Doreen Ninsiima,Namwandu wa Joseph Mary Sseruwooza yakabiza abakungubazi ng’annyonnyola engeri omugenzi gyeyamwegyako n’afa nga tamugambye bigambo bisembayo
Ono yaluvude ku ntono nga bba ekimbe ekyamugye mu nsi eno Omuyimbi Apass bweyakayimbako nti buwooma wekyamugwira ku lw’okubiri ekiro.Nti ku ssaawa nga 6 yamuwulira nga agwa,n’azuukuka.Agenda okumutukako nga amannyi gamuweedde atenga atuuyanirira.Weyamuduusa mu kalwaliro akaali okumpi,bamukebeera n’ebakizuula nti yali ataawanyizibwa aluusa era bamuwa n’eddagala erisokebwaako.Weyafunamu kunjawulo badayo ewaka era nakeera natwala n’owana wabwe ku ssomero.Eno gyeyava nagenda ku Masengere naweereza Pulogulamu ye ey’okumakya Zuukuka N’Ensonga.Oluvannyuma yagendako mu ddwaliro erisingako lyebaali bamukeberedeeko ekiro era nayo abasawo bakizuula nti yaali ataawanyizibwa aluusa.Eno nayo bamuwa eddagala bwatyo nadda ewaka.

Mu kiro yadamu okutabuuka.Yasooka nadamu okutuuyanirira na fulumangako n’ebweru afune ku kaweewo wabula nga wada mu nnyumba nga adamu okutuuyana.Ekyaddirira kwali kutandiika kusesema na kweyongera kunafuwa.
Ku makya yakuba essimu eri bakama bbe ku ttivvi na bategeeza nga weyali tagenda kukola kubanga yali mu koseffu.Bano bamutegera kubanga tateera kwossa.
Ninsiima yayongede nannyumya nti ku ssawa nga 9 ez’olweggulo,omulwadde yeyongera okutabuuka era mukusoberwa yakubira mukozi munne Arafat eyaduuka mangu ewaka e Bulenga ne bamuduusa mu ddwaliro lya Gombe Medical Centre erisangibwa e Mmengo ku luguudo lwa Balintuma.Eno nayo abasawo bakannya nabasooka nti Sseruwooza yali atawaanyizibwa aluusa wabula engeri gyebaali bamuleese nga biwaala ttaka,abasawo baawalirizibwa n’okumuteeka ku kyuma ekiyambako omuntu okussa(oxgyen).
Zigenda okuweera ssawa emu ez’olweggulo,omulwade yaali akubye ku matu era nannyumyako n’abaana be.Wano yamusaba adde ewaka n’abaana ye asigaale ne mune Arafat kubanga yeyali agenda n’okumuza ewaka nga bamusibude.Ninsiima yaleeka bba bamuyingiza mu kasenge ka scan okumwekebejja mu kifuba kubanga yaali yeemulugunyizza nnyo nti yaali alumizibwa mu kifuba.
Ninsiima n’abaana tebamanya nti mu kuva mu ddwaliro mu kaseera ako,Sseruwooza baali bamusibudde lubeerera.
Ebyava mu kumwekebejja byalaga nti egimu kumisuwa egitambuuza omusaayi gwali guzibikide olw’omusaayi okwettugga(clot).Abasawo balaga okutya nga Sserowooza weyalina okulongosebwa mubwangu era mbagirawo bamuteeka mu ambyulensi emuduuse mu ddwaliro ekulu e Mulago.Abasawo bano era batwala n’obuvunanyizibwa obukubira banabwe e Mulago ne babategeza nga omulwadde gwebaali babasindikide weyalina okulongosebwa mbagirawo nga yakatuusibwa.
Sseruwooza mu kutekateeka okumutwala e Mulago,yayogerako ne Kabite we ku ssimu wabula weyamusaba adde,yamugana olw’okubanga;
1)obudde bwali bugenze atenga gyebabeera walaako n’okutuuka ku kuubo
2)Abaana babwe abato(omu wammyaka 5 ate omulala wa mwaka 1)teyalina muntu mukulu wakubalekeera mu nnyumba.
Ogwo nno gwe gwali omulundi ogusembayo Ninsiima okwogera ne bba era mukwogera kwe,eky’okumugana okudda yakiyise ku mwegyako aleme kumulaba nga afa aleme kubaako obugambo bwamugamba obusembayo.
Okusinzira Dunstan Busuulwa(Ssalongo) akulira entambuza y’emirimu ku Bbs Terefayina,Sseruwooza webamutuusa e Mulago yali alaga nti ali mu mbeera nungi era abasawo badamu buto okumwekebejja era naabo ne bakizuula nti omusaayi mu butuffu gwali gwettuggidde mu musuwa.Newankubade Mulago ddwaliro lya gavumenti, abasawo baabasaba milliyoni mu 7 okumulongoosa ze beeyama okuzisasula naye eky’embi baba batandiika okuteekateeka akasenge mwebalongooseza,Sseruwooza yatabuuka omulundi gumu n’afa…!
Ninsiima amawulire g’okufa kwa bba bagamukweka mpaka weyatuuse ku ddwaliro era mu bigambo bye yagambye nti ‘natuuse ku ddwaliro ku ssawa satu eky’okumakya,nga nze manyi omwami wange mulamu bagenda kumulongoosa naye okutukawo nga yagenza dda…!’

Ono obulumi bwamulemye okwebeera era wano yakubye omulanga omunene nti ‘banange andekede abaana abato.’Omulanga guno gwakwata ku buli mutima gw’omukungubazi eyaali mu lutiiko e Lubaga era bangi bayooza kumunye.
BASONZE KU DDOGO EKAMBWE ERYAMWABIZA OMUTIMA
Omu ku bakyala Sseruwooza babade akolagana naabo ennyo ku BBS ebya Sseruwooza okufa okwettugga kw’omusaayi mu musuwa yabiyiyemu amazzi.Ono mukwogerako naffe ku ssimu kumakya g’olunaku Sseruwooza lw’afa,mu maziga agooza lumonde natukuula,yakiddingana nga Sseruwooza webamusindikide eddogo ekambwe eryamwabya omutima,bwatyo n’afa.
Ono yatunnyonyola nti mu kaseera abasawo webaali bategekera akasenge mwebalongooseza,Sseruwooza eyali ayogera era nga yali yetambuza na bulungi, yatandiika okutuyanirira.Olubuto lwatandiika okumuluma naye nga tayogera.Eyali yebase ku katanda yasituuka omulundi gumu natuula nga bwatuuyana ennyo.Awo mbu yafuna ekintu ekyamukanga era nabanga adamu okweebaka.Ogenda okumukwataako nga zembuyaga ezikaza engonye

Omukyala ono abamuwakanya nti Sseruwooza teyafudde ddogo yabagambye bebuuze ebibuuzo bisatu;
EKISOOKA:Bagamba nti Sseruwooza yafa mu musaayi kwettugga mu musuwa naye ate yasooka ku lwala aluusa,aluusa n’omusaayi okwettugga bikwataganira wa?
Mukugumiza ensonga eno ono yagaseko nti omugezi bagenda okumutwala mu ddwaliro nga yeemulugunya nti akantu kamuluma mu kifuba,lwaki ate baali bamukebeera aluusa mu kifo ky’okumusokeza mu scan bamukebere mu kifuba?
EKY’OKUBIRI:Engeri omulwadde gye yeesika ku katanda e Mulago eraga nti waliwo ekyali kimulega enkaaka.Weritaba ddogo kiba ki?
EKY’OKUSATU:Sseruwooza abadde talina kirwadde kya mutima kyonna atenga ssi munene,kati ku mmyaka gye emito omusaayi gwetuugga gutya?Era yafundiikide atugamaba nti nawe kirowoozeko?!
Obutamatira bw’omukyala ono ku nfa ya Sseruwooza bwafaananira ddala obwa mukozi munne omulala Biremuye Matovu akubiriza pulogulamu y’Olutindo.Mukwanjula Pulogulamu ye ku lw’okutaano yategeeza nti newankuda ebirwadde bigya ne bituggwira,naye obwangu ekirwadde bwekyakoozesa okusisinkanya Sseruwooza okufa kwe ne batafuuna na mukisa gwa kumujanjabako oba kale okumukyarirako mu ddwaliro,bwali bwewunyisa.
ANI YASINDIKIDE SSERUWOOZA EDDOGO EKAMBWE
Omukyala ono wetwamutade ku kinnyiga atubuulire eyasindiikide Sseruwooza eddogo lino ekambwe yaganye okumwogera wabula nayita mungero nti omu ku banene asula ku tebukye ow’okugoobwa ku mulimu kubanga abakulu abamusinga tebakyalaba ki kyagatta ku ttivi.
Nti naye ekirungi ebitabo yabyongerako era kati ali mukutambuuza mpapula mu butongole obwobwa nakyewa bumuwe omulimu gw’okuba omwogezi wabwo nga munne Frank Walusimbi eyali akola ku NTV.Olw’okubanga emirimu egyo teginayitamu atenga abakulu bamuli bubi agende,weyakitegera nti Sseruwooza gwebagala okuuza mu kifo kye era nga n’okusaba kwe okw’okudaayo ayonger ku bitabo baali bakuganye asooke akalire bulungi mu ofiisi ye empya,kwekumalirira akole omukazi kyayinza okukola nga bba akamutemye nti agenda kusikiza mwana wa mugya we.
Sseruwooza aziidwa leero ku ssawa 8 ez’emisana mu maka ga mwaami Gordon Ssendagire ku kyalo Bwenziteere-Lwamaggwa e Rakai mu Kkooki
OMWOYO GW’OMUGENZI OMUKAMA AGUWUMUZE MIREMBE


