Engeri Omukwasi Wa Vidiyo Gy’akyusizaamu Obulamu Bwa Baana b’Oku Nguudo

Omulangira Ddembe Yonah
4 Min Read
Director Pasha

WAKISO

“Newankubade sigwe mugagga oba owaanyi asinga mu nsi yonna,kola ebirungi byonna by’osobola mu buyinza bwo eri abantu,emirundi gyonna gy’osobola”

Enjogera eyo etuukira ddala bulungi nnyo ku musaayi muto Nyombi Parvin amanyikiddwa nga Director Pasha akuute ku baana b’oku nguudo nga abayigiriza obukugu bw’okukwata entambi za vidiyo

Director Pasha mu biseera by’okukwata obutambi

Omusamaliya omulungi ono mu myaka 5 egiyise okuute ku baana abasoba mu 200.Bano abasomereseza mu situdiyo ye esangibwa ku kyaalo Nkokonjeru,mu muluka gw’e Kyengera mu ggombolola y’e Nsangi mu Wakiso disitulikiti.

ABAMU KU BAANA BAKUUTEKO NGA BAWA OBUJULIZI BWABWE

Hakim Ssengendo:Y’omu ku bavubuka abaali basuula mu mwala gw’e Nakivubo.Ono okukwatagana ne Nyombi yaali aze kumusala nsawo naye eky’embi namutebuka.Nga amukute yamubuuza nti mu nsawo ey’empale empale obade oginoonyamu ki?Embeera eno yaviraako abantu okukuggana era n’abamu baali bagala nakumuganjambula wabula abakuuma ddembe b’oku kapoliisi ka Container Village bayanguwa okumutaasa.

Nga batuuse ku Police,Ssengendo yegayirira nnyo bamusonyiwe era yalajana agamba nti “muganda wange,sirina maama,sirina taata,ndi dog city,sirina na wensuula.Nsaba onsonyiwe neme kuvundira midda”

Ssengendo era annyumya nti nga bamutadde yeyongera ne yegayirira Nyombi amuyambe afuuke muganda we kubanga obulamu bw’okweyiyiza ku kuubo yaali abukooye.Mungeri yemu yeeyama n’okumukolera buli mulimu gwonna kasita anamufumira ew’okosuula.

Newankubade engeri gyebaali basisinkanyemu teyaali nnungi,Nyombi eky’okuyamba Ssengendo teyakiwa ndowooza yakubiri era mumyezi 4 yaali amaze okumusomesa okukwata entambi za vidiyo.

Ssengendo yafundikide atugamba webamutuma Katonda we ow’okunsi,atwala Nyombi kubanga yamuyigiriza webavuba eky’enyanja.

Director Pasha nga annyonyola omuvubuka engeri gye bakwatamu obutambi obw’omulembe ku ssimu

Bogere Samuel:Olw’okubanga ewabwe tebatalina ttivi,yagenda nga nayimirira ebweru w’amabaala okugirabako naye eky’embi banyinigo bamugobangawo mukukabwe.

Ono yagendanga akaaba naye nga “weyegumya nti wenakula ngya kufuuka omukwasi wa vidiyo za bayimbi bananyini mabaala zebanemesa okulaba.”

Nga awanduuse mu ssomero olw’ensawo za bazadde okuba enfunda,yatandiika okugooba ku kirooto kye eky’okuba omukwasi wa vidiyo z’abayimbi era yatambula mu situdiyo ez’enjawulo mu Wakiso nga asaba bannyizo bamuyambe bamuyigirize wabula abasinga bamusaba nga asasule wakati w’emitwalo 500-800 okusobola okumuyigiriza kubanga naabo gyebayigira tebaasomeseza ku maluso.

Bogere teyapoowa era lumu Mukama yamusuula ku situdiyo ya Nyombi eyakiriza okumutendeeka nga mpawo yadde olwataano lwasasude.

Bogere yakawaasa era omulimu gw’okukwata entambi za vidiyo mwgya ssente okuda ewaka n’akaveera

NYOMBI OMUTIMA OGW’EKISA AGUGYA WA?

Nyombi buli walaba omuntu abonaabona,omutima gumuluma nnyo era singa avawo nga tamuyambye,asigala yeesalira omusango.Ono yalutuviride ku ntono nti oluvannyuma lwa kitaawe Hannington Ssengozi eyali tabajjuza okufa mu 2006,baaziikibwa mu nnaku enzibu okunnyonnyola.Nnyina Nantege Resty yalina okuguma makazi akole,watyo yatandiika okutunda kyakalakyakala n’ebibala ku nguudo mu Kampala asobole okubabezaawo.

Olw’okubanga ssente ezaali ziva mu bintu nnyina byeyali atunda zaali ntono nnyo,Nyombi yawalirizibwa okusomba amazzi ku kyaalo kwo n’okupoota ku bizimbe mu nnaku z’okuwummula asobole okufuna ssente z’ebisale by’essomero era mubugubi yasobola okusoma n’amalako S.6.Mu luwumuula olwo yeegata ku bibiina bya kkomendi.Eno gyeyasanga muzira kisa eyamugiyigiriza eby’okukwata entambi za vidiyo omuli z’emikolo gyonna nga embaga,okwanjula n’emirala,eza firimu,obulango n’ennyimba.

Director Pasha ku lunaku lwe olwa matikira

Nyombi yakiggumizza nti olw’okubanga mu buto bwe yatuuyana nnyo,mu lugendo lwe yasanga abantu bangi abamukwata ku mukono nasobola okulinnyanga okuva ku ddaala erimu okudda kudala.Engeri gyeyaali talina ngeri yakubasasulamu,kyeyava asalawo naye ayambe abantu abalala abatalina mwasirizi nabo basobole okukyusa embeera era omwaka oguwedde gwoka yakwata ku baana 30.

Nyombi era mulungi mu kukwaata kontenti w’emikuto gimugata abantu era akolaganyeeko ne Annitah Nkamushaba owa Blaize Interiors,Ssali Babu owa Babu Enterprises,Mariam Nanyonjo wa Mariam Furniture,Ivan Ssegujja owa Nsambya Furniture Workshop,Irene Mirembe owa Mirembe Beddings Curtains,Kaye Umar owa Soozo Property Consults ne Hilda Car Accessories n’abalala bangi.

Mukyala Mirembe owa Mirembe Curtains,Director Pasha wakati,Mwami Ssegujja owa Nsambya Furniture ku ddyo

Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *