ono yafundikide agamba nti wabanga Muhoozi yasobola okugamba Oboth Oboth afuke Sipika ne kiba,nalagira Lukwago akwatibwe ne kiba eranga ne kabinenti eno ejjudemu bantu be,bakyamubusabusa wayogera ekigambo mwe nsekerera.

Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *